Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Obubenje ku lwe Masaka bususse

Poliisi yenyamidde olw’obubenje obufuuse baanabaliwo  ku luguudo oluva e masaka okudda e Kampala nga banji obulamu babulese awo. Kino kiidiridde akabenje k’olunaku olw’eggulo akaagudde ku luguudo lw’e Masaka ne katta abantu 3 n’okulumya 14. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Buganda   Philip Mukasa  agamba oluguudo luno lukyakolebwa nga era mu biseera by’enkuba luserera nnyo olwo nerufuuka akattiro. Agamba…

Read More

Norbert Mao Mulwadde

Ssenkagale w’ekibiina kya DP Norbert Mao addusiddwa mu ddwaliro lye Nairobi nga olubuto n’okulumizibwa mu kifuba bimubala embiriizi. Mao yafunywe okulumizibwa kuno nga ali mu lukungaana olumu wali mu disitulikiti ye Gulu naddusibwa mu ddwaliro lya  Lacor gyeyagyiddwa okutwalibwa e Nairobi okwongera okwekebejebwa. Kati ssabawandiisi w’ekibiina kino  Mathius Nsubuga agamba embeera y’omukulembeze waabwe egenda edda mu nteeko.

Read More

Akajogoli ka laavu asembye nako

Omusajja awandikidde bba ebbaluwa eyoleka emirundi gyebakegatta ebintu bimukyukidde ate omukyala bw’anyiize obunyiizi Omusajja ono kino akikoze okusanyusa mukyala we abadde agenda Safari ng’alaga n’emirundi gy’abadde amwesulubabba Kino akikoze okumulaga nti asobola okulinda nga taliiwo kubanga era alinda yadde nga waali. Omukyala ategeddemu birala era olupappula luno bba lw’amuwerezza ku ssimu ng’agenda ku kisaawe lumucankalanyizza okukkakkana ng’akubidde bba…

Read More

Abasiraamu mwerinde ekiro ekitukuvu

Abayisiraamu basabiddwa okuzuukuka ekiro basabe mu nnaku zino ekkumi ezisembayo naddala mu nnaku z’ensusuuba Mu nnaku zino ekkumi ekiro ekitukuvu ekimanyiddwa nga Laitulqadir wekibeererawo era ng’okusinziira ku Quran, buli ayimirira ku musaalo n’asaba Allah we afuna ky’ayagala. Imam w’omuzikiti wa Bilal e Bwaise Sheikh Muhammad Mayambala agamba nti kadde ka kusaba kisonyiwo.  

Read More

Mutabani wa Juliana aziikibwa lwakutaano

Omulambo gwa mutabani w’omuyimbi Juliana Kanyomozi tukitegeddeko nti bikyuseemu nga gwakutuuka olunaku lw’enkya Keron Kabugo yafudde olunaku lwajjo oluvanyuma lw’okuziyira Enteekateeka efulumiziddwa ab’omumaka eraga nti olwaleero wagenda kubaawo olumbe mu maka ga Juliana e Lungujja n’ebbuga mu maka ga jjajja w’omugenzi olunaku lw’enkya Ku lw'okusatu, omulambo gwakubeera mu maka ga Juliana E Lungujja, ku lw'okuna gubeera ewa Jjajja…

Read More

Ow’obugaali ajulidde

Eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu John Kashaka ajulidde. Ng’ayita mu bannamateeka abakulembeddwaamu Nsubuga Mubiru Kashaka aawakanya eky’okusingibwa omusango n’ekibonerezo ekyamuweebwa Kashaka n’abalala bataano basingisibwa emisango gy’okwezibika ensimbi z’obugaali Baweebwa ebibonerezo eby’enjawulo nga biva ku kwebaka e Luzira okumala emyezi abiri okutuuka ku myaka 13 ate nga balina n’okuzza ensimbi zino nga tebannaba kuyimbulwa.

Read More

Abakola ku by’entambula batabuse

Ekibiina ekigatta abagoba ba mmotoka , ab’obugaali n’abo bonna abali mu mulimu gw’entambula y’olukale mu kibuga bawadde KCCA omwezi gumu okutereeza entambula. Bano batuuzizza olukiiko lwaabwe ku ofiisi z’ekibiina kya COFTU mu kampala mwebalombojjedde ennaku gyebayitamu okukolera mu kibuga. Akulira ekibiina kya COFTU nga kino kigatta bibiina bya bakozi, Sam Lyomoki agamba nti abantu bangi balemeseddwa ekibuga…

Read More

Omupoliisi akubye omuntu essasi

Poliisi e Kalangala ekutte basajja baayo babiri abagambibwa okutta omuntu atalina musango Bino bibadde ku kyaalo Buswa e Bujumba ku bizinga bye Kalangala. Owa bodaboda y’asoose okuloopa nti bamubbyeeko piki era poliisi mu kukwata abateberezebwa okubeera ababbi ekubye amasasi mu bbanga okukkakka ng’esse salumaanya. Aduumira poliisi ye Kalangala, Samuel Mission agamba nti omugenzi etegerekese nga Emanuel Munono, ate…

Read More

Ensawo ya Buganda tewera

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti amakubo Buganda mw’ejja ensimbi gakyali mafunda. Katikkiro okwongera bino abadde mu lukiiko lwa Buganda oluyisiza embalirira y’omwaka gwa 2014/15 ng'eno ya buwumbi 7. Wabula Katikiro agambye nti kwenyamiza okulaba nga Buganda eyakamala emyaka egyisoba mu 1000, terina makubo galeeta nsimbi gamala songa yetaaga okukola emirimu mingi omuli okulwanyisa obwavu,…

Read More

Sukaali adibye

Sukaali abalirirwamu ttaani  50,000  nga abadde alina kutundibwa mu ggwanga lya Kenya akyafa tulo lwa miziziko gy’ebyobusuubuzi mu ggwanga eryo. Omu ku basuubuzi basukaali ono okuva mu kkolero lya Madhvani Jim Kabeho agamba sukaali akyabadibiridde abalirirwamu obukadde bwa ddoola 3 bulambirira. Kabeho agamba bannakenya bataddewo nyo kiremya okukkiriza sukaali wa Uganda okutundibwa munda mu ggwanga lino. Wabula omukungu…

Read More