Omukazi enzaalwa ya Nigeria eyabadde asuubirizibwa okubeera n’ekirwadde kya Ebola kizuuliddwa nti musujja gwansiri gwegwabadde gumuluma.
Omukazi ono y’abadde asesema , nga alumwa omutwe n’obubonero obulala abalina Ebola bwebabeera nabwo.
Akulira guno naguli mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Jane Acheng agamba ono wakuna ku babadde bateeberezebwa okubeera ne ebola okuzuulibwa nti tebalina kirwadde kino.
Dr.Acheng wabula agamba bongedde okwekenenya buli…
Minisitule y’ebyobulamu yeetaga obukadde bwa doola 600 okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu myaka etaano egijja.
Enteekateeka eno esuubirwa okussa mu nkola ezinalwanyisa omusujja gw’ensiri omuli okufuuyira
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr. Asuman Lukwago agambye nti bakafuna obukadde bwa doola 200 okutandikirawo.
Lukwagoa gamba nti bagaala kutandikirawo okufuuyira naddala mu bifo ebirimu ennyo ensiri.
Omusujja gw’ensiri gwegwakasinga okutta abantu mu…
Abagezi mu nsi tebaggwaayo.
Mu ggwanga lya America waliwo omufuusa akutte omupoliisi obudongo okukkakkana ng’amuguzizza ensawo y’enjaga
Omupoliiisi ono alabika nga naye alobye ng’enjogera bw’eri kubanga aba akwata ku nsaow bw’ati, omufuusa n’agibuzaawo
Katambi akalaga bino kakalabwa abantu obukadde musanvu n’ekitundu
Abakugu bakyagenda mu maaso n’owkekebejja omusaayi gw’omukyala eyakwatiddwa ku kisaawe Entebbe ng’ateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Ebola
Omukyala ono yabadde ava mu ggwanga lya Nigeria
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti yadde omukyala ono alina senyiga n’omusujja, embeera ye teyeralikiriza
Ono agamba nti bakusigala nga bamwetegereza okutuusa nga bakkakasizza oba mulamu oba alina obulwadde era…
Abamu ku babaka ba palamenti abali ku ludda oluvuganya gavumenti baweze okusimbira ekuulu embalira ya ministule y’amazzi n’obutonde by’ensi singa tessa mu nkola eky’okuwera obuveera.
Mu mwaka gwa 2011, gavumenti yayisa etteeka eriwera okutunda wamu n'okukola obuveera obutali bugumu , kyokka n'okutuusa kati etteeka lino teritekebwanga mu nkola.
Minisita w’amazzi n’obutonde by’ensi mu gavumenti y’ekisikirize Beatrice Anywar…
Abantu musanvu beebakakasibwa okuba nga bafiiridde mu kabenje akagudde e Nakasongola.
Baasi bbiri sikonaganye e Nakasongola ng’otuuka e Saasira nga kwekuli eya Gaga UAU 975H ebadde eva e Kampala ng’ekonaganye n’endala KK coach number UAM 104H ebadde edda Paidha.
Mu bafudde kwekubadde dereeva wa baasi ya gaaga atannaba kutegerekeka mannya
Abantu abawera bakyawaganimidde ng’abaddukirize bakola kyonna ekisoboka okubatemayo
Omu…
Omusajja abbye banka oluvanyuma lw’okweyambulamu engoye zonna akwatiddwa lubona nga azzaako engoye zino mu kabuyonjo eriranyewo.
Ezekial Deanda, 32, atuuse mu banka emu nagyamu engoye olwo nanyagulula banka eno olwo n’amanyuuka awatalai kagoye konna ku mubiri.
Wabula abaserikale ba poliisi bamulinye akagere era bamusanze azzako engoye zino mu kabuyonjo emu nga bwabala ne kavu.
Olukwatiddwa nafujjira abaserikale bano…
Ebibiina by’obwanakyewa biraze okutya olwa gavumenti okulemererwa okukuuma ebibira mu ggwanga.
Bano bagamba nti kati yiika z’ebibira ezisoba mu mu mitwalo 9 zezimaze okusanyizibwawo.
Akulira ekibiina kya livelihood and environment Gaster Kiyingi agambye nti gavumenti ekyalemeddwa okuteeka ensmbi ezimala mu kitongole ky’ebibiira, okusobala okulwanyisa ababisanyawo.
Yye akulira ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya Anti-corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agambye…
SSabasajja Kabaka akunze abaganda okubeera obumu mu kutuukiriza ebiruubirirwa bya Buganda.
Omutanda asiimye enteekateeka za Kamalabyonna n'ajjukiza abantu ku kalungi akali mu bulimi.
Asabye buli omu okufuba okulaba nti ebissibwa mu mbalirira ya Buganda tebikoma mu biwandiiko wabula bissibwe mu nkola.
Ssabasajja abadde aggulawo lukiiko lw'okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y'obwakabaka eyayanjibwa gyebuvuddeko
Abatuuze b’eKabagoma mu disitulikiti ye Ibanda beralikirivu ku kirwadde ekisse ebinyonyi ebisoba mu 1000.
Ssentebe wa Lc ya Ndoragi, Samson Bukiriro agamba ekirwadde kino ekitwaliddemu n’enkoko kisooka kukenenula binyonyi bino minyira n’oluvanyuma nebikotyonkoka ekivaamu okufa.
Bukiriro agamba kyannaku okuba nti ate abinyonyi ebifu biweereddwa embizzi kyagamba kyabulabe eri obulamu bw’omuntu naddala abo abalya enyamma y’embizzi nga abasawo…