Abamu ku babaka mu palamenti batonzeewo akakiiko akagenda okunonyereza ku nsimbi ezissiddwa mu kuzza obujja entambula yeggaali y’omukka
Ku lw’okusatu, gavumenti yassa emikono ku ndagaano ne kkampuni yaba china eya China Harbour Engineering Company okukola ku ggaali y’omukka okuva e Malaba okutuuka e Kampala nga kino kyakumalawo obusiirivu 20
Ng’aboogerako eri bannamawulire, ababaka Theodore Ssekikubo, Paul Mwiru,…
Ebadde ntiisa ku ddwaliro e Mulago omusajja bw’abuuse okuva mu mwaliro gw’okuna ng’ayagala okwetta
Kiddiridde omusajja ono okutegeezebwa nti alina obulwadde bwa mukenenya
David Kinobe nga aweza egy’obukulu 32 muvuzi wa Boda Boda e Mulago.
Obuzibu nti omusajja ono amenyese magulu , tafudde
Mwanyina w’omusajja ono agambye nti omulwadde ono agamba mwanyina yasobye ekiro nayita mu dirisa ku mwaliiro…
Tiimu y'egwanga eya the Cranes eyingidde munkambi nga esuzibwaayo ku Sky Hotel olunaku lwa leero.
Okusinziira kumwogezi wa team eno Fred Katende Malibu,ategezezza nga abazanyi abalala okuli Walusimbi Godfrey,Baba Kizito ne Ssentamu Yunus bwebegase ku team eno era Cranes esuubirwa okusitula ku Sunday eno okwolekera egwanga lya Niger gyegenda okukuba amakanda oluvanyuma gyegenda okuva okwolekera Ghana…
Empaka zomuzanyo gwensamba’ggere wakati wa Golola Moses n'omumerika Richard Abraham ezibadde ezokuzanyibwa leero,zongezedwaayo okutuuka nga 6th September,ye week ejja kulwomukaaga ku speak Resort Munyonyo.
Okusinziira kukitunzi wa Moses Golola,omwami Lukas ategezezzanga nga bwebafunyemu okutataganyizibwa nebyentambula zomu’Merica Abraham wabula kumulundi guno wakutuuka mubudde era Tickets zakutundibwa mubifo ebibadde birambikidwa era nabaguze tickets ,bazitereke nga zigenda kukozesebwa week ejja…
Kaliisoliiso wa gavumenti alagidde ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole ky’ebyenguudo okuyimiriza mbagirawo abakungu b’ekitongole kino ab’okuntikko olw’ensimbi ezaaliibwa nga zaali zakuddabiriza luguudo lw’e Mukono okudda e Katosi n’ebitundu ebirala.
Bano kuliko akulira ekitongole kino , Ssebuga Kimeze, akulira eby’ensimbi , Joe Ssemugooma, akulira eby’amateeka Marvin Baryaruha ne David Luyimbazi nga ono y’akulira ebyenteekateeka.
Mu kiwandiiko ekikambwe kyafulumizza, Kaliisoliiso…
Obwakabaka bwa Buganda tebulina kyebumanyi ku nteekateeka za gavumenti okwongera okubuddiza ebyaabwo.
Kino kiddiridde amawulire okutegeeza nga ssabawolereza wa gavumenti bweyamaze edda okusunsula ebyaapa ebirala 82 nga byakukwasibwa ab’emengo olwaleero.
Minisita w’ebyamawulire Denis Walusimbi agamba obwakabaka tebunatuukirirwa ku nsonga eno.
Agamba singa bibaddizibwa bijja kwegatta kwebyo 213 ebyakomezebawo mu mwezi ogw’okuna.
Okubala abantu kukyagenda maaso nga w’owulirira bino nga n’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi amaze okubalibwa mu maka ge mu zooni ya Kitunzi B e Lungujja
Ekibinja ky’ababazi 8 bakedde mu maka ga Ssekandi era zigenze okuwera ssaawa 2 ez’okumakya nga batuuse.
Amanda Angella Namukasa yoomu ku bakulembeddemu okubala kuno nga era agamba buli kimu kitambudde bulungi.
E…
Olunaku olusoose okubala abantu lufundikiddwa kyokka nga tekubuzeemu bujogoli
E Lyantonde abadde katemba , ababala nga bezooba n’abalalu abagaanye okubabala
Bakedde bukeezi nga bulijjo kyokka bano olubatuseemu nebabuna emiwabo
Atwala eby’emiwendo gy’abantu e Lyantonde Muhamad Mwesigwa agamba nti kati basazeewo okudda ku balamu kubanga abalalu kirabika babalemye
E Masaka abakulembeze b’amadiini beebakulembeddemu okubalibwa nga ssabasumba w’essaza lye Masaka John…
Pulezidenti Museveni asisinkanye Kyabazinga wa Busoga omuggya, William Nadiope Gabula .
Amuyozayoozezza okutuuka ku buwanguzi n'okumusaba atwaale ekitundu kya Busoga mu maaso.
Gabula yalondeddwa ku bwa kyabazinga , abalangira 10 ku 11 abaatudde mu Lukiiko lwaabwe nga 23 omwezi guno.
Gavumenti erudde nga teraga weeri ku nsonga za Busoga bukyanga Henry Wako Muloki afa mu mwaka gwa 2008.
Omwogezi…
Omusajja ow’emyaka 30 asindikiddwa mu kkomera yeebakeyo emyaka mukaaga lwakukuba mukyala we n’amutta
Omulamuzi wa kkooti ya Cityhall Moses Nabenda y’asibye Katende lwkautta mukyala we Ruth Gasangaire n’amutta
Omulamuzi agambye nti Katende yalina kukuuma mukyala kyokka ate kyewunyisa nti ate yeeyakuba mukyala we ebikonde ebyamuviirako n’okufa
Katende mukuumi mu baala e Kulambiro Kawempe era nga kigambibwa nti okukuba…