Ab’eby’okwerinda mu ggwanga lya Liberia bataddewo envumbo mu bifo by’enzigotta mu kibuga ekikulu Monrovia
Kino kikoleddwa okukendeeza ku kubuna kw’obulwadde bwa Ebola obucacunya eggwanga lino.
Okuva omwaka bwegwatandika, abanti abali mu 1200 beebakafa ekirwadde kya Ebola mu mawanga ana mu bugwanjuba bwa Africa.
Mu Nigeria, waliwo omusawo omulala afudde obulwadde bwebumu.
Omutendesi wegwanga Micho olunaku lwa’leero ayise abazanyi 25 okutandika okwetegekera emipiira okuli ogwa Ghana ne Guinea mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja mugwanga lya Morocco.
Abamu kubayitidwa kuliko Goalkeeper Dennis Onyango,Ochan Benjamin,ate abalala nekubaako
Andy Mwesigwa, Savio Kabugo, Umony Brian, Massa Geoffrey wamu nabalala.
Uganda Cranes yakuzannya Ghana mukibuga Kumasi nga 6th omwezi ogujja oluvanyuma ekyaaze…
Ebiseera ebisinga emmese olulaba omuntu nga edduka.
Naye mu kibuga Newyork waliwo nsomba byuuma etutte omukubi w’ebifananayi emisinde bwabadde agikuba ebifaananayi.
Josiah Ryan, akolera olupapula lwa TheBlaze, y’ataddeko kakokola tondeka nyuma nga bwabadde akuba emmese eno ebifaananayi.
Ono asizza ekikoowe n’ategeeza nga emmese bwebadde emuliddewo.
Mu ggwanga lya America wazzeewo omuzannyo ng’abagwetabamu beeyiira amazzi aganyogoga ng’omuzira
Ekigendererwa ky’omuzannyo guno kyakujjukiza bantu ku bantu abeesiba emisuwa era nga abamu ku bagagga nkugwe okuli ne Bill Gates amaze okugwetabamu
Wabula omu ku beetabye mu muzannyo guno kati afuuse mboozi , oluvanyuma lw’okusittuka amazzi gonna negamuyiikira yadde abadde agayiira mwanyina.
Omukyala ono kimuyitiriddeko nti aamaziga ga…
Poliisi ye Kibuye eriko omukazi kalittima gw’ekutte lwakokyera bba mu nyumba.
Bino bibadde ggangu ku lw’ebusaabala .
omukazi ono atanategerekeka manya aludde nga alabula bba okumwokera mu nyumba ne mujjawe okutuusa lwakituukirizza .
Kalittima ono ageze bba agenze wamuggyawe enyumba n’agikolereza.
Omu ku beerabiddeko n’agage Diiro Paul agamba omusajja amanyiddwa nga taata Moris asirikidde mu nyumba eno nga yye…
Omusajja enzaalwa ya America amazaalibwa ge ag’emyaka 73 gamusanze ku mulimu.
Omulimu gw’akola gwa mataala era nga kati agukoledde emyaka 73
Omusajja ono yagamba nga abantu nti alinda kuweza myaka 100 alekulire kyokka nga bweyagiweza n’akyuusa ekirowoozo.
Omusajja ono yatandika okukola emirimu gye mu mwaka gwa 1941
Akakiiko akategesi kemipiira gyebika bya Baganda kategezezza nga bwekagenda okutuula kasalewo kukyemipiira ebiri egitazanyidwa olunaku lweggulo wakati we’Mpologoma ne Omutima Omuyanja kwosa ogwo’Lugave ne Ngaali.
Team ya Ngaali ne Mpologoma tezalabiseeko wabula zawandiikidde akakiiko oluvanyuma lwokufuna Fixtures ekikeerezi era omuwandiise Mwami Kabunga ategezezza nga bwebagenda okutunula munsonga zino.
Emipiira gyakuddamu olunaku lwenkya nga Engabi Enyunga ezannya ne…
Abasuubuzi mu katale ka USAFI babigudde buto ku luno nga bagaala palamenti ekkirize beegule nga basasula obuwumbi 35.
Abasuubuzi amaloboozi gaabwe bagayisizzaamu bwebabadde bakyaliddwa ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga.
Nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Col Fred Mwesigye, ababaka basuubizza okwetegereza ensonga eno nga tebannasalawo kyankomeredde
Abasuubuzi bagamba nti abagaala okukulakulanya akatale bayinza okujja…
Abasumattuse akabenje ke Nakasongola olunaku lwajjo bajja bakuba ku matu
Abalwadde bano abawerera ddala 16 bajjiddwa mu ddwaliro e Nakasongola nebaddizibwa e Mulago olw’embeera embi gyebabaddemu
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusasira agambye nti abantu mukaaga beebasibuddwa nga munaana bbo bakyabajjanjaba
Kusaasira agamba nti babiri ku bano wabula bakyaali bubi ddala
Ng’obubenje ku nguudo bujja bweyongera, poliisi nayo ekyusizza…
Omusajja agambibwa okutta mukyala we mu kampala omwaka oguwedde bamukwatidde Kenya
Moses Muhangi yadduka oluvanyuma lw’okutta Josephine Nambogo.
Muhangi omukyala gweyatta ye maama w’abaana be babiri era nga yamulumba mu maka ga bakadde be e Namasuba gyeyali yanobera
Akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Assan Kasingye agambye nti omusajja ono bamukomezzaawo ku butaka oluvanyuma lw’okufuna ekiragiro kya kkooti…