Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abalina sayidi-Diishi balidde nga balimi

Abantu abayiiya ensimbi tebaggwaayo Mu ggwanga lya America, waliwo kkampuni ekubisizza kaadi nga ziranga abakyala b’okusanyusaamu ababeetaaze. Kaadi zino zikoleddwa nga zigulwa bafumbo bokka abagaala okuziwereeza baganzi baabwe ab’ebbali era nga zisindikibwaako obumuli ne mu choclate Ab’omukutu guno bbo bagamba nti ogwaabwe gwakukwatagana basajja n’abakyala baabwe ab’ebbali kubanga kituufu babeetaga. Ndowooza kkampuni eno n’etuuka e Uganda, ensimbi ekola kisaganda  

Read More

Obuzigu mu kampala- Abazigu babakutte

Poliisi e Kabalagala ekutte omu ku batujju abaabadde batigomya ab’omu bitundu bino Isa Okello yakwatiddwa ng’agezaako okunyagulula ekirabo ky’emmere ekimanyiddwa nga Abeneti ekisangibwa e Kabalagala Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agambye nti omusajja ono basuubira nti yoomu ku kibondo ky’ababbi abatigomya ababeera e Kansanga, Kabalagala ne Munyonyo. Mu ngeri yeemu era poliisi enoonya amazigu abase…

Read More

Akatimba k’ensiri kabikka ndokwa za bitooke

Waliwo omukyala akwatiddwa ng’akozesa akatimba k’ensiri akakamuweebwa okubikka endokwa z’ebitooke Rita Kalungi mutuuze we Nabweru ku njegoyego z’ekibuga kampala. Kalungi tasaaga abadde akatimba akeetolozza ku nnimiro y’endokwa z’ebitooke ng’azitaasa ku mbuzi ezitera okuzirya Atwala poliisi ye Nabweru, Juliet Akuru agamba nti omukyala ono agenda kuggulwaako misango mu kkooti gyakuyingirira nteekateeka za gavumenti  

Read More

Abadde abba omwana akwatiddwa

Poliisi e Masaka ekutte omukyala ow’emyaka 33 ng’abba omwana omuwere mu ddwaliro Prossy Namugera nga mutuuze we Kayirikiti Nyendo akwatiddwa luno ne bbebi omulenzi ng’ono abadde wa Christine Nakintu Nakintu webamubbiddeko omwana abadde yeebase nga tawulira omukyala ono n’asitula omwana okuva ku kitanda kw’abadde Wabula wabaddewo katemba omubbi w’omwana bweyefudde omulalu n’atandika okweyambula naye nga kino tekimutaasizza Abantu bamukutte…

Read More

Akabenje ka Baasi akalala- 12 balumiziddwa

Abantu 12 beebasumattuse akabenje ku luguudo oluva e Gulu okudda e Atiak Baasi ebadde ekubyeeko abantu number UAU 708 B eremeredde omugoba waayo neyefuula Baasi eno eya Friendship Buses ebadde n’abasaabaze 35 kyokka nga 12 beebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka Dereeva wa baasi ono ategerekese nga Siraji Kaikire kigambibwa okuba nga y’avuddeko akabenje bw’agezezzaako okuyisa baasi endala…

Read More

Omusumba Yiga awaabiddwa lwabutalabirira mwana

Waliwo omukyala akubye omusumba Augustine Yiga abizzaayo mu kkooti lwakumuzaalamu mwana n’amusuulawo n’omwana we Brenda Nalubega alina omwana wa myaka mukaaga era nga we wetwogerera yagobeddwa mu nyumba. Omukyala ono amakanda kati yagasimbye ku kkanisa eya Christ the Lord esangibwa e Mpererwe nga gy’asula Omulamuzi wa kkooti ye Nabweru, Sarah Mutebi alagidde Yiga okulabirira ono ng’amuwa emitwalo munaana…

Read More

Omusawo Omufere akwatiddwa

Poliisi ye Mulago eriko omusawo omufere gwekutte . Silver Oringa nga akola n’ekitongole ekiddukirize ekya Red  Cross abadde ajja ku balwadde ensimbi nga abakolerako mu paakingi y’emmotoka.   Atwala poliisi y’eMulago , Hashim Kasinga agamba bazze bamulinya akagere nga baamukutte lubona ekiro ekikeesezza olwaleero nga ajjannaja omulwadde. Wabula yye  Oringa yyewozezzaako nga bwabadde ku bulungi bwansi kubanga abantu banji…

Read More

Asazeeko ssenga we omutwe

Poliisi e Luweero ekutte omusajja akkidde senga we n’amusalako omutwe ng’entabwe yonna byabugagga Henry Kasibante omutuuze we Kiwogozi e Kasana yakozesezza ejjambiya okutta ssenga we n’omulambo n’agusuula mu kabuyonjo Abatuuze bagamba nti omuvubuka ono aludde ng’alina obutakkaanya ne senga we nga balwana ettaka eryalyakebwa taata wa kalibutemu ono ate nga yali mwanyina w’omugenzi. Omwogezi wa poliisi Lameck Kigozi…

Read More

Ebya USAFI bizzeemu

Omubaka wa pulezidenti mu kampala Aisha Kabanda ayingidde mu nsonga z’abasuubuzi abagamba nti baagula emidaala mu USAFI. Kabanda agamba nti abasuubuzi bano bonna bagenda kuliyirirwa ra ng’ataddewo ne ofiisi enayambako abantu. Ono agamba nti kikyaamu okulyamanya abantu Wabula yye maneja wa USAFI Umar SSekamatte agamba nti abantu bonna abakwata emidaala basasulwa nga tewali abanja

Read More