Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okwemulugunya ku teeka lye’bisiyaga kutandisse okuwulirwa mu kooti

  Okuwulira omusango gw’ebisiyaga ogwawaabwa bannakyeewa nga beemulugunya ku tteeka eryayisibwa eriwera ebisiyaga kutandise olwaleero mu kkooti etaputa ssemateeka . Bannamateeka abatali bamu nga abakulembeddwaamu Ladislus Rwakafuzi ne Caleb Alaka basabye kkooti okusazaamu etteeka lino kubanga lyayisibwa ababaka ba lubatu . Bano bagamba nti ensonga eno bagitegeeza sipiika wa palamenti kyokka n’atakifaako. Okuwulira omusango guno kwongezeddwaayo okutuuka olunaku lw’enkya…

Read More

Ono laavu emulumye n’eyitawo

Abantu bangi bagamba nti ekigambo laavu tekikyalina makulu naye nga baaba abakitegeera bakyaliyo Mu Kibuga London, omusajja atambudde mailo omutwalo mulamba okutuuka ku muwala we gw’abadde ayagala okuwa ekimuli ku mazaalibwa ge Jack Harries atambudde okumala essaawa 28 okusisinkana muganzi we ow’emyaka 19 Omusajja ono olugendo lwe alukutte ku lutambi nga luno lutunda nga keeki eyokya

Read More

Ssabasajja kabaka Mutaka e Mawogola

Ssabasajja kabaka mutaka mu ssaza lye erye Mawogola ng’abaayo essaanyu ly’okulaba ku mutanda libula okubatta Ali wamu ne kamalabyonna Charles Peter Mayiga kko n’abakulu abatali bamu. Omutanda alambudde ebifo ebitali bimu omubadde ne musajja we Fred Joram Mwebaza ayise mu bulimi n’obulunzi okukulakulana Eno katikkiro gy’asinzidde okukunga abavubuka okukola ennyo nga balabira ku bakadde b’edda abaali batagaya mirimu Katikkiro…

Read More

Ekikere kimize empeta

Ekikere ekimize empeta y’omukyala w’awaka kimalidde wa musawo Omukyala ono abadde akomyeewo ewaka yeeyambudde empeta n’agissa ku meeza era kuno ekikere kwekibadde kitudde Omusajja nanyini kikere kino agambye nti abadde n’ekikere kino kati myaka 10 kyokka nga kibadde tekikola nga ko kikolwa kino. Ekikere kino bakikozeeko nekiwona.

Read More

Ebyokwerinda kasiggu ng’eyasomola ebyaama awoza

Okuwozesa ofiisa wa poliisi eyapasula ebyaama ebyayoleka ssenkaggale wa poliisi kale Kaihura ng’asalira ssabaminista Amama Mbabazi olukwe kugenze mu maaso wakati mu by’okwerinda kasiggu Yadde nga kkooti eyabulijjo, enziji zonna zibaddeko abakuumi abali mu byambalo n’abatalina Kino kirese abantu bangi nga bali mu nkuubo ate ng’abalala obwedda beelolera ku bakuumaddembe obwedda abeetala Ronald Poteri avunaanibwa kusomola byaama bya…

Read More

Amasimu g’ebicupuli okujjako tulinda tteeka

Akakiiko akakola ku by’empuliziganya mu ggwanga kagaala lukusa olujjako amasimu gonna agebicupuli. Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku bya tekinologiya, omukulu okuva mu kakiiko kano Patrick Mwesigwa agambye nti tebasobola kujjako masimu gano nga tebalina tteeka mwebakolera Ono abadde ayanukula ababaka ba palamenti abeemulugunyizza ku masimu g’ebicupuli agayingizibwa mu ggwanga buli lunaku nga tewaliwo akuba ku…

Read More

Omulambo guzuuse

Omulambo gw’omuwala eyabbira ku biyiriro bye Itanda kyaddaaki guzuuliddwa Joan Uwimana Twizere munnamawulire era nga yeeyali ayogerera eddwaliro lye Mulago. Twizere yabbira ku lunaku lwa Ssande bwebaali beekubisa ebifananyi nebakwano be bwebaali bagenze okulambula Omu ku bakwano be Gertrude Tumusiime agamba nti omulambo guno guzuuliddwa ku ssaawa nga musanvu z’emisana Omulambo guno kati gukwasiddwa abenganda ze abakulembeddwaamu maama w’omugenzi…

Read More

Twasasula abatuufu- gavumenti ku ba leerwe

Gavumenti enyonyodde ku bantu abazze basengula okuva ku kkubo ly’eggaali y’omukka. Ekiwandiiko ekibaddeko omukono gwa minisita w’ebyobukuumi,Muruuli Mukasa kiraze nti abantu abawerera ddala 225 beebabadde baliyiririddwa oluvanyuma lw’okulabamu baani abatuufu Minisita wabula agambye nti oluvanyuma abantu bayongera okusenga ku luguudo luno nga balabye abalala basasuddwa mu mwaka gwa 2011 Minista Muruuli agamba nti abo bonna abeesenza oluvanyuma lw’omwaka…

Read More

KKampuni z’ennyonyi endala ziyimiriziddwa

Ekitongole ekikola ku by’ennyonyi ekya Civil aviation authority kyongedde okuyimiriza kkampuni endala ezisabaaza abantu Obuzibu era buvudde ku butatuukagana na mutindo nga bwegwaali ne Air Uganda. Amyuka akulira ekitongole kino David Mpango agamba nti kkampuni zino zikugiddwa okuddamu okusabaaza abantu okusukka Uganda kubanga tezituugana na mutindo gwa nsi. Mu zikugiddwa mwemuli Ndege Aviation, Kampala Aero club, Air Surf…

Read More

Okunywa omwenge mu bakuliridde kutta obwongo

Okunywa omwenge mu bantu abatandise okukulirira kutta obwongo bw’omuntu n’afuna ekizibu ky’okwerabirarabira Okunonyereza okukoleddwa mu America ku bakyala n’abaami ab’emyaka 50 ne 60 kulaga nti abo abanywa omwenge babadde batandise okwerabirarabira Abanonyereza bano bagamba ntie kyamangu kirina okukolebwa okutaasa abantu abagwa mu kkowe lino kubanga bangi tebamanyi nti kibi okuwuuta enkangaali

Read More