Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga bw'agenda okwebuuza ku kabondo k’ababaka ba NRM ku nsalawo ya kkooti ku tteeka ly’ebisiyaga.
Olunaku lwajjo abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga palamenti teyalina babaka bamala.
Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiika…
Omusajja omuyindi agenze okunaaba n’asanga goonya eyakula mu kinaabiro atuyaanye nga bwezikala
Kalpesh Patel agambye nti atunuulidde goonya eno amaanyi negamugwaamu nga tamanyi oba nnamu oba nfu kyokka agenze okulaba nga yenyeenya kwekukuba oluggi n’ateekako kakokola tondeka nyuma
Ekyaalo kyekungaanyizza nebakwata goonya eno.
Munnayuganda omukubi w’engumi, Mike Ssekabembe awanduse okuva mu mpaka za commonwealth games
Kino kitegeeza nti omungereza Joe Joyce ayiseewo butereevu mu kulwanira zaabu nga kati yye ssekabembe afunye kikomo
Sekabembe bamusuulidde ku mutendera gw’okukebera oba abazannyi tebalina wabaluma era Sekabembe okumukebera ng’omukono gwe gubaddeko obuzibu
Ng’eggwanga likyagenda mu maaso n’okwerinda ekirwade kye Ebola omusasi waffe Daina Wanyana aliseko mu ddwaliro e Mulago, okulaba engeri eddwaliro gyeletegesemu.
Bw’otuuka ku nkambi eno yadde wasaawe bulungi, kirabika nti ddala tebaddeemu Muntu
Amatundubaali amakadde geegakwaniriza n’olukomera lwa sengenge olwassibwaawo nalyo lukutuse
Wabula omwogezi w’eddwaliro lino Enock Kusaasira agamba nti ekifo kino engeri gyekibadde kitakola kyekireese bino.
Kusaasira wabula…
Poliisi eyodde abayizi b’amattendekero agawaggulu abasoba mu 30 lwakwekalakaasa nga bagamba ensimbi ezibawolebwa okweyongerayo okusoma zamunyoto.
Bano nga begatira mu kibiina kyaabwe ekibataba mu ggwanga, balumbye ofiisi za minisitule y’ebyenjigiriza nga bagamba engabanya y’ensimbi zino yakwatibwa bubi.
Wano poliisi nga ekulembeddwamu aduumira poliisi ya CPS Dennis Namuwoza webayoledde lwakuletawo kakyankalano ku ofiisi zino
Gavumenti etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abeezibika foomu z’okwewandiisa
Kiddiridde foomu zino okubula ku ssaawa envanyuma nga kati abawandiisa batundantunde
Atwaala enteekateeka y’okuwandiisa abantu gen Aronda Nyakairima agambye nti bakubisa foomu ezimala nga tekisoboka nti ziweddeyo
Ono asabye omuntu yenna gwebaguza foomu okuwaaba mu bwangu ddala
Wabula Nyakairima agambye nti nsalessale w’okuwandiisa akoma nga 11 omwezi guno yadde…
Ekibinja ky’abantu abasengulwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka e Kireka kyekubidde enduulu eri palamenti nga bagaala eyimirize eky’okubasengula.
Ku ntandikwa ya ssabbiiti eno, KCCA yatandika okusengula abantu okuva mu luguudo lw’eggaali y’omukka mu bitundu bye Namuwongo, Ndeeba, Nalukolongo ne Kireka mu kawefube w’okwetegekera eggaali y’omukka enatambuza abantu.
Abatuuze bano bakulembeddwaamu Monica Wanana, Sharif Nyamayabo ne Emmanuel Ssebuufu njebategeeza…
Kooti etaputa seemateeka esazeewo nti etteeka eriwera ebisiyaga lyayisibwa mu bukyamu.
Abalamuzi 5 nga bakulembeddwaamu akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassizza kimu nti sipiika Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga palamenti teyalina babaka bamala.
Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiika kyamenya ssemateeka wamu n’amateeka agafuga palamenti.
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu nga bakulembeddwaamu Prof. Oloka Onyango, Andrew…
Mu kibuga Johannesburg ekya South Africa, abantu bawunikiridde omukyala bweyeeyambudde n’asigala buswa ng’agenda okwekubisa ekifananyi n’ekibumbe kya Nelson Mandela
Omukyala ono asoose kukubira kibumbe kino saluti nga tannakigwa mu kifuba n’okukikuba bukiisi obw’okumukumu
Ebifananyi by’omukyala ono ebikwatiddwa bimwolese ng’ali buknta kyokka gay ye tafaayo era obwedda abaswaala beebabikka ku maaso.
Ennima y’omulembe kyeky’okuddamu eri obwavu obukutte bannyuganda entegetege
Buno bwebubadde obubaka bwa ssabasajja kabaka mu kukuza emyaka 21 bukyanga atuula ku Namulondo.
Ssabasajja Kabaka asabye abakulembeze ku mitendera egitali gimu okwongera okujjukiza gavumenti ku bwetaavu bw’okugula ebyuuma ebinayamba okulongoosa ku birime olwo n’omulimi alye bulungi
Omutanda era asabye abantu be okujjumbira okulima ebirime ebiri ku katale
Ng’ayogerera ku mukolo…