Eyali omukulembeze w’eggwanga lya Misiri, Hosni Mubarak yeeganye okuyisa ekiragiro nti abaali beekalakaasa nga baagala ave mu ntebe mu mwaka 2011 battibwe
Mubarak, 86, abadde ayogerera mu kkooti omulundi ogusookedde ddala ku misango egimuvunaanibwa egy’okutta abeekalakaasi
Akkirizza nti yakola ensobi nyingi kyokka nga byonna yabikola okutaasa eggwanga lye.
Omukulu ono yamamuulwa ku ntebe mu mwezi gw’okubiri omwaka 2011…
Ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna kigamba nti eggwanga lya Kenya liri mu bulabe bw’okulumbibwa ekirwadde kya Ebola
Kino kiva ku nsonga eno abantu abasinga abatambula okugenda mu mawanga agali mu bugwanjuba bwa Africa bayita mu Kenya
Ekibiina kino kati kiyisizza okulabula eri amawanga ga East Africa nti ekirwadde kino kyandibatuukako akadde konna.
Abakugu mu byobulamu balwana kutangira kirwadde kya…
Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bongedde akazito ku akulira abavuganya mu palamenti okwogera ababaka abalidde ensimbi za gavumenti
Wafula Oguttu yategeezezza nga bwewaliwo ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti abawerera ddala18 abaafunye obukadde 110 okusasula amabanja gebazze balya ku lwaabwe.
Omubaka akiikirira abantu be Ajuri Denis Hamson Obua agamba nti Oguttu awewudde palamenti era nga alina okunyonyola
Bano…
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku by’obuzimbi benyamidde olw’okusika omuguwa okuliwo mu bakungu ba gavumenti ku nteekateeka y’okutereeza entambula y’eggaali y’omukagga
Nga basisinkanye minisita omubeezi akola ku by’enguudo John Byabagambi, ababaka bano bagambye nti olutalo oluliwo wakati wa minisitule ekola ku by’enguudo n’ey’amateeka lwolese okukosa omulimu gwonna.
Akulira akakiiko kano, Ephraim Biraaro yye kino akitadde…
Waliwo ekibinja ky’abakyaala n’abaana 32 abayimbuddwa abayeekera ba LRA abadumirwa ssabayekera Joseph Kony.
Bano bavudde Digba munda mu ggwanga lya Congo nga wakayita ennaku 2 zokka nga abakyaala 13 kyebajje bayimbulwe abayeekera bano.
Omwogezi w’ekibiina ekilwanirira abaana mu ggwanga ekya invisible children Michael Mubangizi agamba guno muwendi munene nga era basuubira banji bakuyimbulwa.
Agamba mu bayimbuddwa kuliko n’omwana…
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku luguudo oluva e masaka ku kyalo Villa.
Omusajja abadde avuga pikipiki nga aweese abantu 3 bakooneddwa baasi ya kampuni ya global namba UAT 771P ebadde eva e Mbarara okudda e Kampala.
Akulira poliisi y’ebidduka e Masaka James Tebaijuka agamba abagenzi tebategerekese mmanya wabula nga poliisi ekutte dereeva wa baasi…
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu agaanye eby’okusindikirizibwa okwatula amanya g’ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti abagambibwa okulya enguzi okuva eri gavumenti.
Wiki ewedde Oguttu aliko ababaka 18 beyalumiriza okulya obukadde 110 okusasula amabanja gaabwe.
Oguttu agamba abo bonna abamuteeka ku ninga okwasanguza amanya beebo abakukuta ne gavumenti.
Anyonyola nti ssiwakutiisibwatiisibwa bantu balidde ssente ate nebadda mu kwebuzabuza.
Kkooti eyimirizza eby’okusengula abantu abasenga ku ttaka ly’oluguudo lw’eggaali y’omukka
Amyuka omuwandiisi wa kkooti ye Nakawa, Flavia Nassuuna y’alagidde KCCA obutaddamu kusengula bantu bano okutuusa ng’okwemulugunya kwaabwe kukoleddwaako
Kkooti egambye nti okutuusa nga kitegerekese ani nnanyini ttaka omutuufu, buli kimu kigira kiyimirira
Nasuuna agambye nti okusinziira ku bujulizi obuleeteddwa,kyeyoleka nti abantu bano babadde bamanyiddwa KCCA n’ekitongole ky’eggaali y’omukka…
Ekibiina ekikulembera omupiira kulukalu lwa Africa ekya CAF kikirizza egwanga lya Sierra Leon okulyaliza emipiira gyayo mugwanga eddala erya Ghana.
Kino wekigidde nga Democratic Republic of Congo esabye obutagenda mugwanga lya Sierra Leone olwekilwadde kya Ebola ekyabalukawo mubitundu byebugwanjuba bwa Africa.
Emipiira emirala okuli ogwa Togo ne Guinea abali mukibinja omuli Uganda Cranes nagwo gukirizidwa gutwalibwe wabweeru…
Minister webyemizannyo mubwakabaka bwa Buganda owekitiibwa Henry Sekabembe olunaku lwa’leero alambudde ekisaawe kya Muteesa 2 ekye’Wankulukuku nga o’Buganda bwetegekera okwaniriza Ssabassajja Ronald Muwenda Mutebi owokubiri kumpaka eziggulawo emipiira gyebika bya Baganda kulwomukaaga lwa week eno.
Katikiro wabuganda owek Peter Mayiga yasuubirwa okutongoza empaka zomwaka guno.
Emmamba Gabunga yegenda okuggulawo nebazzukulu ba Mutesasira ebeddira e’Ngo era emikolo egyokutongoza…