Amaggye g’eggwanga gawakanyizza eby’okwezza enteekateeka za NAADS
Ng’afulumya abajaasi 63 abatendekeddwa mu byobulimu, akulira enteekateek y’okugaggawaza abantu Gen Salim Saleh agamby enti bagenda kuyambako mu kulondoola sso ssi kwezza bintu
Saleha gambye nti era amaggye gaakukola ku by’obutale, okukola ku nteekateek z’okukungula entuufu n’ebirala naddala mu kulongoosa ku nnima.
Akikkatirizza nti amaggye bakukolagana n’aba NAADS okulaba nti ebintu…
Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga kyaddaaki ataddewo olunaku kw’enasalirawo eggoye ku nsonga za loodimeeya Erias Lukwago
Kino kigenda kubaawo nga 21st omwezi gw’omunaana lwe lunaku lw’okuna ku ssaawa nnya ez’oku makya
Mu mwezi gw’okuna, kkooti eno yamaliriza okuwulira okwemulugunya kwa Lukwago mw’ayita okusaba nti kkooti eyise ekiwandiiko ky’enkomeredde ekiragira nti emiziziko gyonna egimulemesa okudda mu ofiisi giveewo
Ono awakanya…
Bannasayansi bazudde eddagala eriyinza okuyamba abantu nebatamanyuuka nviiri kufuna kiwalaata
Eddagala eryogerwaako lyelibadde likozesebwa ku bantu abalina amagumba agatayunga bulungi
Eddagala lino erimanyiddwa nga ruxolitinib liyamba omuntu okumera enviiri
Abakoze okunonyereza kuno beeba Columbia University Medical Center.
Ekiwalaata nno yadde abamu bakiyita kabonero ka bugagga naye bulwadde bwneyini.
Mu ggwanga lya Bungereza, ku buli bantu olukumi b’osanga babiri babeera n’ekiwalaata
Bannasayansi…
Veri Junior Kengoro ye Muntu asoose okuganyulwa mu nkambi ekubiddwa mu ddwaliro e Mulago okulongoosa abalina ebizimba ku bwongo.
Kengoro aludde ng’alumizibwa omutwe nga talina maanti kyokka nga bino kati lufumo
Ono nno yoomu ku balwadde 30 abalina ebizimba ku bwongo abalina okulongoosebwa mu nkambi efundikirwa ku lw’okusatu lwa ssabbiiti eno
Akulira abalongoosa emitwe, Dr Michael Muhummuza omuwendo…
Eyali omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya yegaaye eby’okufuna akasiimo ke ak’obukadde 500 okuva eri gavumenti.
Kino kiddiridde minisitule y’abakozi gyebuvuddeko okutegeeza nga ono bwebamusasula okujjako enyumba n’emmotoka byebatannakolako.
Bukenya yemulugunya nga yye eyali omukulembeze w’eggwanga gavumenti bwemuyisaamu amaaso nga tafuna kasiimo ke sso nga abalala baasasulwa dda.
Bino abyogedde alabiseeko mu palamenti okwongera okwekubira enduulu okusasulwa akasiimo…
Abasaabaze abantu wano mu Kampala basazeewo okuteeka wansi ebikola okutandika ku mande ya wiiki ejja.
Bano kuliko abavuzi ba taxi, abagoba ba bodaboda, abasipesula abavuga biloole n’abalala.
Bano bemulugunya nga akakiiko akatekebwawo aba KCCA bwekabayisa nga eky’okuttale.
Enzikiriziganya eno etuukiddwa mu lukungaana olukubiddwa wali e Ntinda.
Ekitongole ekiwooza kitadde envumbo ku mugagga omuto Suleiman Mbuga banji gwebamanyi nga SK Mbuga obutava mu ggwanga lwabbanja.
Ono avunanibwa kwebalama musolo gwabukadde obusoba mu 200.
Omukunganya w’amabanja mu kitongole kino Abdul Salaam Waiswa agamba ono basazeewo okumuteekako envumbo lwakukitegeerako nti abadde ayagala kufuluma ggwanga.
Ategezeza nga ekitongole ekiwooza bwekitayagala kutuuka ku
nkola nga eno naye abantu abasinga bebabawaliriza…
Tiketi z'omupiira gwa Uganda Cranes ne Guinea zakutandika okutundibwa olunaku lwenkya mubifo ebyabulijjo.
Akulira ebyamawulire mu Fufa,Hussein Ahmed ategezezza nga abawagizi enkumi etaano (5,000) abanasooka okugula tickets zino bwebagenda kubasalirako okuva kumitwaalo ebiri (shs 20,000) okutuuka ku mutwalo gumu nekitundu (shs 15,000).
Kino bakikoze okusikiriza abawagizi okugula tickets zino wamu nokwongera obuwagizi eri team yegwanga.
Omupiira gwa Cranes…
Kyaddaaki abasuubuzi ku akeedi 3 okuli galilaaya, gazaland ne corner Arcade nebaggulawo amaduuka gaabwe
Abaduubuzi bano beediimye olunaku lwajjo lwonna nga bawakanya eky'okwongezebwa ensimbi z'obupangisa n'ebisale bya kabuyonjo ebiri waggulu
Abakulu bano teboogedde lwaki bazzeemu okukola kyokka nga tukitegeddeko nti naggagga Tom Kitandwe yeeganye okwongeza ez'obupangisa
Yye aduumira poliisi y'oku paapa enkadde Moses Abigaba agamba oluvanyuma lw’okusisinkana…
Emikolo gy’okusala embalu mu disitulikiti y’e Mbale giri mu ggiya nene.
Olunaku olwaleero abagishu lwebatongoza omwaka gw’okusala embalu mu kisaawe kye Mitoto nga n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okugwetabako.
Kati omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Shaban kashimate agamba eby’okwerinda biri ggulugulu.
Omulenzi okufuuka omusajja mu bagishu aba alina okusalibwa embalu nga era basala okuva ku myaka…