Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Emizimu gitabukidde abazimba oluguudo

Aba China abagenze okusengula amaalo kibaweddeko emizimu bwegitisse bannanyini ttaka negirayira obutasengulwa Bino bibadde Nakigalala Kajjansi ab’ekitongole ky’enguudo ekya UNRA gyebali mu kukola oluguudo lwa Express highway. Emizimu giremesezza aba tulakita abazze okusenda okukkana ng’ebyooto bikumiddwa okugikkakkanya era nga tewali kusenda kugenze mu maaso. Bannayini ttaka lino bagamba tebawakanya nkulakulaana kyokka kyebagaala kwekusasulwa basengule bulungi abantu baabwe

Read More

Amafuta amatabule

Abatunda amafuta amatabule ku luno bubakeredde Okusinziira ku mateeka amapya, omuntu yenna anasangibwa n’amafuta amatabule wakusasula ebitundu 10 ku kikumi z’emaali ye Akulira ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebintu Ben Manyindo agamba nti olw’amaanyi gebayongera ku nsalo, kati amafuta bagatabulira mu kkubo nga gali mu Uganda Manyindo agamba nti kati bagenda kutalaaga eggwanga lyonna nga beetegereza amafuta agatundibwa okulaba…

Read More

Ow’emyaka 14 asingisiddw aogw’ettemu

Omuvubuka ow’emyaka 14 yoomu kw’abo 5 abasingisiddwa omusango gw’okutemula mukama waabwe. Josephine Nalwadde yattibwa mu mwaka gwa 2012 mu bitundu bye Kamengo Mpigi. Abasingisiddwa omusango kuliko Jerevasio Kabagambe, John Muhigo, Jackson Kivumbi, John Musisi ne David Mwanje ow’emyaka 14. Mu nsalawo ye,Omulamuzi Jane Alividza agambye nti afunye obujulizi obukakasa nti abakulu bano beekobaana nebatta omukyala ono. Obuzibu bwonna bwava…

Read More

Namukadde atabukidde abamubise

Namukadde w’emyaka ekinaana, enviiri zimuvudde ku mutwe bw’afunye ebbaluwa okuva eri abagaba ez’obukadde nga eraga nti yafudde Omukyala ono Fulton ebbaluwa emutuuseeko nga wayise omwezi bukyanga ewandiikibwa Omukyala ono yecwacwanye n’ategeeza nga yye bw’ali omulamu yadde nga bafubye okumukkakkanya Kkampuni esoose kumwetondera ng’eddamu okumuwandiikira olwo n’akkakkana

Read More

Algeria eyimirizza emipiira

Algeria eyimirizza okuzannya omupiira okumala ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’okufa kw’omuzannyi wa Cameroun Albert Ebosse Kino kisaliddwaawo ekibiina ekitwala omupiira gw’ebigere mu ggwanga lya Algeria Ebosse, ow’emyaka 24 yakubiddwa ejinja ku mutwe n’afa bweyabadde ava ku kisaawe ng’eggwanga lye lisamba ne Algeria Ab’obuyinza mu Algeria babadde balangiridde dda okuggala kw’ekisaawe omwabadde omupiira guno nga kino kyazimbibwa mu mwaka…

Read More

Ensimbi z’ababala abantu zongezeddwa

Ab’ekitongole ekikola ku by’okubala abantu bagonze nebongeza ku bagenda okubala abantu ensimbi Kiddiridde abatendekebwa okubala abantu e Kawempe okuva mu mbeera nebeekalakaasa ssabbiiti ewedde nga bagamba nti enkumi essatu ezibaweebwa olunaku ntono nnyo Bano kati bakusasulwa shs 5000 ate bwebanamala okutendekebwa olunaku lw’enkya basasulwe enkumi ssatu buli lunaku okutuusa lwebanaamala okubala abantu Nga buli kimu kiwedde bakusasulwa omusaala…

Read More

Poliyo asobola okutaayizibwa

Okukozesa eddagala ly’ebika ebibiri erigema poliiyo kisobola okuyamba okutangirira ddala ekirwadde kino okukwata omuntu Okunonyereza okukoleddwa mu buyindi kulaga nti ssinga omwana aweebwa akadagala k’omu kamwa ate n’agattako empiso olwo agumira ddala nekitaba kyangu okufuna poliiyo Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kigamba nti ebizuuliddwa biwa essuubi era bya byafaayo Obulwadde bwa poliiyo buvaako omuntu okugongobala oluusi ekivaako okufa

Read More

Abakweeka abalina Ebola bakusibwa emyaka 2

Palamenti mu ggwanga lya Sierra Leone liyisizza etteeka erigufuula omusango omuntu okukweeka omulwadde wa Ebola Anakwatibwa wakusibwa emyaka 2 . Kati etteeka lino lisigalidde kussibwaako mukono gwa mukulembeze wa ggwanga Lyo eggwanga lya Ivory Coast liggadde ensalo zaalyo okwewala okufuna ekirwadde kino ekifuuse ensonga mu nsi wonna. Kyo ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna kigamba nti amawanga agafubye okunyikiza olutalo ku…

Read More