Obululu bwempaka zebika bya’Baganda ezwomwaka guno bukwatidwa olunaku lwa’leero e’Nakivubo.
Mamba Gabunga wamu nebazukulu bamutesasira ebe’Ngo bebagenda okuggulawo ezomwaka guno mukisaawe e’Nakivubo.
Ebika 41 byebikakasizza okwetaba mumpaka zomwaka guno era akakiiko akategesi kalindiride olunaku wakati wa 16th ne 23rd omwezi ogujja Beene bwanasiima okuggulawo emipiira gino.
Haruna Mawanda omu kubateesi teesi ategezezza nga bwebasuubira okukozesa ekisaawe kye’Nakivubo wamu…
Mu ggwanga lya Somalia Maziga nga waliwo omuyimbi nakinku era omubaka wa palamenti akubiddwa amasasi agamuttiddewo.
Saado Ali Warsame attiddwa abakwatammundu abayise mu kibuga ekikulu Mogadishu nga bawandagaza amasasi.
Tekinnakakasibwa ani akoze obulumbaganyi buno kyokka ng’aba kabinja ka Alshabab beebazze batta abayimbi ne bannabyabufuzi
Omusirikale eyakulemberamu okunonyereza ku mukyala eyatomera bba n’amutta yejjerezza omukyala ono omusango.
Godfrey Musana agamba nti omukyala ono teyalina kigendererwa kitta bba era ng’emmotoka yamuwabakon’atomera geeti n’omusajja we
Mu kkooti eno olwaleero kitegerekese nti omugenzi Juvenile Nsenga teyalina byabugagga biri awo okujjako enju mwebaali basula
Kitegerekese nti ebintu byonna omusajja ono yali abiddukanya ku lwa…
Akulira ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority alangiridde nti akoma okuwereeza ekitongole kino mu mwezi gw’ekkumi.
Allen Kagina agamba nti tayagala kugenda mu maaso na kuwereeza kitongole kino yadde nga tayogedde oba alagawa.
Omukulu ono bino abyogedde asisinkanye bakulu banne mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’enfuna by’eggwanga
Kagina agambye nti musanyufu nti awerezza n’omutima gumu era nga…
Abasawo abakugu mu kwekebejja emirambo okuva mu ddwaliro e Mulago basuubirwa e Bundibuggyo olunaku lw’enkya okwekebejja emirambo egiri mu ntaano y’ekirindi
Kiddiridde abatuuze okugwa ku ntaano ezaazikibwaamu abantu ekirindi za mirundi esatu nga zino zirimu abantu abali wakati we 10 ne 15
Ebikwata ku bantu bano tebinnamanyika
Amaggye ggo gakkirizza dda okuziika abantu abawerera ddala 55 mu ntaana…
Bukyaali bunkenke e Hoima oluvanyuma lw’obukubagano obwabadde mu kitundu kino olunaku lwajjo
Poliisi ekyayiiriddwa ku kyaalo Lenju ng’eno enyumba eziwerera ddala mu 20 zatekeddwa omuliro ng’abalimi balwanagana n’abalunzi mu kitundu kino.
Abalunzi aba Bahuma n’abalimi aba Alur nga balwanira ttaka ng’abaimi bagamba nti ente zirya emmere yaabwe
Omusasi wa Monitor, Francis Mugerwa agamba nti abatuuze abamu badduse dda.
Bbo…
Ettendekero ekkulu erye Makerere lipondose neriyimiriza eby’okwongeza ebisale by’abayizi.
Bino bituukiddwaako mu Lukiiko lwa mangu okutuuziddwa amyuka ssenkulu Professor Dumba Ssentamu,aduumira poliisi, gen Kale Kaihura atwala ebyenjigiriza Dr. Mohammed Kiggundu n’akulira abayizi Ivan Bwowe.
Olukiiko olulala lwakutuula ku lunaku lw’okutaano okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno.
Kiddiridde abayizi okuddamu okwekalakaasa olwaleero
Obadde okimanyi nti okwooza enkoko ngogenda okugifumba kyabulabe.
Abantu balina ensonga za njawulo ezibakozesa kino ng’abamu bakikola kuyonja nkolo eno, abalala kujjako buwuka ate abalala bakikola kubanga bakula bakiraba
Abasawo abakugu mu by’emmere wansi w’ekibiina kya FSA bagamba nti enkoko zibaako obuwuka nga busobola okusigala ku ngaloz ‘omuntu, okukwatira ku ngoye oba wansi.
Obuwuka buno bwebuyingira omuntu busobola…
Ebibiina by’obwannakyeewa byagaala gavumenti ensimbi z’ennajja mu mafuta zissibwe mu byobulamu
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku byobulamu , omukungu okuva mu kibiina kya bannakyeewa ekikola ku by’embalirira, David Walakira agambye nti eby’obulamu biri mu nyanga era nga byetaaga okutereeza okulaba nti abantu bongera okuwewulwaako.
Yye atwala ekibiina kya White Ribbon Alliance Robinah Biteyi ategeezezza nti…
Gavumenti yeeyamye okwongera ensimbi mu kutuusa enkola za kizaala ggumba ku bantu.
Ekigendererwa kulaba nti abakyala n’abaami bongera okuganyulwa.
Kamisona akwataganya minisitule y’ebyobulamu n’abantu ba bulijjo Dr. Anthony Mbonye anyonyodde nti kino kijja kuyamba nnyo okukendeeza ne ku muwendo gw’abakyala abafiira mu sanya kko n’obwaavu okutwaliza awamu ng’abantu bazaala abaana beebasobola.
Waliwo era n’olukiiko gaggadde olutegekeddwa ssabbiiti ejja…