Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Akawuka ka siriimu kanafuwa bunafuyi

Okunonyereza okukoleddwa kwolese nti akawuka ka mukenenya bwekabaako eddagala kalina engeri gyekanafunawa ekivaako abantu okulowooza nti baba bawonye naye nga ssi bweguba Kino kiddiridde omwana eyalangirirwa okubeera nti awonye siriimu ate okuddamu okumukebera nebasanga akawuka mu musaayi Abanonyereza ku mukenenya bagamba nti kino kirumya omutwe era kibazzaayo emabega ate okuddamu obuto okunonyereza okuzuula kino kiva Ekizibu kino kisinga…

Read More

Dembe egabudde ba maama

Kati nga tusemberera olunaku lwa Eid, abantu abasinga tebagyesunga olw’embeera yaabwe ey’obulamu eteyagaza. Bangi baafuuka balunumma nga era tebalina ssuubi. Mu kino 90.4 Dembe Fm , abakozi b’engato aba BATA wamu ne Hotel Africana basazeewo okuddukirira ba maama n’okusingira ddala abasulirira okuzaala n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu bwabulijji mu ddwaliro lya Komambogo health Centre 3. Akulira ebigenda ku mpewo…

Read More

Uganda eyongedde okwerinda Ebola

Minisitule y’ebyobulamu eyongedde okunyweeza ensalo za Uganda ne Congo okutangira obulwadde bwa Ebola okutuuka mu Uganda Atwala ebyobulamu mu bitundu bya wansi mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Anthony Mbonye agamba nti era bamaze okulagira abakulira amalwaliro agali ku nsalo ya Uganda ne Congo okubategeeza amangu ddala nga balina kyebekengedde Obulwadde bwa Ebola okuva e Congo bwabulabe ddala era…

Read More

Omulamuzi alambudde amaka omwafiira omusajja eyatomerwa

Omulamuzi awulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa  omukyala eyatomera bba n’amutta olwaleero atuuseeko mu maka awali akabenje kano mu maka g’omugenzi e Bugoloobi Omulamuzi Duncan Gaswaga  ng’ali wamu n’abakozi mu kkooti, omwogezi w’amakomera Frank Baine nebannamateeka z’omukyala ono kko n’ab’oludda lw’omusajja abadde agenze kulaba engeria kabenje gyekaliiwo Ofiisi eyakola ku musnago guno John Bosco Munaku ategeezezza omulamuzi nti omulambop…

Read More

Okuziika abantu mu kirindi- Okunonyereza kutandise

Poliisi e Kasese etandise okunonyereza ku balumbaganyi abaziikibwa ekirindi oluvanyuma lw’okuttibwa bwebaali balumbye abantu mu kitundu kya Rwenzori. Gyebuvuddeko amaggye gaakakasa ng'abantu abasoba mu 60 bwebaazikibwa ekirindi oluvanyuma lw’ab'enganda zaabwe okulemerewa okuddukira emirambo gyabwe. Omuduumizi wa poliisi mu bugwanjuba bw’eggwanga Thomas Kasimo agamba ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura yalagidde dda poliisi okwanguya okunonyereza ku nsonga eno okumanya…

Read More

Abe Makerere bazzeemu okwekalakaasa

Abayizi b’ettendekero ly’e Makerere bakwanze amyuka Kyansala w’ettendekero ly’eMakerere ekiwandiiko namutayiika nga bawakanya eky’okwongeza ensimbi z’abayizi abapya n’ebitundu 10%. Abayizi bano nga bakulembeddwa abakulira Ivan Bwowe  ekiwandiiko bakumukwanze nga awerekeddwako omubalirizi w’ebitabo mu yunivasite eno. Kati olukiiko olufuga ettendekero lino lusuubirwa okutunula mu kwemulugunya kw’abayizi bano ku lunaku olwokusastu okulaba eky’okubakolera. Mungeri yeemu poliisi eky’ebulunguludde ettenderekero lyonna nga…

Read More

KCCA teyasasula za bulango- KCCA

Kampuni y’ebyamawulire gaggadde eya Monitor Publications ekubye mu mbuga z’amateeka ekitongole kya  Kampala capital city authority lwabutasasula nsimbi zabirango byekyayisa mu lupapula lwa Daily Monitor. Monitor eyagala obukadde  660 lwabirango ebyaali eby’empapula 120 ebyayisibwa mu lupapula luno nga 22 March 2013. Nga bayita mu bannamateeka baabwe aba  Nangwala and Ruzida company advocates, ab’olupapula luno bagamba nti bafuna…

Read More

Abaana bakubiddwa laddu

Abaana 20 bakubiddwa laddu ku ssomero lya Forest high school day and boarding school Essomero lino Lisangibwa Kalwana e Mubende Abaana bano laddu okubakuba ebasanze mu kibiina nga basoma Laddu eno ejjidde mu nkuba eyamaanyi etonnye mu kitundu kino era nga abaana bano baddusiddwa mu ddwaliro lya Kikandwa health center 3 nga bali mu mbeera mbi. Twogeddkeo n’atwala ebyenjigiriza…

Read More

Omukama Oyo asumattuse akabenje

Omukama wa tooro asimatuse akabenje mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero oluvanyuma lw’emmotoka y’abakuumi be 2 okwevulungula enfunda eziwera, 2 nebafa. Akabenje kano kaabadde ku luguudo oluva e Mitiyna okudda e Mubende nga dereeva w’emmotoka yabadde agezaako kutaasa bagoba ba bodaboda ababadde batomeraganye nga bagudde mu kkubo. bbo Ab’obuyinja mu bukama bwe Tooro bagumizza bannayuganda bonna nti omukama…

Read More

Mutabani w’omuyimbi Juliana afudde

  Mutabani w'omuyimbi Juliana Kanyomozi afiiridde mu ddwaliro e Nairobi gyeyatwaalibwa nga biwala ttaka. Keron Kabugo ow'emyaka 11 abadde atawanyizibwa obulwadde bw'ekiziyiro buyite Asthma era nga bwamutabukira ali ku ssomero. Ng'ayita ku mukutu gwa Facebook, Juliana agambye nti Keron afudde ku ssaawa nnya n'eddakiika 25 oza Ssande . Asanguddewo n'engambo nti omwana we yafa lwa mukaaga. Keron ye mutabani wa…

Read More