Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kigadde ebbaala ya Mateos ne Nandos lwa misolo
Mateos bagibanja obukadde 150 ate Nandos ebangibanja obukadde 250.
Omwogezi w’ekitongole kino, Allan Sempebwa agamba nti baludde nga babanja abaddukanya ebifo bino kyokka nga tebenyeenya
Sempebwa wabula agamba nti oluvanyuma lw'okuggalawo ebifo bino, bannanyini byo basitukiddemu era nga enteseganya zitandide
Ab’ebyobulamu mu ggwanga lya Congo bakakasizza nga ekirwadde kya Ebola byekilumbye eggwanga lyaabwe.
Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lino Felix Numbi akakasizza nga abantu 2 bwebazuuliddwa nga balina Ebola ono mu ssaza lye Equateur oluvanyuma lw’abantu abenjawulo okutandika okufa mu ngeri etategeerekeka.
Wabula ab’ebyobulamu bagamba ebola ono tafaanana nga ali mu mawanga g’obugwanjuba bwa Africa naye nga naye…
Poliisi e Masaka ekubye omukka ogubalagala okugumbulula abatuuze mu kabuga k’ekidda abakedde okwekalakaasa lwakumala bbanga nga tebalina masanyalaze.
Bano batadde emisanvu mu makubo gonna agayunga ku tawuni y’emasaka nga era bagookyerezzamu ebipiira.
Abatuuze bano bagamba baakamala ennaku 4 mu kibululu bukyanga aba UMEME batwala tulansifooma egaba amasanyalaze mu kitundu kino.
Yye aduumira poliisi mu bukiina ddyo bwa Masaka …
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Lusalira mu gombolola ye Banda Mityana Laddu bw’ekubye omwana w’essomero lya Kizito S.S n’afiirawo
Omugenzi ye Joseph Walusimbi ng’abadde asoma siniya esooka era nga laddu okumukuba emusanze mu kazigo mw’abadde asula ne munne ategerekeseeko erya Julius.
Laddu eno eggyidde mu nkuba etonnye mu kitundu kino
Poliisi okuva e Banda ng’ekulembeddwaamu agikulira Ceces Agwalo…
Bannakampala amakya galeero bakedde kutambuza bigere oluvanyuma lw’abamu ku basaabaza abantu wano mu kampala okuteekawansi ebikola wansi ebikola nga bwebasuubiza.
Akeediimo kano kalese abantu abawerako bakonkomaliridde ku nguudo awatali abatwaalako.
Abagoba b’ebidduka bino nga begatira mu kibiina kyaabwe ekya National Union of Drivers, Cyclists and Allied ekikulemberwa Abdul Kitata, bagamba kikyali kituuza okutuusa nga KCCA ekyuusizza mu…
E Namayingo kyadaaki abakungu okuvva mu uganda ne Kenya bakiriziganyizza ku ky’okubala abantu ababeera ku kazinga ke migingo, akaludde nga kaliko enkaayana.
Bino okutuukibwako kidiridde ensisinkano wakati w’omubaka wa president mu district ye Namayingo Mpimbaza Ashaka kkone nemunne gwebafanaanya emirimo mu district ye Nyapike eye Kenya Namutala James.
Bano bakaanyiza nti okubala banna-uganda ababeera mukitundu kino kugende…
Poliisi erabudde abagoba b’ebidduka obutetantala kutegeka kwekalakaasa ku monday eya wiiki ejja.
Abagoba aba Taxi, boda Boda, wamu ne Loole balangirira okwekalakaasa nga bawakanya amateeka nga KCCA ku bidduka.
Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba nti akeediimo kano tekannaba kukkirizibwa
Kaweesi agambye nti n’abasirikale ba polisi abanalemererwa okutangira abagoba b’ebidduka okwekalakaasa bakukwatibwa era bavunaanibwe.
Kaweesi…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mutaka mu ggwanga lya Bungereza okwongera okusonda ettoffaali okuzimba Obuganda.
Katikkiro wakwetaba mu mikolo egitegekeddwa abaganda ababeera eno eginabeeera wo olunaku olwenkya ku Makya .
Olw’eggulo ate Katikkiro wakugendako mu muzannyo gwa ba Ebonies ogutegekeddwa mu mu ggwanga eryo nga era ensimbi zonna ezinavaamu zaakussa bijjukizo ebya ba Ssekabaka mu nyumba…
Abamu ku bagoba b'ebidduka mu kibuga bawakanyizza ekya banaabwe okwekalakaasa ku bbalaza eya wiiki ejja.
Abagoba ba taxi, loole , ne boda boda abeegattira mu kibiina ekya National Union of Drivers, Cyclists and Allied workers abalangirira okwekalakaasa nga bawakanya amateeka amakakali ku bidduka agateekebwawo KCCA.
Wabula abamu ku bagoba ab’ebidduka nga bakulembeddwa mu Aziz Kirya…
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga, atabukidde ababaka ba palamenti ababadde bagufudde omuze okwewola ensimbi mu bank ez’enjawulo.
Sipiika ategeezezza nga palamenti bw’etagenda kuddamu kweyimirira mubaka yenna ayagala okwewola ensimbi mu kisanja kino.
Kadaga agambye nti ababaka bonna abaagala okwewola tebagenda kukkirizibwa kusinga yo musaala gwaabwe okufuna ensimbi.
Kadaga okwogera bino abadde awayaamu nebannamawulire mu palamenti olunaku olwaleero.
Bino…