Olukiiko olwayitiddwa KCCA n’abasaabaza abantu mu kibuga lugudde butaka
Kiddiridde akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi obutalabikako n’aweereza abakiise be
Kino abasabaaza abantu omuli aba Taxi ne pikipiki kyebayise okubayisaamu amaaso nga kati bataddewo olunaku lwa nga 19 omwezi guno okuddamu okutuula
Abakulu bano beemulugunya ku ngeri gyebayisibwaamu mu kibuga nga batulugunyizibwa
Bakulembeddwaamu Mustafa Mayambala nga kati bagaala KCCA…
Okuyimba oba okukuba ebyuuma by’okuyimba kiyamba abaana okwongera okusoma .
Abanonyereza okuva mu Amerika bagamba nti okuyimba kuyamba nnyo abaana abali wakati w’emyaka 9 ne 10 okwongera okuyiga n’okuwawula obwongo
Bino byagezeseddwa ku bibinja by’abaana bibiri ng’emu kyabadde kisoma bwekiyimbamu ate ekirala nga kisoma busomi
Gyebyagweredde, ng’abayimbamu basoma bulungi nnyo era nga bagezigezi
Kati gwe Akaka omwana okusoma nga…
Eggwanga lya Liberia lirangiridde nti omuwendo gw’abalina ekirwadde kya Ebola gubayitiriddeko obungi nga tebakyabasobola.
Bano bagamba nti yadde bakola kyonna ekisoboka okutaasa abalwadde, omuwendo gwongera kukula
Bbo ab’ekibiina ky’obwannakyeewa ekya MSF bagamba nti gavumenti yasooka n’enagayaalirira obulwadde buno nga yagenda okuzuukuka nga tewakyaali kizzibwa
Abantu abasoba mu 1000 beebakafa Ebola mu bugwanjuba bwa Africa ate…
Abakyala bangi b’oyitako nga bafuuwa sigala kyokka nga bali mbuto
Naye okimanyi nti sigala ono akosa okussa kw’omwana
Kino kiva ku mukka guno okuzikira amawuggwe ge omukka ogussibwa neguba nga tegutambula bulungi
Dr Daniel Kadomero okuva mu minisitule y’ebyobulamu agamba nti sigala ono alimu taaba ng’ono atuukira ku mwana era n’akosebwa
Dr.kadomero era agamba nti abafuuwa taaba batera okuzaala…
Minisitule y’ebyobulamu yetegudde eky’obutakola kimala kutaasa bantu bali mu nkambi y’ababundabunda e Kyangwali endwadde okuli ekiddukano n’omusujja gw’ensiri.
Enkambi eno erimu abantu abasoba mu 2561 wabula nga bonna bakozesa kabuyonjo emu.
Kati omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Asuman Lukwago agamba minisitule y’ebigwa tebiraze yerina okutegekera abantu bano okulaba nga enkambi eno tefuuka kattiro.
Agamba minisitule y’ebigwa tebiraze esaanye…
Poliisi ye Kibuye ekyanonyereza ku kyavuddeko omuliro ogwakutte enyumba negutta omwana ow’emyaka 2 eyalekeddwa bazaddebe mu nyumba.
Omugenzi ategerekese nga Josephat Mundwe nga nzaalwa ya Congo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba tebanazuula kyavuddeko muliro guno nga n’abazadde b’omwana ono kati baliira ku nsiko wabula singa bakwatibwa bakuvunanibwa gwakulagajalira mwana.
Mungeri yeemu poliisi era ekyanonyereza ku…
Kati nga tonnafa tewevuma nsi.
Mu ggwanga lya Amerika mu kibuga Washington, waliwo namukadde ow’emyaka 87 aweereddwa ogw’obukuumi bwokukyalo.
Davis Olinger okuva bwekiri nti yazilwanako mu ssematalo owokubiri abatwala eby’obutebenkevu bakirabye nti ssabbaawa gyeyalina mu ssematalo yandiyamba okukuuma ekyaalo.
Ono kati yaweereddwa dda sselubwatula era akuuma kyalo.
Entiisa ebuutikidde abatuuze b’okumwalo gwe lambu e Masaka oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omukazi atannategerekeka nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi.
Omukazi ono atabadde nabimwogerako atiddwa mu loogi emu emyandiddwa nga Amenya .
Okusinziira ku ssentebe w’abavubi ku mwalo guno John Kiyimba, omukazi ono alabika abadde malaaya okuva mu Nyendo nga era ateberezebwa okuttibwa omusajja ategerekese nga Mike.
Agamba abantu…
Waliwo ekibinja ky’abakukulisitu ekirumbye palamenti nebakwanga sipiika Rebecca Kadaga ekiwandiiko nga baagala etteeka ku bisiyaga liddemu okuletebwa mu palamenti liddemu okufulumizibwa.
Kkooti etaputa ssemateeka yasazizaamu etyasoose lwababaka abesssalira abalina okuyisa etteeka lino obutawera.
Abasumba Wilber Mukisa ne George Oduch bebakwanze sipiika ekiwandiiko kino nebategeeza nga nga namujinga w’ebisiyaga bwatandise okulya abagoberezi ba kulisitu empisa gyebatayinza kugumikiriza.
Bano kati…
Entiisa ebutikidde abatuuze be Kibalinga mu disitulikiti ye Mubende oluvanyuma lwa ssemaka okutemako Mukyalawe omutwe , n’oluvanyuma namusala olubuto namuyiwa n’ebyenda.
Gregory Natuweera yasanjaze Esther Abimana lwankaayana za bintu oluvanyuma n’amalamu omusulo.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti Natuweera azze alwanagana ne Mukyalawe ono lwakumugaana kutunda erimu ku ttaka lyaabwe.
Poliisi omulambo yagututte dda mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa.