Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Enyonyi egudde tebaddeemu mafuta

    Kimaze okukakasibwa nti enyonyi egudde e kiwawu ku luguudo oluva mu kampala okudda e Mityana ebadde eweddemu amafuta Enyonyi eno omugoba waayo erwaanye nayo era mu kifo n’akissa okutuusa ku luguudo ku kolaasi w’egudde Omwogezi wa poliisi mu bitunduu bye Mityana, Phillip Mukasa agamba nti tewali Muntu alumiziddwa ku bonna ababadde mu nyonyi eno. Nga bulijjo obubenje bwebuti…

Read More

Abasomesa b’e Makerere bawera

Abakulira ettendekero ly’e Makerere balina obutasukka lunaku olwaleero nga basasudde enyongereza ku misaala gy’abasomesa baabwe oba sikyo bediime. Abasomesa bano babanja obuwumbi obusoba mu 7 ez’omwezi gwa May ne June nga era baalalise abakulira ettendendekero lino obutageza kuggulawo lusoma lupya nga tebanasasulwa. Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa bano Dr. Mohamed Kigundu agamba abasomesa bamaliridde okuteeka wansi ebikola singa…

Read More

Embwa ekuba ennanga

Akatambi akalaga ng’embwa esuna Enanga ate nga yonna bw’enyumirwa kafuuse luyiira Abantu abasoba mu mitwalo 4 beebakalaba akatambi kano akooleka obwagaazi embwa eno bw’erina Embwa eno erabika ng’ekunnukkiriza okutuuka ku nnanga era ng’ekyewunyisa nti mwattu ebadde ebintu ebisobola .

Read More

Ebya Mandela bitundibwa

Okutunda ebintu by’omugenzi Nelson Mandela ebitonotono kyokka nga byaali bya mugaso gyaali kwakubeera mu kibuga Johannesburg Ebintu bino ebyogerwaako, byeyakozesa mu biseera bye byonna byeyamala ng’asibiddwa olw’okulwanyisa ekiboola mu mawanga ekyaali mu ggwanga lino. Mu bino kwekuli omweeso omuzungu gweyali anyumirwa ennyo muyite Chess, akakebe omwabeeranga omunnyo ne kamulaali we n’ebirala Ebintu bino bisuubirwa okuvaamu emitwalo gya doola…

Read More

Abafumbi e Makerere bagenze mu kkooti

Abafumbi mu ttendekero lye Makerere ensonga zaabwe bazitutte mu kooti enkulu mu ggwanga. Bano bagaala kusasulwa obuwumbi bubiri n’ekitundu olw’okubagoba ku mirimu okwawukanako ku ndagaano yaabwe ky’egamba. Ekibinja ky’abakozi bano abawerera ddala 129 era kiwakanya eky’okubajja mu kiyungu batwalibwe mu bitongole ebirala nga bagamba nti tebalina bukugu era banoonya webanabagobera Aboogerwaako mulimu abafumbi, abakuuma amasitoowa, n’abagabula emmere n’eby’okunywa…

Read More

Ebya NAADS bikyaali matankane

Gavumenti esazeewo okukyuusa enteekateeka ya NAADS okussibwa mu minisitule ekola ku byobulimi. Enteekateeka eno ebadde yetongodde era nga yetwaala mu buli kimu Minisita w’obulimu Tress Bucyanayandi agamba nti gano geegamu ku makubo gebakutte okubbulula enteekateeka eno obutafa ttoge Bucyanayandi era atangazizza era amaggye tegajja kuyingira mu nzirukanya ya mirimu nga gakulondoola bulondoozi.

Read More

Bannayuganda abali e China tetulina kyakubakolera- Gavumenti

Essuubi ly’okutaasa bannayuganda abasalirwa akalabba mu ggwanga lya China lizze lisebengerera Minisita wa mateeka Kahinda Otafire agambye nti tebalina kyakukola ku mbeera eno. Ono agamba nti bakyayogereza gavumenti ya China ku kuzza abantu bano ku butaka babonerezebwe wano kyokka nga tekibadde kyangu era eby’okubajjako emisango bbyo bizibu ddala nandiki okuba nga tebisoboka Asabye ababaka mu palamenti okufuba okulaba…

Read More

Omubaka gwebaakubye akaabye amaziga

Omubaka omukyala owe Kibaale Robinah Nabbanja akulukusizza amaziga ng’ategeeza babaka banne byeyayitamu abeekalakaasi bwebamukubye engumi Nabbanja yakubwa bweyali akkakkanya abasuubuzi b’ebirime abaali beekalakaasa e Kibaale Omubaka ono olwaleero ayitiddemu palamenti byeyayitamu wakati mu maziga n’asaba abamukuba babonerezebwe Omubaka wabula ekisinze okumuluma nti bamukuba poliisi etunula nga terina kyeyakola kumutaasa Abasuubuzi bano baali beekalakaasa nga bawakanya emisolo egibassibwaako.

Read More