Gavumenti kyaddaki egonze ku nsonga z’abakulembeze b’ennono.
Esazizzaamu ebbaluwa gyeyawandiise ng’eragira nti abakulembeze b’ennono bonna bawandukululwe , era mw’ekyo bawandiisibwe buto
Minisita akola ku kikula ly’abantu, Mary Karooro Okurut agambye nti tebabadde na kigendererwa kyonna kyakusangulawo bakulembeze bonna.
Minisita okwekuba engalike abadde amaze okusisinkana ababaka okuva mu kabondo ka Buganda abamutadde ku nninga okunyonyola lwaki bagaala okutankuula entalo.
Ababaka…
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Ogutu avumiridde ekya gavumenti okwongera okusaasanya omusimbi mu babaka ab’oludda oluvuganya gavumenti.
Nga ayogerako ne bannamawulire olwaleero, Oguttu ategezezza nga bwewaliwo ababaka 18 ab’oludda oluvuganya abaafunye obukadde 110 okuva eri gavumenti okusasula amabanja agabali mu bulago.
Agamba kino kikontana n’amateeka agakwata ku by’ensimbi kale nga ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti asaana…
Obwakabaka ba Buganda buzzeemu okinogaanya nti ssibwakuzza byapabyogerwaako gavumenti
Ssabawolereza wa gavumenti yawandiikira Mengo ng’agisaba okuzza ebyapa 13 ku byapa 213 nga bino bya ttaka erisangibwa e Kooki, Buruuli ne Bugerere
Ssentebe w’ekitongole ky’ettaka mu Buganda, Kyewalabye Male agamba nti ebyapa bino bikyaali mu ngalo zaabwe era nga tebagenda kubizza
Kyewalabye ate yye y’abanjizza gavumenti ebyapa ebirala ebitannaba…
Abantu abakola ebyewunyisa tebaggwa mu nsi.
Omusajja enzaalwa ya Amerika akungaanyizza abakyala 200 n’abasaba bakkirize okwebaka naye mu kiseera kyekimu.
Omusajja ono okuva mu ssaza lye Kalifoniya bino ebikutte ku katambi k’assizza ku mukutu gwa Youtube.
Omusajja ono lw’asooka okusaba abakyala bano bonna bagaana
Amaggye mu ggwanga lya Liberia gataddewo emisanvu egikoma ku bantu okuva mu bifo ebikoseddwa obulwadde bwa Ebola okuyingira ekibuga ekikulu Monrovia
Kiddiridde omukulembeze w’eggwanga lino Johnson Sirleaf okulangirira akaseera k’akatyabaga mu ggwanga lye
Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka nga bwakatta abantu 930 mu mawanga g’obugwanjuba bwa Africa.
Mu ggwanga lya Sierra Leone, abakuumaddembe bayisizza ekiragiro ekikugira abalina obulwadde…
Omuwendo gw’ababaka abassa emikono ku kiwandiiko ekisaba nti etteeka ku bisiyaga likomezebweewo mu palamenti gutuuse ku 172
Olukalala okukuumibwa omubaka we Kawempe mu bukiikakkono Latif Ssebaggala lulaga nti omubaka Florence Mutyabule y’asembye okussaako omukono.
Ssebagala agamba nti musanyufu nti ababaka tebeganyizza kussa mikono ku kiwandiiko era nga bangi bakyajja
Yye omubaka akiikirira abantu be Kole Fred…
Gavumenti ya China etegeezezza nga bw’etasobola kusazaamu byasalibwaawo kkooti ku bannayuganda abaakwatibwa n’enjaga.
Omubaka w’eggwanga lino mu Uganda Zhao Yali agambye nti okukukusa ebiragala musango gwa maanyi mu mateeka ga China era nga teba kuttira Muntu ku liiso
Omukulu ono agambye nti teri Muntu asangibw an’enjaga n’asonyiyobwa kubanga abakikoze baba balina okusasula
Agamba nti omuntu yenna bw’asangibwa n’enjaga…
Enkuba eyamaanyi etonnya mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu eriko b’erese nga bafumbya miyagi
Ku kyaalo Namuwenje n’emiriraano, abaayo tebasizza birime
N’emiti gisiguse era nga gin awamu gigudde ku mayumba
Abasinze okukosebwa kuliko Nabbaale, Nakifuma, Kyampisi ne Nama
Enkuba eno era egootanyizza ebyentambula ng’awasinga nakati omugotteko gukyaaliwo
Laddu ejjidde mu nkuba etonnye emisana ga leero ekubye…
Abavubuka omwenda abavunanibwa okukuba olukungaana olumenya amateeka bongeddwawo ku alimanda e Luzira oluvanyuma lw’ababadde balina okubeyimirira obutalabikako.
Bano kuliko Ferdinand Luutu, Amos Ojok, Oloya Akena, Ambrose Juma, Nasimbwa Nalongo, Joram Mwesigye, Robert Mayanja, ne Norman Tumuhimbise.
Bano kati bakudda mu kkooti ya City hall nga 12 August 2014 maaso g’omulamuzi Elias Kakooza.
Oludda oluwaabi lugamba nti bano baaletawo…
Okumira eddagala lya Aspirin okumala ebbanga eddene kiyamba okukendeeza ku bulabe bw’omuntu okufuna kokoolo w’ebyenda
Mu ngeri yeemu era Aspirin ono ayamba ne ku kokoolo w’emimiro
Abanonyereza bagamba nti omuntu bw’amira Aspirin okumala emyaka 10 kimuyamba obutafa kokoolo w’ebika ebyo okumala ebitundu 35 okutuukira ddala ku 40 ku buli kikumi
Abanonyereza bano bagamba nti omuntu okufunamu aba alina…