Ebya Bad Black byo kirabika byafuuka namulanda
Kati ate waliwo abamukubye mu mbuga z’amateeka nga bamubanja obukadde 105
Abamubanja bawozi ba ensimbi nga bayise mu Ismail l Mpanga Bumba nga bagamba nti nga 11th omwezi gw’ekkumi mu mwaka 2011 bawoola Black ensimbi zino ezaali ez’okussa erinnya lye ku mmotoka ye kika kya Benz.
Yabasuubiza nti agenda kubasasula naye…
KCCA eyongedde okutabukira bannanyini ma baala agakuba omuziki ogubuzaako abalala otulo mu kiro
Ku luno batuukidde ku nnanyini baala ya Cayene esangibwa e Bukoto ng’ono aguddwaako emisango gy’okubuzaako abalala emirembe.
Mario Bruneti ng’ono mumerika era nga ye bba w’omuyimbi Cindy asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Juliet Hatanga n’ayimbulwa ku kakalu ka kooti ya bukadde bubiri n’ekitundu
Abamweyimiridde kwekubadde muganzi…
Obwakabaka bwa Buganda busabye abantu bonna abagenda e Bugerere okwewala ebikolwa eby’efujjo wamu n’ebigambo ebisiga obukyaayi.
Minista wa Buganda ow’amawulire Denis Walusimbi Ssengendo agambye nti okukyala kwa Kakaba mu Ssaza lye Bugerere, kugendereddwamu okutabaganya abantu abenjawulo sso ssi kusiga bukyaayi.
Walusimbi era asabye abagoba ba Boda boda okwewala okuvugisa ekimama mukwaniriza Ssabasajja wamu n’abantu babulijjo okwewala okweyiwa…
Waliwo omusajja enzaalwa ya South Africa akubye kkampuni y’amasanyalaze mu mbuga z’amateeka ng’alumiriza nti essaala ze zeezalemezaako amasanyaalaze mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ezaali mu ggwanga lino mu mwaka 2010.
Omusajja ono ayagala aba Eskom ababunya amasanyalaze mu South Africa bamusasule obukadde 250 olw’essaala ze ng’amasanyalaze tegavaako yadde olunaku olumu.
Ono agambye nti amasanyalaze gaali gavaako nnyo…
Entalo mu bagoba ba boda boda mu Kampala zirabika zisajjuse
Abamu ku bano abeegattira mu kibiina ekya National Federation of professional cyclist network mu Kampala basabazze ebyogerwa nti beegasse ku kibiina ekirala ekimanyiddwa nga Boda boda 2010.
Bano bagamba nti tebasobola kwegatta ku bantu abamaze ebbanga nga babatulugunya.
Beetwogeddeko nabo bagamba nti bbo bakyetongedde era nga bakusigala nga…
Poliisi mu ggwanga lya Buyindi ekutte abasajja 13 abagambibwa okusobya ku muwala ekirindi nga bagoberera ekiragiro ky’abakulembeze mu kitundu.
Abakulembeze bano abaatudde mu kafubo beebasazeewo nti muwala ono akakakibwe omukwano ng’ogumuvunaanibwa gwakubaako na luvubuka lw’ayagala
Omuwala ayogerwaako wa myaka 20 era ng’ali ku kitanda mu mbeera mbi.
Kooti ezituulako abantu abakulu mu buyindi zitera okusalawo ku nsonga z’omukwano…
Omutendesi wa tiimu y’eggwanga eya Cranes Micho,kyaddaaki avuddemu omwaasi ku kya Uganda okuwandulwa mu mpaka za CHAN.
Micho ategezezza nti Uganda okuva mu mpaka zino kyava ku butali bumanyirivu obumala,sso nga n’okujjamu Hassan Wasswa kyakosa tiimu
Uganda yakubwa Morocco goal 3-1.
Bino byonna bibaddewo ku kyemisana ekitegekeddwa Fufa eri abazanyi wamu ne bannamawulire ku Ivy’s Hotel olwaleero.
Ye omukulembeze…
Ebyewunyisa tebiggwa mu nsi.
Omusajja ow'emyaka 61 mu ggwanga lya China yeegulidde erinnya lwakukozesa nyindo ye kufuuwa mukka mu mipiira.
gwe gy'ogendera ku masundiro g'amafuta okupika omukka mu mipiira yye addira nyindo ye n'atandika okusikuma ommukka era wayita mbale omupiira guno nga gujjudde
Nie Yongbing ekyewunyisa nti kino asobola okukikola nga waliwo alinnye ku mupiira ogwo.
Ono agambye nti…
Abasawo okuvaako ku ddwaliro lya Komamboga health centre 3, beeralikirivu olw’abavubuka abasinga obungi obutamanya kukozesa bupiira bu kalimpitawa ekibaviiriddeko okukwatibwa endwadde z’obukaba ate nga bbo abawala baggyeemu mbuto.
Akulira eddwaliro ly’abavubuka Anderson Kiwanuka atutegeezezza ng’abavubuka abasinga obungi bwebafunye endwadde omuli enziku ate nmga bujjudde mu malwaliro.
Eddwaliro lino lijjanjaba abantu okuva mu bitundu bye ebitali bimu omuli…
Ekibiina ky’ensi yona ekikola ku byobulamu olwaleero kisomesezza abasawo ku ngeri ey’okulwanyisaamu obulwadde bwa kokoolo
Akulira ekibiina kino Wondimagenyu Alemo agamba nti okulwanyisa kokoolo kutandikira ku kusomesa bantu y’okubuziyiza ate ababulina nebayiga engeri y’okwejjanjabamu.
Omu ku basawo mu ddwaliro lya kokoolo e Mulago, Dr Fred Okuku agamba nti byebayize bangi nga bagenda kubikozesa okulwanyis aobulwadde buno
Onoa gamba…