Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abasawo b’ebicupuli bakwatiddwa

Mu disitulikiti ye Lwengo abasawo b’ebichupuli 20 bakwatiddwa. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa abakulira eb’obulamu mu disitulikiti eno ne poliisi nga basangiddwa nga tebalina layisinsi ssaako n’okukolera mu bifo ebijama. Okusinziira ku akulira okulondoola eby’obulamu mu kitundu  Michael Kayizi, bakoze ekikwekweto kino oluvanyuma lw’okukizuula nti abasawo 70% mu disitulikiti eno tebalina bisaanyizo nga kale kino kyabulabe eri…

Read More

Ogwa Sahaka gwa nga 18

Kkooti etaddewo olunaku lwa nga 18 omwezi guno okuwulirako okusaba bw’okujulira okwakolebwa eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu gavumenti z’ebitundu John Kashaka Kashaka yasingisibwa omusango gw’okulya ensimbi z’obugaali era nebamussaako envumbo obutaddamu kukolera gavumenti okumala emyaka 10. Omulamuzi Catherine Bamugemereire era yamulagira okusasula obuwumbi 4 zeyalya Kashaka yeeyekka eyakajulira ebyasalibwaawo nga kati ayagala akkirizibwe okujulira Awadde ensonga y’emyaka nti ekoonye 60…

Read More

Abanonya ssente balemezza abaana ku nguudo

Ebibiina by’obwa nnekyeewa bisongeddwaamu olunwe okuba nga byebiremesezza abaana okuva ku nguudo Minisita akola ku nsonga z’abavubuka, Ronald Kibuule agamba nti ebibiina bino bikozesa ebifananyi by’abaana bano okusaba ensimbi ebweru nga nebwebafuba okubajjako , babasikiriza okubazzaako Kibuule ategeezezza akakiiko akakola ku nsonga z’ekikula ky’abantu ebimu ku bibiina bino tebikola na mu baana kyokka nga binoonya kulirako nsimbi. Wabula…

Read More

Okukuba ekyeeyo- etteeka lijja

Gavumenti eri mu nteekateeka ezisembayo okubaga amateeka aganagobererwa mu kulungamya abantu abatwaala bannayuganda okukuba ekyeeyo ebweru Kino kizze wakati mu kwemulugunya nti bannayuganda gyebasindikibwa abasinga batulugunyizibwa nga batuuka n’okufiirayo Minisita omubeezi akola ku nsonga z’abakozi Mwesigwa Rukutana agamba nti gavumenti eteekateeka okusisinkana abakulembeze mu mawanga omuli bannayuganda bano bateese kun kola entuufu ey’okugoberera. Rukutana abadde ayanukula babaka mu…

Read More

Ebisale by’okusoma bakufanagana mu East Africa

Amatendekero gonna agawaggulu mu mawanga ga East Africa gakubeera n’ebisale nga bifanagana. Kino kyatuukiddwaako abakulembeze b’amawanga gano abasisinkanye mu kibuga Kigali ekya Rwanda Kino era kyakoleddwa okutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza mu mawanga gonna. Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agambye nti Uganda tesobola kwewaggula nti yyo ebeere n’ebisale byaayo nga y’ensonga lwaki yakugoberera

Read More

Gavumenti ejulidde ku Odoki

Ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi ajulidde ensalawo ya kkooti ku ky’obutaddamu kulonda Benjamin Odoki ku bwa ssabalamuzi w’eggwanga Munnamateeka wa gavumenti Wanyama Kodooli agamba nti ssibamativu n’ebyasalibwaawo kkooti nti Odoki tasobola kubeera ssabalamuzi olw’emyaka Abalamuzi bana ku bataano aba kkooti etaputa ssemateeka basalawo nti Odoki yaweza dda emyaka 70 egyogerwaako abakozi ba gavumenti okuwummula kale nga tasobola…

Read More

Akakiiko akalondesa kagaala nsimbi

  Ensimbi  ezigenda okukozebwa mu kutegeka okulonda zeekubisizzaamu emirundi esatu mu mwaka gw’ebyensimbi guno Atwala eby’emirimu mu kakiiko akalondesa Leon Mulekhwaagamba nti beetaga obuwumbu 150 okuva ku buwumbi 51 zeebaakoza omwaka oguwedde Omukulu ono agambye nti engeri omwaka guno gyegulimu eby’okulonda, bajja kukozesa ensimbi eziwera Ono era asabye palamenti okuwagira akakiiko okulaba nti bafuna obuwumbi 243 zebeetaga okuddukanya emirimu…

Read More

Ebola atabuse- omusawo afudde mu Nigeria

Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka. Mu ggwanga lya Nigeria, Omu ku basawo abaakola ku musajja enzaalwa ya Liberia alina obulwadde buno afudde Omusajja gweyakolako yafiira mu kibuga Lagos ssabbiiti bbiri e Mabega Minisita wa Nigeria akola k byobulamu akakasizza okufa kw’omusawo ono. Omusawo ono afudde yakatuuka okuva mu Liberia gyeyava n’obubonero bw’obulwadde bwa Ebola. Kati abantu babiri beebakafa obulwadde bwa…

Read More

Etteeka ku bisiyaga teryetaagisa

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basimbye nakakongo nti etteeka ly’ebisiyaga teryetagisa. Kino kiddiridde ababaka okutandika okukungaanya emikono okuddamu okuyisa etteeka eddala oluvanyuma lw’eryasooka  kkooti etaputa ssemateeka okuligoba nti ababaka baali tebawera okuliyisa. Abalwanirizi b’eddembe bano bagamba singa etteeka lino liddamu okuyisibwa mu mbeera gyerilimu,lyakusattirira eddembe ly’obuntu. Omukwanaganya w’ekibiina kya  Human rights network, Mohammed Ndifuna agamba tebeetaaga tteekalino. Etteeka lino liragira omuntu…

Read More

Ba kansala batabuse ku loodimeeya

Waliwo ba kansala mu KCCA abaddukidde mu palamenti nga beemulugunya ku kya loodimeeya obutaba mu ofiisi Nga bakulembeddwaamu kansala Bernard Luyiga, ba kansala bano bategeezezza ng’empereeza y’emirimu mu kibuga bweyesibye olwa loodimeeya obutabaawo Luyiga agambye nti Kati emyezi mukaaga nga tebalina kyebakola ate nga n‘obutabawo bwa loodimeeya kimenya amateeka Ono kati asabye akulira oludda oluvuganya gavumenti okwongera okussa…

Read More