Abasuubuzi ku bizimbe bisatu basazeewo okuggala amaduuka gaabwe ng'obuzibu za bupangisa.
Ebizmbe ebyogerwaako kuliko Corner aracade, Galiraaya ne Gazaland.
Bagamba nti kyabawedde okufuna amawulire ng'ensimbi z'obupangisa zongezeddwa ate mu ngeri yekibwatuukira nga tebalabuddwa
Bano bagamba nti n'embeera ebizimbe gyebirimu ssi ye eryaawo eseeza omuntu kubanga tebirina kabuyonjo nyonjo ate nga ziseerebwa.
N'emasanyalaze nsonga ku bizimbe bino nga babasaba ensimbi…
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 olunaku essaawa yonna asuubirwa okuggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 21.
Beene asuubirwa okwanja ebirubirirwa by’obwakabaka eby’omwaka gw’ebyensimbi ogujja okusinziira ku mbalirira eyayisibwa.
Sipiika w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya agamba baakuteesa ne wwa Buganda wetuuse mu kuzzawo amasiro ssaako n’okuddabiriza ekizimbe kya Masengere.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naye wakwogerako…
Omukyala w’omukono ogumu asitula obuzito afuuse ekyelorerwa
Krystal Cantu eyatemebwaako omukono omwaka gumu ebanga oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje asitula akazito ka kilo 210 ng’akozesa omukono gumu
Omukyala ono agamba nti tayagala bya kwekubagiza nga y’ensonga lwaki abeera akozesa omubiri gwe
Abakola ku byobulamu bagamba nti obulwadde bwa Ebola obwalumba amawanga g’obuvanjuba bwa Africa bwkaumala emyezi emirala mukaaga nga bubatta .
Ab’ekibiina kya Medecins Sans Frontieres bagamba nti obulwadde buno bwasooka kuyisibwaamu maaso nga kati busimbye amakanda kizibu okuziguukululwa
Bano bakwataganye n’ab’ekibiina ky’ensi yonna eky’ebyobulamu abategeezezza ng’obulwadde buno bwebuli obwaamanyi okusingako ate bwekyalowoozebwa
Ministry y’ebyobulamu etegezeza ng’omuwendo gw’abaana abazalibwa n’akawuka kamukenenya bwegweyongedde okukendera.
Okunonyera kulwaga nti abaana abazalibwa ne mukenenya bakendedde okuva ku baana 15,000 mu okutuuka ku baana 8,000 omwaka guno.
Minister w’ebyobulamu Dr. Rukahana Rugunda agambye omuwendo guno okukka kivudde ku kawefube akoleddwa okutangira abaana okuzaala abaana abalina akawuka.
Abantu abasoba mu mitwalo 10 beebafunye emirimu mu kitundu ekisoose eky'okuwandiika abantu, okufuna endagamuntu.
Wabula minister Aronda Nyakairima agambye nti emirimu gyigenda kukendera mu kitundu ekyokubiri.
Aronda agambye nti okuwandiika abantu ekitundu ekisoose kutambudde bulungi era n’eyebaza emikutu gy’amawulire, banabwabufuzi wamu ne bana diini.
Mungeri yemu aronda agambye nti minister terina busobozi okuwandiika bana Uganda abali emitala wamayanja.
Ye…
Olukiiko lw’eggwanga olukulu lusabiddwa okuyita minister w’ebyentabula Ibraham Byandala anyonyole ku mivulo egyetobese mu kukola oluguudo oluva e Mukono okuda e Katosi.
Kino kiddiridde amawulire okulumiriza Byandala okulagira ekitongole ky’ebyenguudo okuwa contract ya Buwumbi 24 eri Kampuni ya EUTAW okukola oluguudo luno.
Ssabawandiisi w’ekitongole kya Civil society Coalition on Transport Sam Mutabazi agambye nti minister alina okunyonyola…
Abakulu okuva mu kitongole ekitereka ensimbi z’abakozi bibakalidde ku matama bwebatuuse okunyonyola engeri muwala wa kaliisoliiso wa gavumenti gyeyafunamu omulimu mu kitongole kino.
Abakulu bano ababadde bakulembeddwaamu abakulira Geraldine Ssali babadde balabiseeko mu kakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nsonga eno oluvanyuma lw’okwemulugunya kw’ababaka.
Mps including Joseph Sewungu, Ann Maria Nankabirwa ne Teopista Nabulya beebemulugunyizza ku ngeri Elizabeth Nabakooza…
Akakiiko ka Buganda akakola ku by’ettaka kalabudde abantu abesomye okwesenza n’okutunda ettaka ly’obwakabaka.
Akulira akakiiko kano , Kyewalabye okulabula kuno akukoledde mu kuggulawo ofiisi z’akakiiko kano ku ssaza mu disitulikiti ye Mukono era nategeeza nga obwakabaka bwebutajja kulonzalonza kugoba Muntu yenna eyesenza ku ttaka lino mu bukyamu.
Okulabula kuno wekujidde nga abakulira eby’ettaka mu disitulikiti ye Masaka…
Kizuuliddwa nga abasibe abasoba mu 4000 bwebatalina yunifoomu.
yye akulira ekitongole ky’ebyamakomera Johnson Byabashaija kino akitadde ku butaba nansimbi zimala.
Agamba olwobutaba na nsimbi zino, buli musibe bamuwa peya ya yunifoomu emu n’abakozi bwebatyo.
Wabula agamba nti kati embeera eno eri kalekaleko okusinga nga bwegwaali wabula nga olufuna ensimbi baakugula endala.