Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ababaka bakubaganye empawa ku musolo gwa boda

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti bakubaganye enpawa ku ky’abagoba ba bodaboda okuwa omusolo Ng’alabiseeko mu kakiiko kano, minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye agambye nti yadde waliwo amaloboozi agasaba nti aba piki basaabye okusasula omusolo kiyinza okukosa emirimu gyaabwe Omubaka Raphael Magyezi agambye nti emisolo gino mugugu eri ababodaboda bano…

Read More

Abe Kasokoso babigudde

Wabaluseewo olutalo oluggya ku ttaka lye Kasokoso kireka Ettaka eryogerwaako liweza acre 292 nga lino aba National Housing bagamba lyaabwe kyokka nga n’abaliriko balumiriza nti lyaabwe Ababaka ba palamenti abatuula ku bakiiko akakola ku by’obuzimbi olwaleero bakitegeddeko nti aba National housing ettaka baaligula okuva ku kkampunie manyiddwa nga Kireka Estates Ltd kyokka nga ababiri bano tebasinkano ekireseewo…

Read More

Abaazimba ku ggaali y’omukka ne wansi w’amasanyalaze bakaaba

Akulira oluvuganya gavumenti mu palamenti avumiridde engeri KCCA gy’esenguddemu abantu abasenga mu luguudo lw’eggaali y’omukka. KCCA ssabbiiti ewedde yatandika okusengula abo bonna abasenga mita 30 okuva ku luguudo lw’eggaali y’omukka era nga bangi balozezza klu bukambwe Wafula Oguttu agamba nti ekikolwa kino ssi kyabuntu bulamu nga kyabadde kisoboka KCCa n’esooka okwogeramu n’abantu Wafula era asuubizza okunonyereza ku bigambibwa…

Read More

Ebya Mobile mane bigenze mu kkooti

Olutalo lw’okugyako aba Mobile Money omusolo lutuuse mu kkooti. Minisita w’ebyenfuna  Maria Kiwanuka akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakutandika kujja musolo ku mobile Money abamuwawabidde kyebagamba nti kimenya mateeka g’ebyenfuna. Joshua Tumwiine nga ono mukugu era yebuzibwako ku by’omusolo anenya Kiwanuka okubinika omusolo guno ogwa 10% ku Mobile Money mu mbalirira y’eggwanga eya 2014/2015 kubanga etteeka ly’ebyenfuna teryalambika …

Read More

Laddu ekubye bana- omu afudde

E sembabule entiisa ebutikidde abatuuze oluvanyuma lwa laddu okukuba omwana n’akalirawo. Bbo 3 batwaliddwa mu ddwaliro nga bali bubi. Omugenzi ategerekese nga  Shadrack Ebbo, nga abalumiziddwa kuliko  Joshua Muwanguzi ne Maria Keziyah. Maama w’omugenzi  Margret Nantongo agamba mutabaniwe yakubiddwa laddu mu nkuba eyabadde efudemba. Omu ku baddukirize ku kyaalo kino ekya  Kikondeka  Jude Kiganda agamba baawulidde enduulu wabula batuuse…

Read More

Ogwe Bundibuggyo guzzeemu

Okuwulira omusango gw’abantu abateberezebwa okulumba nebatta abantu mu bitundu bye  Bundibuggyo kukyagenda maaso nga bano bali 52 okuli n’abakulembeze b’obusinga bwe Rwenzululu 6. Okuwulira omusango guno kwali kwayimirizibwa omwezi oguwedde nga abamu ku bavunaanwa baagala kuwolerezebwa bannamateeka baabwe ssaako n’okuwakanya eky’okuvunanaibwa mu kkooti y’amaggye. Omwogezi w’ekibinja ky’amaggye eky’okubiri , Ronald Kakurungu agamba bano bakuvunanibwa emisango gy’obutemu kubanga…

Read More

Gavumenti tannasalawo ku ssabalamuzi

Ofiisi ya ssabawolereza wa gavumenti tenasalawo ku ky’okujulira oluvanyuma lwa kkooti okugaana Benjamin Odoki okuweebwa ekifo ky’obwa ssabalamuzi bw’eggwanga. Ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi agamba akyekeneneya mbeera olwo kwanasinziira okusalawo eky’okuzzaako. Wabula Nyombi acoomedde omu ku balamuzi Remmy Kasule eyamulangidde obutawabula pulezidenti kimala ku bya ssemateeka nga addamu okulonda Odoki ku bwa ssabalamuzi bw’eggwanga. Olunaku olw’eggulo kkooti etaputa…

Read More

KCCA eyagazaaki amasomero g’eddiini- DP

Ekibiina kya DP kitadde ku ninga kitongole kya  KCCA kyenyonyoleko lwaki  bakyalemedde  ebyapa by’amasomero gonna agali ku musingi gw’ediini gebaagala okukulakulanya. KCCA yawandikira amasomero gano gonna nga egasaba ebyapa byaago nga tebanatandika ku nteekateeka z’okukulakulanya amasomero gano. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, ssabawandiisi w’ekibiina kino  Matthias Nsubuga ategezezza nga KCCA bwekola kino okwagala okwezza amasomero gano. Agamba…

Read More

Odoki abadadde kkooti- tekinnumye

Eyali ssabalamuzi w’eggwanga Benjamin Odoki agamba nti eky’obutamwongera kisanja mu kifo kino tekimulumye kubanga yakola dda erinnya lye. Kkooti etaputa ssemateeka esazeewo nti eby’okwongera Odoki ekisanja bivvoola ssemateeka kubanga yakoona dda emyaka 70 egyogerwaako ssemateeka omukozi wa gavumenti okuwummulirako Mu mboozi eya kafubo ne Dembe FM, Odoki agambye mukakafu nti eggwanga aliwerezza bulungi era nga mwetegefu okulaba…

Read More

Abaasengulwa bongedde okutabuka

Poliisi efafaganye n’abatuuze b’omu ndeeba abaasengulwa okuva mu ggaali y’omukka. Kiddiridde abantu bano okwekalakaasa nga bakulembeddwaamu omubaka John Ken Lukyamuzi era ng’ono wetwogerera ng’akwatiddwa Bano babadde balwana lutalo nga ne kkooti eyongezaayo eby’okusengula abantu bano okutuuka nga 12 omwezi guno. Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Flavia Nassuuna y’ayongezzaayo  okuwa obudde munnamateeka w’abantu bano obudde okuddamu KCCA ku kwemulugunya Kiddiridde…

Read More