Ababaka ba kabondo ka NRM bakutuula mu kafubo mu maka ga pulezidenti Entebbe akawungeezi kaleero okumumunyamumunya mu tteeka ly’ebisiyaga elyasaziddwamu kkooti.
Pulezidenti Muiseveni asuubirwa okwogerako eri ababaka bano oluvanyuma lwa kkooti okutegeeza nti etteeka lyayisibwa ababaka tebawera kimu kyakusatu abalina okuyisa etteeka.
Amyuka nampala w’ekibiina kya NRM David Bahati ategeezezza nti bakwongera okuteesa ku ngeri y'okuzzaamu etteeka…
Ekizimbe kumpi ne woteeri ya Olympia e Kansanga kiguddemu nekilumya omuntu omu.
Akabenje kano kagudde mu church zone nga era abeerabiddeko n’agaabwe bagamba ekizimbe kino kibdde kizimbibwa mungeri ya gadibe ngalye.
Omuntu alumiziddwa abadde mukozi w'awakang'eno waka era emmotoka y'awaka eyonooneddwa
Mungeri yaamu amyuka akulira poliisi enzinya mooto , Hassan Kihanda agamba kati bali ku kujjawo bifunfugu ebyonoonye…
Amagye ge gwanga aga UPDF gawakanyizza ebibade byogerwa nti abaazirwanako abaatwalibwa mu gwanga lya Somali okukuuma emirembe ,tebaawebwa nsako yaabwe
Mukiwandiiko kyetulabyeko, ayogerera amagye ge gwanga Lt. Col Paddy Ankunda, akaladde n’ategeeza nga abo bonna aboogera ebitakwataga bwebagenda okukwatibwa babitebye.
Ono anyonyodde nti abamu kwabo abeekubira enduulu, bagibwa kumirimo gyabwe olw’okulemwa okugeberera ebiragiro, era…
Abantu 12 beebafiiridde mu kabenje akagudde mu kabuga ke Musita ku luguudo oluva e Jjinja okudda e Mayuge
Akabenje kano keetabiddwaamu emmotoka ssatu okubadde Taxi, ki loole ky’ebikajjo ne ki lukululalana.
Aduumira poliisi ye Mayuge, Caroline Akoth agamba nti owa ki Lukululala eyabadde afuga endiima yalemereddwa okuweta era okukkakkana ng'ayingiridde ekimotoka ky'ebikajjo.
Ekyaana kya tuleera kyaavudde waggulu nekigwiira…
Poliisi etandise kawefube w’okuyigga omulambo gw’omusajja agudde mu kidiba ky’amazzi e Kalule Luweero
Omusajja ono abadde anaaba n’asereera nagwa mu mazzi era bw’atyo n’abbira
Aduumira poliisi y’omu bitundu bya Savannah Musa Nabende agamba nti bamaze okuyita abaziinya mooto okuyambako
Amasasi ganyoose e Kasana Luweero nga poliisi yeezooba n’ababbi.
Mu kavuvungano omubbi omu attiddwa n’abalala nebalumizibwa.
Omwogezi wa poliisi erudda eno,…
Katikkiro wa Buganda owek Charles peter Mayiga akunze abaganda bonna mu buvanjuba bw’eggwanga bulijjo okujjukira okuddako ewaka obuteerabira nnono zaabwe
Bino katikkiro abyogedde alambula obuvanjuba bw’eggwanga ng’asonda ettoffaali ly’okukulakulanya obuganda
Abajjukizza era okusigala nga bakolagana n’abantu abalala okukulakulanya ekitundu
Olunaku lwajjo katikkiro yasiibye Tororo, Malaba, ne Busia gyeyasolozezza obukadde 26.
Ba dereeva ba taxi e Nabweru bakedde kwekalakaasa nga bemulugunya ku mbeera embi mwebakolera.
Ba dereeva bano basimbyeku paaka ye Nabweru .
Bano bagamba nti abakulembeze baabwe babatulugunya lwabutasasula nsimbi za munno mu kabi ate nga zino pulezidenti Museveni yaziwera olw’obutabaako mbalirira
Aba taxi bategeezezza nti babajjako shs 2000 buli lwebatikka naye nga bw’obuuza gyeziraga teri amanyi ate…
Abantu abasoba mu bukadde 14 beebakawandiisibwa okufuna endaga Muntu
Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima y’ategeezezza bino kyokka n’agattako nti okuwandiisa abantu kwakugenda mu maaso okutuuka omwaka ogujja naye nga kino kyakubaawo ku ma gombolola
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Gen Aronda agambye nti nsalessale ku kuwandiisa abantu owa nga 11 tagenda kujjibwaawo era bw’aggwaako…
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga avumiridde ekikolwa kya KCCA okusengula abantu okuva mu mayumba gaabwe
Olunwe alusonze ku mayumba agamenyebwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka ng’agamba nti kino kyabadde tekyetaagisa
Ssabasumba wandowooza nti abantu bano bandibadde baweebwa obudde obumala okusenguka mu kifo ky’okubagwaako ekiro nebabasenda ng’ebikere.
Ku nsonga y’ebisiyaga, ssabasumba agambye nti bbo nga bannadiini…
Olukiiko oluyitiddwa omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiikakkono John Ken Lukyamuzi luzzeemu katemba, abantu bwebamwefulidde
Abalonzi bano babuuzizza Lukyamuzi gyeyali nga babamenya kyokka ng’ate bano bakwataganye n’abawagizi ba Lukyamuzi olutalo lw’ebigambo nelutandika
Lukyamuzi wabula agambye nti abategese abantu abakoze effujjo abamanyi nga beebo abagaala okumwesimbako mu mwaka 2016
Ono wabula aweze nti tewali kigenda kumujja ku mulamwa…