Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okulya ebibala n’ebivavava kiwangaaza

Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti ssinga omuntu alya ebibabala n’ebivavava okumala ennaku ttaano ez’omuddiringanwa, kimuyamba okwekuuma nga mulamu n’obutagejja nnyo kyokka nga ssinga omuntu alya nnyo tekikola nga bwekirina kuba Okunonyereza kuno kukoleddwa mu mawanga agatali gamu 16 kulaga nti endya bw’eti ekendeeza obulabe bw’omuntu okufa amangu Wabula okunonyereza tekulaga kiki ekiddirira oluvanyuma lw’ennaku ettaano ng’omuntu amaze…

Read More

Eteeka ku kondomu mu loogi lijje

Ab’obuyinza e Masaka bagaala tteeka erinaakola ku bannanyini ma loogi abatalina bupiira bugalimpitawa Bandowooza nti loogi zino zandibadde zisasula engassi ya mitwalo kkumi nga kw’otadde n’okusibwa Amyuka SSentebe wa disitulikiti ye Masaka,Jamil Miwanda agamba nti kino kyekyokka ekiggya okuyamba okukendeeza ku siriimu atambula nga ttabu Miwanda agamba nti okussa obupiira guno mu malwaliro tekiyamba nnyo kubanga abantu basisinkana…

Read More

Okunyiiga kulwaaza

Obadde okimanyi nti okunyiganyiiga bulwadde. Omusawo  w’emitwe mu ddwaliro ekkulu e Mulago, Dr Samuel Mugamba agamba nti abantu abanyiiga amangu babeera n’obuzibu mu mbeera zaabwe era kibakoseza ddala. Dr Mugamba agamba nti omuntu okunyiiga kimuviirako okusiba emisuwa , okulumwa omutwe n’omutima okukuba ennyo eky’obulabe ennyo eri obulamu Wabula omusawo ono agamba nti ssinga omuntu amanya engeri y’okwewalamu okubeera…

Read More

Temuvunaana bayamba bali mu buzibu- Redcross

Ekibiina ekiddukirize ekya Uganda Red Cross Society kyagaala palamenti ereete etteeka eriwa abantu ebbeetu okuyamba abo ababa bakoseddwa mu bubenje Mu kadde kano, abantu beesamba okuyamba banaabwe beebasanga mu buzibu olw’ensonga nti gwebasangawo atera okukwatibwa okuwa obujuliz Aba Redcross bagamba nti kino kigaana abantu bangi okuyamba banaabwe nga bewala okuvunaanibwa Atwala olukiiko olufuzi oluddukanya ekibiina kino Stephen Tashobya…

Read More

Eddagala erigema omusujja gw’ensiri lijja

Abakugu okuva mu nsi yonna abanonyereza ku ddagala erigema omusujja gw’ensiri basemberedde okutuuka ku buwanguzi nga bagamba nti omwaka 2015 wegunaatukira, eddagala lino lyandiba nga litandise okukozesebwa Bano bagamba nti byebakagezesaako biraga nti ku buli baana 1000 beebawa eddagala erigema omusujja guno, 800 ku bbo tebafuna musujja guno Mu kunonyereza kwebakakola kiraze nti eddagala lino okukola obulungi…

Read More

Embuutu zivuga e Mawogola

Embuutu z’ezivuga mu ssaza lya ssabasajja e Mawogola nga abaayo basuubira omutanda essaawa yonna. Ssabasajja yasiima okukuliza amatikira ge ag’omulundi 21 mu ssaza lye lino nga era abaayo baasimbye dda ebiyitirirwa okumwaniriza mu ssanyu. Beene asuubirwa okulambula emirimu egyenjawulo mu ssembabule mu magombolola 5 mu kaweefube w’okuzaamu abantu be amaanyi okwongera okukola. Oluvanyuma namunswa wakukulemberamu okugema abantu ku…

Read More

Sembabula awuumye ngabetekegera omutanda

Kabaka atudde Ntende Embutu n’emiriza bibutikidde essasa lya Ssabasajja erye Mawogola wakati mu kwetegekera okukyala kwa Ssabasajja mu ssaza lino. Ssabasajja yasiima okukuza amatikira ge ag’omulundi  ogwa 21 mu ssaza lye Mawogola nga 31 omwezi guno era n’essira litekeddwa ku kutumbula ebyobulamu mu ssaza lino. Ssabasajja asubirwa okuyingira essaza lye Mawogola olunaku lw’enkya okulambula emirimu egyikolebwa abantu be…

Read More

Bukenya awakanyiza ebyokuwebwa akasiimo

Former VP Prof Gilbert Bukenya Ababaka ba paliyamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti, batabukidde abakungu okuva mu minisitule ekola kunsonga z’abakozi  era nebabalagira okuzaayo ekiwandiiko kyebabadde bareese, ng’entabwe evudde kumivuyo degyisangiddwa mu mirimu gyabwe. Ababaka bano bakulembeddwamu omubaka Florence Kintu ne Betty Nambooze. Ekisinze okutabula ababaka bano  ye minisitule okulemererwa okusasula obusiimo bwabali abakozi…

Read More

Munna Uganda yessozze oluzzanya oluddirira olwakamalirizo

Ebikonde Okuvaako mu kibuga Glasgow ekya Scotland, ewali emizanyo gy’amawanga agali amatwaale ga Bungereza, munna Uganda omukubi w’ebikonde Mike Sekabembe  ayiseemu okugenda kuluzanya oludako . Ono okuyitamu, kidiridde okuwutula munne okuvva mu gwanga lya Ghana, bwebabade bavuganya mubuzito obwa super heavy weight. Kaakati ono singa asukka wano, asemberedde okuwangulira Uganda omudaali ogw’okubiri, nga eyasoka yali Abraham Kiplimo ,eyawangula…

Read More

Kooti enkulu eyimiriza okugoba abantu ku leerwe

Kooti enkulu e Nakawa eyimiriza ekitongole kya KCCA okugenda mu maaso n’okumenya enyumba z’abantu abazimba mu ttaka lya leerwe. Kino kidiridde abantu bano okwemulugunya eri kooti ngabayita mu banamateeka ba Caleb Alaka and company advocates ngabagamba nti KCCA ebamenya mu bukyamu. Akolanga omuwandiisi wa Kooti enkulu e Nakawa Flavia Nasuna yawadde ekiragira kino ekitandise okukola okuva olwalero…

Read More