Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abaana bakugemebwa kokoolo

Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga ekakasizza nti omwaka ogujja, yakugema abaana bonna abawala kokoolo wa Nabaana. Abawala abatunuuliddwa beebemyaka ekkumi . Atwala ekiwayi ekikola ku ndwadde ezitasiigibwa mu minisitule eno, Gerald Mutungi agambye nti baafunye ensimbi okuva mu GAVI okuyambako okugema abaana abawala. Ekigendererwa kyakukendeeza mikisa gy’abaana bano okufuna kokoolo wa nabaana n’ebitundu 99 ku kikumi Mutungi agamba nti wabula…

Read More

Ttiya gaasi anyoose e Makerere

Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi b’e Makerere okubagumbula omuvanyuma lw’okutanula okukola effujjo nga bekalakaasa. Bano bawakanya eky’abakulira ettendekero lino okwongeza ebisale by’abayizi abapya n’ebitundu 10%. Abayizi bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okulinda ssenkagale wa poliisi Gen Kale Kayihura nga tatuuka olwo nebaagala okulumba palamenti gyebaba balagira obutali bumativu bwaabwe. Wabula poliisi nga edumirwa akulira ebikwekweto mu mambuka ga…

Read More

Abe Makerere bazzeemu okwekalakaasa

Abayizi b’emakerere balumbye ekizimbe ewatuula  abamu ku batwala ettendekero lino ekya Senate nebakyankalanya olukiiko lw’abakulira ettendekero lino ababadde bakuuta amabaluwa g’abayizi abapya nga fiizi zongezeddwa n’ebitundu 10%. Wowulirira bino nga ebikumi n’ebikumi by’abayizi bano bagumbye ku kibangirizi kya Freedom Square nga balaalise okweteeka mu ddene okutuuka ku palamenti singa ssabapoliisi w’eggwanga ne minisita w’ebyenjigiriza tebogerako gyebali mu…

Read More

Omulambo gwa Keron, mutabani wa Juliana Gutuuse

  Omulambo gwa mutabani w'omuyimbi Juliana Kanyomozi gutuuse ku kisaawe Entebbe nga gujjidde ku nyonyi ya Kenya Airways. Gutuukidde Bukoto gyegugenda okukolebwaako ate gwolekera E Bbunga enkya. Balaam Barugahare abaddewo okukwasibwa omulambo guno ate nga yye maama w'omwana Juliana Kanyomozi amaziga gamuyiseemu nga yakatuuka ku kisaawe Keron Kabugo yafa ku lunaku lwa ssande oluvanyuma lw'okulumbibwa ekiziyiro ekyaava ku bulwadde…

Read More

Abbye ekiteeteeyi bimukalidde ku matama

Mu ggwanga lya America, omukyala abadde yeemolera mu kateteyi akabbe essanyu lye teriwangadde poliisi bw’emuyodde Danielle Saxton, 27 akagoye kano akabbye mu dduuka ly’engoye okumpi n’ekibuga mw’abeera ekya Illinois Nga wakayita essaawa ntono, omukyala ono yekubisizza ebifananyi mu kateeteeyi kano n’abissa ku mukutu gwa Fecebook mu ngeri y’okwewaana engeri gyekamunyumidde  

Read More

Rodriquez agenze mu Real Madrid

Wetwogerera nga James Rodriguez amaze okwegatta ku tiimu ya Real-Madrid Ono avudde mu bafaransa aba Monaco. Ono endagaano gy’assizzaako emikono ya myaka mukaaga Ono agenda kusasulwanga obukadde bwa Euro 80 nga ye muzannyo w’okuna okusasulwa obulungi mu nsi yonna okuva ku Gareth Bale Roanldo ne Lius Suarez. Rodriquez yateeba goolo mukaaga mu mipiira etaano egya world cup

Read More

Omukyala eyatta bba akaabidde mu kkooti- saagenderera

Omukyala eyatta bba Jacqueline Uwera Nsenga,olwaleero yewozezzaako ku misango gino. Ategeezezza omulamuzi Duncan Gaswaaga nti kituufu yatta bba Juvenile Nsenga kyokka nga yakikola mu butanwa Omukyala ono alabise nga taliimu kutya kwonna agambye nti yafumbirwa omugenzi mu mwaka gwa 1994 era nga balina abaana babiri era nga baali basanyufu mu bufumbo gwaabwe mu bbanga eryasooka nga tebeekisa…

Read More

Katikkiro agenda Japadhola ku ttofaali

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye obukulembeze bw’ennono obutali bumu okukwatagana mu kulaba nti bukulalukanya abantu ate n’okubakuuma nga bali bumu. Katikkiro bino abyogedde asisinkanye abakulembeze okuba mu Japadhola okuva e Tororo nga bakulembedddwaamu katikkiro waabwe Jeresol Okecho. Mayiga agamba nti abakulembeze b'ennono balina omulimu gwa maanyi okukuuma ennono zaabwe ate nga bwebakulakulanya abantu. Katikkiro Mayiga…

Read More

Basayansi bafunye essuubi ku mukenenya

Bannasayansi bagambanti basemberedde okutuuka ku kuzuula eddagala lya Mukenenya nga lino likwekulayo akawuka yonna gyekaba kekweese Kiddiridde abasawo bano okuzuula nti ensonga lwaki siriimu abadde muzibu okuwonyezebwa yensonga nti bw’akwata omuntu amusensera mu buli kanyomero era ng’afuuka ekimu ku bikola omusaayi gwe. Wabula okunonyereza okukoleddwa ku bantu mukaaga abalina mukenenya mu lukiiko lw’abakugu ku mukenenya kuleese essuubi…

Read More

Abasawo b’obwongo batono

Omuwendo gw’abasawo abakola ku ndwadde ezokwata ku bwongo ogukendeera buli lunaku gwerarikiriza Abasawo bano benyini nabo bawulira obuzita olw’okuba nga batono nga bamaliriza bakooye nnyo n’obutakola bulungi ku bantu n’okubawa obudde Abasawo bano kati basabye nti ku buli ddwaliro lya gavumenti eddene wabeewo abasawo b’ekika kino babiri okuyamba ku muwendo gw’abalwadde ababeetaga Akulira abasawo bano mu ddwaliro ekkulu…

Read More