Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka z’okukyala kwa Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri ez'okukyala mu ssaza lye erye Bugerere.
Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi agambye nti buli kimu kiwedde ng'omutanda agenda kubeera mutaka e Kayunga nga 27 ng'eno egenda kusisinkana abakulembeze abatali bamu, aggulewo omwoleso kkoo n'okutema evuniike ly'okuzimba kkanisa ya ba…
Emirimu mu kakiiko akakola ku by'okwerinda gyesibye okumala kumpu ssaawa bbiri namba oluvanyuma lw'abakulu mu gavumenti okusaba nti bannamawulire bagobwe mu kakiiko.
Abakulu bano okubadde amyuka ssabawolereza, Fred Ruhindi n'oweby'okwerinda Jeje Odong bategeezezza ng'ebimu ku byebamanyii bwebabadde batasobola kubitegeeza babaka nga bannamawulire bawulira
Kino kiwakanyiziddwa ababaka Semuju Nganda ne Kaps Hassan Fungaroo abategeezezza ng'ensonga eno bw'eri enkulu…
Ssentebe wa UNEB , Fagil Mande kyaddaaki ayogedde ku bizibu ebiri mu kitongole ky'akulembera.
Agamba nti ekireese obuzibu kifo kya ssabawandiisi, Mathew Bukenya eyalekulira nga buli omu akyagaala.
Omuntu akola omulimu guno asasulwa obukadde 17.
Mande era ayagala wabeewo n'okunonyereza ku alipoota eyakolebwa ng'esonga ku mivuyo mu UNEB .
Bw'atuuse ku bagala alekulire, Mande agambye nti kino asobola okukikola…
Abantu babiri beebafiiridde mu kabenje akagudde e Kiwnagula ku luguudo oluva e Busaana okudda e Kayunga
Ku bafudde kwekubadde n'omusajja wa myaka 70 abadde avuga akagaali ng'ategerekese nga Benon Bawaali.
Emmotoka kika kya Mark two eremeredde omugoba waayo n'ekoona omukadde ono nga tennaba kwevulungulula mirundi egiwera.
Omulala afudde abadde atambulira mu mmotoka eno
Aduumira poliisi ekola ku ntambula y'ebidduka…
Abadde katemba ku ddwaliro e Mulago abasajja babiri bebalwanidde omulambo gw’omwana abadde yakazaalibwa.
Kiddiridde maama w’omwana ono ategerekese nga Masitula Mbabazi okulimba abasajja bombi olubuto.
Mbabazi nga yakamala okuzaala yayise bba okukima omulambo kubanga omwana yabadde afudde kyokka nga yabadde yakatuuka n’omusajja omulala n’atuuka.
Omusajja ow’okubiri ategerekese nga Robert Kasumba alumirizza ng’omwana bw’abadde owuwe era ng’asaba mulambo gwa…
Abaaliko abakungu ku Lukiiko lwa FUFA balabudde gavumenti ku kya kkampuni y’obwannayini okuddukanya emizannyo gy’eggwanga
Abana bano babadde mu kakiiko akakola ku byemizannyo nenjigiriz anga kano kanoonyereza ku njawukana eziri mu FUFA
Nga bakulembeddwaamu John Baptist SSemanobe, bategeezezza nti benyamivu olw’omupiira engeri gyeguddukanyizibwaamu mu ggwanga
Ono agamba nti ng’olukiiko lwa Denis obua bwelwayiibwa olw’okubeera kkampuni y’obwa nanyini ne…
Abantu bangi balina ebisolo naye nga tebamanyi ngeri yakubisanyusa
Obadde okimanyi nti teri kisanyusa kkapa nga kwambala jiini
Bu kkapa buno kizuuliddwa nti bwagala nnyo okwambala jiini nga zisibiddwaamu n’omusipi nga buli bwebutambula nga bugikulula ee, esanyu nerikirako omwookyi wa gonja
Gujabagira ssinga bu kkapa buba bubiri nga bwebwegoba, anti buli akatunuulira kanne nga kasanyuka olwo amaka gaabwo…
Omusajja poliisi gw’ebadde ewenja yewaabye yekka bw’assizza ekifananyi kye lu mukutu gwa facebook mu butanwa
Anthony James abadde ayiggibwa okuva omwaka oguwedde kyokka nga wayise eddakiika 45 zokka okumukwata bw’atadde ekifananyi ku facebook
Omusajja ono abadde ayiggibwa ku bigambibwa nti aliko omusajja gweyakuba
Abantu bangi berekereza okulya ekyenkya nga bakekkereza ate abalala naddala abakyala mbu bagaala kusala weyiti ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri
Naye obadde okimanyi nti obutalya kyankya kya bulabe nnyo eri obulamu.
Kati ate bbo abagaala okusala weyiti bamala biseera kubanga ate kino kibongera kugejja.
Dr Charles Kakooza okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti kirungi omuntu n’anywa ku chai,…
Kasaasiro afuuse kasasiro mu divizoni ye Kawempe.
Kino kivudde ku ba kontulakita abatono bebalina okukungaanya kasasiro ono.
Amyuuka meeya we Kawempe, Ibrahim Mirembe agamba nti kkampuni z’obwannanyini azasaba omulimu guno zaali tezirina busobozi era nga tebasobola kuzikozesa
Zino kati bazireka mu bifo ng’obutale, ebizimbe ebirala ne supermarket olwo newasigalawo ekizimbi