Ab’obuyinza e Masaka bagadde essomero lya St Jude Secondary School.
Ebisulo bibiri byebyayidde nga n’abayizi abawera bazirise nga balabye omuliro guno.
Akulira essomero lino Lukwago Mbaga bakkiriziganyizza okuggala essomero lino okusobozesa okunonyereza okugenda mu maaso
Mbaga agamba nti munaana ku bayizi abasoba mu kkumi abazirise bbo baddusiddwa mu ddwaliro.
Mbaga agambye nti bamaze okulagira abazadde okukima abaana baabwe nga…
.
Mu kibuga San Fransciso , omusajja eyakuza ekirevu nga kati akifudde sowaani afuuse ekyelolerwa
Isaiah Webb agamba nti mukyala we eyamuwa ekirowoozo yeeyamuwa amaanyi okukozesa ekirevu kye
Team yegwanga eya Cranes yakutuuka kuno olunaku lwenkya okuva mu ggwanga lya Mauritania gyeyawangulidde omupiira eggulo ku goal 1-0.
Team eno yessozze ekibinja ekyokutaano omuli amawanga Ghana,Togo ne Guinea era kuno ekibiina ekikulembera omupiira gwa Africa ekya CAF kwekigenda okulonda teams wamu nebibinja ebirala ezinasamba empaka za Africa cup of Nations mugwanga lya Morocco omwaka ogujja.
Gavumenti mu ggwanga lya Liberia eragidde nti abantu bonna abafa obulwadde bwa Ebola bookyebwe
Kiddiridde abantu abasinga okugaana okwewala abafudde obulwadde buno ekibwongedde okubuna
Mu ggwanga lya Nigeria nno era obulwadde buno butuuse nga waliwo omusawo abufunye
Obulwadde bwa luno bwebwakasinga okuba obubi era nga busse abawera
Benjamin Odoki eby’okuddamu okubeera Ssabalamuzi w’eggwanga abifuuye mu ngombe.
Abalamuzi bana ku bataano mu kkooti etaputa ssemateeka basazeewo nti ono okuddamu okugonomolwako ogufo guno eba nsobi era Kulinyirira ssemateeka.
Abalamuzi bano okuli Solome Barungi Bbosa, Eldad Mwangusha, Lilian Tibatemwa ne Remmy Kasule bonna bakkiriziganyizza nga Mukulu Odoki bweyatuusa dda emyaka 70 egy’okuwumula kale nga tasaana kudda ku…
Poliisi ekedde kulwanagana n’abavubuka abakedde okugumba ku kibumbe ky’obwetwaaze wali ku speke road nga bemulugunya ku bbula ly’emirimu mu ggwanga.
Bano babadde bakutte ebipande ebivumirira gavumenti gyebalumiriza obutabafaako.
Abasoba mu 10 bakwatiddwa nga bano babadde bakaalakaala ne sanduke y’abafu nga bakumye n’ekyooto okukungunbaga
Bino webigyidde nga abavubuka ababiri abaakukusa obubizzi okubuyingiza palamenti okuli Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja…
Mu Alabama, omusajja enzaalwa ya America addukidde mu kkooti okuwaaba omubbi eyayingiridde amaka ge n’anuusa evvu lya mukyala we eyafa. .
Phillip yaviibwaako mukyala we era nga bw’eri ennono y’abazungua bamu, nebamwokya evvu n’alitereka
Wabula zaleese omubbi ng’ono olwalabye kku vvu lino n’alissa mu kappapula olw n’alinuusa ng’enjaga yenyini
Omusajja ono agambye nti omubbi ono mu kunuusa evvu…
Waliwo abakozi abawunikiriza ekibuga London, bwebakozi amasuuti eg'ekitundu olwo nebatandika okutambula mu kibuga ngabalumya abalabi.
Bano bakoze obuwale bw’amasuuti bubakoma mu bisambi ate ngabubatipye, olwo nebalaga eswagga.
Eyatunze amasuuti gano amaze wiiki bbiri ng'obwongo bumwesera
Bannadiini baweze okwongera okulwanyisa ebisiyaga wadde nga kooti ettaputa ssemateeka yasazeewo nti etteka ery’ebisiyaga lyayisibwa mu bukyaamu.
Abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga palamenti teyalina babaka bamala.
Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiikakyamenya ssemateeka wamu n’amateeka agafuga palamenti.
Omwogezi w’essaza…
Ekitongole kya Kampala capital city authority kisanyizzaawo obuyumba obwazimbibwa ku makubo okuva e e Bakuli okutuuka e Kasubi ku masiro ne ku luguudo lwa Makerere hill road.
Obuyumba obumenyeddwa kuliko amabaala, obuymba bwa chapatti, wamu n’obuyumba obulala.
Ye atekeratekera ekitongole kya KCCA Joel Kiggwe agambye nti kino kikoleddwa okugaziya enguudo zino.