E wandegeya poliisi eyodde abantu 100, nga bano kigambibwa nti bebabadde benyigira mu kutigomya ebitundu bye wandegeya kko n’emirirano. Bano baakukunuddwa mu bitundu nga kikoni, Mulago mukadde, Katanga, Makerere n’ebirara.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano Patrick onyango, ategezezza nti bano baasangidwa n’ebikozesebwa okuli enyondo amajambiya, obutayimbwa kko n’ebirala .
Ono agamba nti mukaseera kano okusengejja kugenda…
Abakozi ba kamuni y’enyonyi ya Air Uganda bakujira nga balindamu ennaku 90 okulaba oba gavumenti enaddamu okukiriza kampuni eno okuddamu okukakalabya egyaayo.
Abakozi 230 kati bali ku katebe oluvanyuma lw’ekitongole ekikola ku by’embuuka by’enyonyi okufuna alipoota nti kampuni eno yali tegoberera mateeka g’ambuuka za nyonyi olwo neyimirizibwa.
Omwogezi w’ekitongole kino Ignie Igundura agamba bakyekenenya mirimu gya kampuni…
Okumanya oba eyali ssabalamuzi w’eggwanga Benjamin Odoki anadda mu ofiisi kukyakandaliridde.
Kino kiddiridde Kkooti etaputa ssemateeka okwongezaayo okuwulira okwemulugunya Kw’omubaka wa bavubuka mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga awakanya Odoki okuddamu okuweebwa omulimu nga ate atuusizza emyaka egiwumula.
Okuwulira omusango guno kubadde kusuubirwa olunaku olwaleero wabula omuwandiisi wa Kkooti nakwongezaayo oluvanyuma lw’abalamuzi 4 ku bataano obutalabikako.
Karuhanga agamba kikyamu…
Nga abayisiraamu abasinga bakyebajagala masala ga Eid, bbo ab’ekiwayi kyabasiraamu abashia okuva e Mayuge Eid eyaabwe bagikuza leero.
Omukulembeze waabwe Abdul Karim Muwaya agamba bbo tebaalabye mwezi ku ssande kale nga bbo Eid eyaabwe ya leero.
Bano era bagamba nti kikyaam okusibulukuka ng'omwezi tegunnalabikako era nga bbo y'ensonga lwaki tebajaguza jjo
Bano ssi gwegusoose nga kyenkana buli Idi…
Poliisi eyodde abayizi b’ettendekero ly’e Makerere ababadde bajikubye ekimooni nebekalakaasiza mu kibangirizi kya ssemateeka.
Bano baagala abakulira ettendekero lino okwongera amaanyi mu mpeereza y’emirimu nga bagamba basasula fiizi nyingi naye nga tebaweerezebwa nga bwekisaanidde.
Bano babadde bambadde obujoozi obutekeddwako ebigambo by’ekibiina kya Liberation front.
Bano wabula babadde bakalinnya ku kibangirizi kya ssemateeka, poliisi n'ebatayiiza era ekiddiridde kubakwata.
Batwaliddwa ku…
Abakyala abasinga obungi bettanira okugula engoye enkadde omuli n’ezo omunda naye okimanyi nti engoye ezo zabulabe eri obulamu bwo.
Abakungu mu by’obulamu bagamba nti obuwale obukadde wamu n’obuleega buyinza okuviirako abakyala okulwala endwadde z’ensusu.
Omusawo okuva mu ddwaliro ye Mulago Benedict Nassuna, agambye nti obugoye buno buyinza okuviirako omukyala okusiiyibwa wansi okufuna ebutulututu, wamu ne kandinda.
Wabula Nassuna…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nate azeemu okukubiriza abazadde okusomesa abaana bawe olwo ebiseera babwe eby’omumaaso bibeera bitangaavu.
Katikiro okwongera bino abadde ku somero lya Entebbe Senior Secondary school wakati mu kusonda ettafaali.
Katkiro agambye nti abaana abayivu ate ngabakurizidwa mu mpiisa enungi bebagenda okubulula eggwanga lino mu buli bwenguzi.
Ensimbi ezisoba mu bukadde 40 zezakasondebwa era…
Oludda oluwaabi lusabye kooti enkulu mu kampala okusingisa omusango gw’ettemu omukyala eyatomera bba n’amutta.
Jaqulie Uwera Nsenga yatomera bba n’amutta era ng’oludda oluwaabi lulumiriza nti yakigenderera yadde nga yye avunaanibwa agamba nti teyagenderera.
Nga bakulembeddwaamu Suzan Okalany, bannamateeka ba gavumenti bawaddeyo obujulizi obulaga nti Uwera yakoona bba mu bugenderevu
Bagambye nti omusajja eyattibwa Juvenile Nsenga nga tannaba kufa,…
Keron Rapheal Kabugo olwaleero agalamiziddwa ku biggya bya bajjajja be e Kiryagonja Matugga.
Omwana ono aziikiddwa namungi w’omuntu avudde e Bule b’ebweeya nga mwemubadde, abayimbi,bannakatemba, bannabyabufuzi, nga n’aduumira amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala Talutumiddwa mwana
Omusasi waffe Abdul Wasike atutegeezezza nti abantu b’okukyaalo nabo bajjumbidde nnyo era nga kumpi buli muyimbi abaddeyo.
Bw’abadde ayogerako eri abakungubazi, omuyimbi Juliana…
Banka ya DFCU emaze okweddiza banka ya Global Trust
Kiddiridde banka y’eggwanga okulangirira nga bw’eggadde banka eno kubanga ebadde ekola esala era ebadde yakatta obuwumbi 60 bukyanga etandikibwaawo.
Gavana wa banka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti abantu ababadde bakozesa banka eno kati bakusobola okukozesa akawunta zaabwe okuva ssabbiiti ejja nga bakozesa DFCU.
Bbo abalina amabanja mu Global Trust…