Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Poliisi eyodde 40

Poliisi ye Nansana ezinzeko abateberezebwa okubeera abazzi b’emisango 40. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu kiro ekikesezza olwaleero mu bitundu nga Kibolooka, Yesu Amala , Nabweru n’ebitundu ebirala. Akulira poliisi ye Nansana , Mohammed Kirumira agambye basobodde okuzuula ebikozesebwa mu bunyazi okuli amajambiya, obutayimbwa n’ebisumuluzo ebijingirire ebikozesebwa okugula amayumba g’abantu. Bano bonna mukaseera kano batwaliddwa mu kooti ye…

Read More

Lunaku lwakwegwa mu bufuba

Olwaleero lunaku lwa kwegwa mu kifuba era nga kai emyaka 28 ng’olunaku luno lukuzibwa. Abantu begwa mu kifuba olw’ensonga ez’enjawulo naye obadde okimnayi nti okugw aomuntu ku kafuba ng’alina ebizibu kimukkakkanya. Omwogezi w’ekitongole ekiwooyawooya abali mu bizibu, Ali Male agamba nti abantu bangi banyumirwa okugwa abalala mu kafuba kyokka nga balina okwegendereza kubanga ssi buli omu nti…

Read More

ARVs zikyusiddwa

Ekitongole ekikola ku by’eddagala ekya National drug authority kireese amakerenda agaweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya nga gano galiko akabubi ka sukaali Kiddiridde abantu okwemulugunya nti eddagala eribadde ku katale libadde likaawa era nga bangi babadde balyesamba Omwogezi w’ekitongole kino, Fred Sekyana agamba nti eddagala lyebaleese bamaze ookulibunyisa mu malwaliro ga gavumenti era ng’abantu tebajja kuddamu kufuna buzibu Eddagala…

Read More

Aba St Balikuddembe bawereddwa amagezi bateese

Abasuubuzi b'omu katale ka Owino bawereddwa amagezi okwegatta bakolere wamu oba sikyo  sibakuganyulya mu kya kooti okulangira KCCA okubaddiza ekyapa kyaabwe. Kooti ya City Hall yalagidde KCCA okuwa abasuubuzi bano ekyapa kyabwe ,oluvanyuma lw’okusasula obuwumbi 4 obwa liizi nga era ekyapa kirina kubeera mu manya g’ekibiina ekigatta abasubuzi bano ekya SLOWA. Wabula abamu ku bakulembeze b’ekibiina kino…

Read More

Bitama aziikiddwa

Abadde munnakatemba era kazanyirizi Paddy Bitama kyaddaaki agalamiziddwa ku biggya bya ba jajja be e Mitala Maria. Omukolo gwetabiddwaako abanene okuva mu buli nsonda okuli bannabyabufuzi ne bannakatemba . Ku mukolo guno, taata w’omugenzi Peter Njegula atangazizza ku nsonga z’amabugo n'awolereza munnakatemba Messe nti telyanga ku mabugo nga bwebyafulumira mu mpappula z'amawulire nga ssente zonna bazibawadde. Yebazizza abantu…

Read More

Obuganda busanyukidde omulangira

Obwakabaka bwa Buganda busanyikidde amawulire g’omulangira Edward Mbogo. Omulangira ono yazaaliddwa omulangira David Wasajja n’omuzaana Marion Nankya ku lunaku lw’omukaaga. Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, akyaddeko mu ddwaliro gyebali n’ategeezezza nti mu butuufu Obuganda buladde Owek.Mayiga agambye nti kati balinda ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda mutebi okutuuma omulangira ono amanya amalala.

Read More

Teri kusengula masomero

Kooti enkulu mu kampala ayisizza ebiragiro ebiyimiriza KCCA okusengula  amasomero agali mu musingi gw’eddini yy’ekikiristu mu kampala Abakulembeze ba Kkanisa ng’eyita mu Jonathan Lubega baddukira mu kooti nga bawakanya ekya KCCA okusengula amsomero gaabwe nga tebabeebuzizaako Nga 18 omwezi oguwedde, abakulembeze b’amasomero agatali gamu okuli Makerere, Kisugu and Ntinda primary school gafuna ebiwandiiko ebyalai biraga nti gakusengulwa Kati…

Read More

Obuzigu

Poliisi e Kawempe ekutte abantu mukaaga abagambibwa okuba abazigu Bano babadde babba kkampuni ensogozi y’omwenge ogwa Buddu Distillation Company  era nga babasanze bakyagutikka3 Omwogezi wa polisi Ibin Senkumbi agamba nti ababbi bano beekobaanye n’abakuumi kyokk aomu ku bbo n’abavaamu Ssenkumbi agamba nti bano bagenda kuggulwaako misnago gya buzigu bwebanasimbibwa mu kkooti Mu ngeri yeemu, poliisi mu disitulikiti  ye Buikwe…

Read More

Enjala etandise okutta abantu

Abakulembeze mu disitulikiti ye Lwengo bawanjagidde gavumenti okubayamba ku njala abazinzeeko. Enjala eno yakatta abaana basatu nga n’emmere yenyini teriiwo. Omubaka akiikirira abantu be Bukoto mu bukiikakkono, Mathius Nsubuga agamba nti bamaze okutegeezaako minisitule ekola ku bigwa bitalaze okuddukirira abantu baabwe   Kyokka ono asabya abatuuze okufuba okulembeka amazzi buli kakuba bwekajja kafukirire ebirime byaabwe.

Read More