Abantu bonna balabuddwa okwegendereza emmere gyebagula okuva mu zi supamaketi
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba balambudde ebifo bino ebisinga nebakizuula nti tebirina bakozi batendeke mu kutereka emmere eno okuli enyama n’enkoko nga ebiseera ebisinga bivunda.
Wabula era asabye abantu bonna okubalopera abo ababaguza ebintu ebiyiseeko kubanga byabulabe eri obulamu bwaabwe.
Okulabula kuno kuddiridde okuggala ebifo ebitunda…
Kkooti etawuuluza enkaayana z’emizannyo eremezzaayo ekibonerezo ky’emyezi ena egyaweebwa Lius Suarez nga takoona ku kapiira ka mpaka zino.
Wabula ono akkiriziddwa okugenda mu maaso n’okutendeka ne tiimu ya Barcelona gyeyakegattako
Suarez avunaanibwa kuluma munne omu Italy mu mpaka z’ekikopo ky’ensi Uruguay bweyali ezannya ne Italy
Emmotoka mwenda zeezonoonese ekimotoka ekibadde kitisse sikulaapu bwekizitomedde
Akabenje kano kabadde wali ku stretcher e Ntinda
Atwala ebyentambula ku poliisi y’okuluguudo lwa Kiira, Emmanuel Erem agamba nti ekimotoka number UAG -726 C ebadde eva e Ntinda eremeredde omugoba waayo n’esabaala emotoka ezibadde zidda e Ntinda
Mu kabenje kano , omuntu omu y’alumiziddwa ng’ono ategerekese nga Patrick Okumu owe…
Olukiiko lwa ba minisita liyisizza obuwumbi 39 okuyambako okuzza obuggya ekitundu kye Kasese ekyataagulwa amataba
Mu mwezi gw’okutaano omwaka guno, amataba gaalumba abe Kasese okukkakkana nga gasanyizzaawo eddwaliro, amasomero n’enguudo
Omwogezi wa gavumenti Rosemary Namayanja agamba nti ensimbi zino zigenda kuyamba abantu okuva mu magombolola asatu okuli erye Nyarumba, Nyamwamba, ne Maliba.
Munnabyabusuubuzi Godfrey Kato Kajubi azzeeyo mu kkooti ng’agenze mu kkooti y’okuntikko
Ono awakanya ekibonerezo ky’amayisa ekyamuweebwa n’okusingisibwa omusango
Kajubi yakasingisibwa omusango gw’okusaddaaka omwana Joseph Kasirye emirundi ebiri
KKooti enkulu yeeyasooka okumusingisa omusango ne kkooti ejulirwaamu n’ekola ekintu kyekimi
Mu kujulira kw’ayisizza mu munnamateeka we Anthony Wamei , Kajubi agamba nti abalamuzi bonna beesigama nnyo ku bujulizi obwatwalibwa omusawo w’ekinnansi…
Entiisa ebutikidde abatuuze b’okukyalo Bugomola mu disitulikiti ye Rakai ,oluvanyuma lwokugwa ku mulambo gwa mutuuze munaabwe eyetugidde ku muti oluvanyuma lwokwekebezza neyesanga nga allina siriimu
Gerald Nkambwe y’asangiddwa nga alengejera ku muti kumpi n’oluguudo ,oluvanyuma lw’okweyimbamu ogwakabugu bweyakizudde nga alina siriimu.
John Mulindwa omu ku baliraanwabe, agambye nti Nkambwe abadde yeeyisa mungeri etali yabulijjo era bewunyizza okukitegeera…
Mu ggwanga lya china waliwo akabizzi akaazaliddwa nga kalina amagulu 6.
Kano kazaaliddwa mu ssaza lye Sichuan wabula nga amagulu agamu galiko obulinya 2 ekitegeeza nti kalina obugere 8.
Kkwo okutambula kukakalubirizaamu olw’obutanywera bulungi ku ttaka nga katambula.
Amagye ga UPDF gasindisse team 5 ez’abanamagye nga bano Bebagenda okukiikirira Uganda mumizanyo gy’amage ,ga’mawanga aga east Africa egigenda okubeera mu kibuga Zanzibar akya Tanzania.
Zibno team zigenze nabantu 101, nga bano bagendda kwetaba mumizanyo okuli omupiira, omupiira ogwengalo,okubaka,Basketball, kko nemisinde .
Bwabade asibula teama eno, amyuka aduumira amagye ge gwanga Maj General charlse Angina bano abasabye…
Abasibe mu kkomera erisangibwa ku kizinga kye Rikers mu kibuga Nweyork beekalaasizza nga si kirala wabula butalaba TV.
Abaddukanya ekkomera lino basindise abasibe okwebaka nga bukyaali okwawukanako nga bwebiba bulijjo abakulu bano kyebatakkirizza
Abasibe bano bwebalagiddwa okugenda okwebaka babigaanye era mu kwezooba n’abakuumi okusukka essaawa 2, eryaanyi likozeseddwa nga bakubwaamu omukka ogubalagala.
Abasibe bano babadde beebakanga ssaawa 11…
Fufa efulumizza ebisale byemipiira gya Uganda Cranes,egigenda okuzanyibwa Namboole okutandika nomwezi ogujja mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa mugwanga lya Morocco omwaka ogujja.
Uganda yakusooka kukyaaza Guinea nga 10th omwezi ogujja,ezzeeko Togo nga mu October oluvanyuma esembyeeyo Ghana mu November womwaka guno.
Akulira ebyensimbi mukibiina ekifuga omupiira
Decolas Kiiza ategezezza nti Emipiira gyonna abawagizi bakusasula ensimbi zezimu…