Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

wiiki y’okuyonsa etongozeddwa

Minisitule y’ebyobulamu eteekateeka okussa envumbo ku kutunda emmere y’abaana ennongoseemu mu malwaliro Minisita y’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti abantu abatunda emmere eno bakozesa olulimi lwonna olw’ebyobusuubuzi nga bagamba nti emmere nnungi nnyo eri abaana nebwebatayonsa ekintu ekijje abakyala ku kuyonsa abaana baabwe Rugunda agamba nti okuyonsa y’emmere esinga eri abaana nga tewali mmere nongoseemu yonna eyinza…

Read More

Eby’okusengula abantu butuuse mu palamenti

Ensonga y’abantu abasengulwa okuva ku luguudo lw’eggali y’omukka etuuse mu palamenti Omubaka wa Lubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi y’aleese ensonga eno nga yemulugunya ku ngeri abantu gyebasengulwaamu Lukyamuzi yebuuzizza lwaki KCCA epapiriza okugoba abantu ate nga n’enteekateeka zenyini z’eggaali y’omukka tezinnategerekeka Amyuka sipiika Jacob Olanya asuubizza okutunula mu nsonga eno. Bino byo nga bigenda mu maaso, beebasengula mu…

Read More

Ababaka balaze okutya ku Ebola- gavumenti egumizza abantu

Minisita akola ku byobulamu Dr. Ruhakana Rugunda agamba nti amawulire g’okubalukawo kwa Ebola mu bukiikkakkono bw’eggwanga ssi matuufu Kiddiridde okufa kw’omusajja agambibwa okubeera n’ekirwadde kino mu ddwaliro lye Kitgum Ng’ayogerako eri bannamawulire, Dr Ruhakana Rugunda agambye nti tebannategeezebwaako ku nsonga eno era ng’eggwanga teririimu Ebola No ebola lug Wabula ate mu kusooka, avunaanyizibwa ku ndwadde ezibalukawo, Dr Issa Makumbi…

Read More

Ebikozesebwa mu Ndagamuntu bibuze

Ng’ebula ssabbiiti bbiri zokka okuwandiisa abafuna endagamuntu kufundikirwe, ebikozesebwa mu bifo ebimu bifuuse bya kkekkwa Awasinga , tewali foomu bantu kwebassa bibakwatako era balabye biri bityo bangi nebabivaako Mu bakoseddwa mwemuli Makerere, Mityana, Namuwongo n’ebifo ebirala Kati amyuka omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana agamba nti bafunye ku mawulire nti waliwo abawandiisa abantu…

Read More

Cranes akyusizza entambula

Tiimu  yegwanga eya Cranes ekyuusizza entambula yaayo okugenda  e’Mauritania okuzannya omuppiira ogwokudingana mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja. Team eno ebadde yakusitula kumakya ga leero wabula bakyuusiza era basuubira okugenda ekiro kya’leero nenyonyi ya Ethiopia Airlines nga bwebalinda kubazanyi okuva e’South Africa kuli Denis Onyango ne Geofrey Massa. Munamawulire wa team eno Katende Malibu ategezezza…

Read More

Aba baasi bongedde okutabuka

  Abavuzi ba zi baasi nga beegattira mu kibiina kyaabwe ekibataba baweze okwediima KCCA k’egenda maaso n’okulemerako ku kubakuba engassi gyebatakkiriziganya nayo n’okubabinika emisolo emipya. Ezimu ku nsimbi eziteesebwako kwekuli okusasula emitwalo 54 buli mwezi, nga ate abo abattikira awatali paaka ya zi baasi naabo abamala gawoganya ngombe mu kibuga balina okusasula emitwalo 3. Kati ssabawandiisi w’ekibiina kino…

Read More

Asudde omwana we mu Kabuyonjo

Poliisi mu disitulikiti ye Lyantonde eriko omukazi ow’emyaka 35 gwekutte lwakusuula mwanawe mu kabuyonjo. Machrine  Nahwera 35, nga mutuuze w’okukyalo Kasese ebbujje lino alisawuse mu kabuyonjo nga y’akamala okuzaala. Olubuuziddwa lwaki akoze ettima lino , ategeezezza nga bwabadde teyekakasa taata wa mwana ono kubanga abadde aganza abasajja banji. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino , Noah Sserunjoji agamba…

Read More

Famire ya bantu mukaaga enywedde obutwa- bataawa

Abaana bataano ne maama waabwe bawereddwa obutwa. Bino bibadde Bukuya mu disitulikiti ye Mubende. Omukaaga bano kati baddusiddwa mu ddwaliro lya Bukuya health center four nga bali mu mbeera mbi ddala. Abawereddwa obutwa kuliko maama Ruth Tumwebaze n’abaana baabwe okuli Hujambo Kwagala 10, Witness Mirembe 9, Holiness Kukkiriza, Promise Wakisa 5, ne Vanesi Namale ow’emyaka ebiri. Okusinziira ku taata…

Read More

Obulwadde obugambibwa okubeera Ebola busse owa Boda

Ekirwadde  ekyefananyiriza  ekya Ebola kisse omuvuzi wa bodaboda mu ddwaliro ly’e Kitgum ennaku 2 nga y’akaweebwa ekitanda  mu ddwaliro lino. Akulira okulondoola endwadde ez’enjawulo mu minisitule y’ebyobulamu , Dr. Issa Makumbi akakasizza okufa kw’omuntu ono wabula n’ategeeza nga bwebakyagenda maaso n’okwekebejja omusaayi gw’omugenzi okwongera okuzuula ddala kiki ekimusse. Makumbi agamba baakuvaayo n’ekiwndiiko ekirambulukufu ku bizuuliddwa amangu ddala…

Read More

Muna-uganda akayiseeko

  Okuvaako mu kibuga Glasgow ekya Scotaldn mu mpaka za Common wealth, Winnie Nanyondo ayiseewo okutuuka ku ziddirira ezakamalirizo mu misinde gye Mita 800 Nanyondo akutte kyakubiri mu misinde gino ate nga mugy’abasajja  Ronald Musagala nate ayiseewo. Mu mizannyo gino, Australia y’ekyakulembedde n’emidaali 106

Read More