Omubaka w'amambuka ga Rubaga Moses Kasibante awonye ekomera.
Ono yeyimiriddwa ku bukadde bw’ensimbi 3 ezabuliwo nabamweyimiridde okuli mubaka munne Medard Lubega Ssegona ne kansala w’eLungujja Baluddewo Sam ku bukadde 50 buli omu ezitali zabuliwo.
Ye Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago n’omubaka wa minicipali ye Masaka Mathius Mpuuga omulamuzi wa kooti ya Mwanga II Susan…
Ekitongole ekikola ku by'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kitegeezeza nga bwekigenda okufulumya ebyava mu bigezo by’eky'omusanvu ku nkomerero y’omwezi guno.
Omwogezi w’ekitongole kino Hamis Kaheru agamba buli kyetaagisa kiwedde nga essaawa yonna bakufulumya ebigezo bino obutasukka mwezi guno.
Ono agamba nti ebibuuzo bino byandibadde byafulumizibwa emabegako ,naye ebbula ly’ensimbi neribalemesa.
Abayizi basuubirwa okutandika olusoma olusooka nga 4 omwezi…
Abantu booya ebintu bingi omuli ebbumba , kaawa n’ebiralala naye ate ono asusse
Okukyala ono bw’akwata kun appi erimu omusulo asulawo busuzi
Omukyala ono abeera mu kibuga queen muu newyork agamba nti tasobola kumala ssaawa nga tasise ku musolo era nga nappy gy’ekoma okunnyikira naye okunyumirwa
Ono Takoma ku nappi za mwana we yekka wabula n’ezabaana ba mikwano…
Abasajja basatu abagambibwa okukusa abntu bakwatiddwa
Bano kigambibwa okuba nga babadde basuubiza abantu okubatwala ebweru okubafunira emirimu naye nga bamala nebabatunda ebweru nebakozesebwa
Akulira ekibinja kya poliisi ekirwanyisa okukusa abantu, Moses Binoga agamba nti bano kigambibwa okuba nti babadde bakakikola abantu abasoba mu 100 webabakwatidde.
Omusajja abadde agezaako okufuna omulimu mu poliisi agudde eri n’afa.
Jacob Owere wa myaka asatu ng’olwaleero abadde ku kigezo kyakudduka misinde okukakasa nti abadde yesobola
Wabula ono mu kudduka atandise okuwulira obubi era bw’atyo n’agwa wansi
Bamuyoddeyodde okumuddusa e Mulago kyokka ng’afudde yakatuuka.
Okusinziira ku mateeka ga poliisi, omuntu yenna okubegattako alina okubeera n’omubiri ogwesobola era nga buli Muntu…
Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ebyokwerinda kalagidde gavumenti okulaga endagaano gyeyakola n’eggwanga lya South Sudan ku ky’okusindikayo abajaasi
Kino bakituseeko bwebabadde bakubaganya ebirowoozo ku ndagaano eno
Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti beetaga okumanya byonna nga bwebiri, ensimbi ziva wa, era nga ani asasula abajaasi abasindikibwayo
Ababaka okubadde Saleh Kamba, Ibrahim Ssemujju, Mohammed Kivumbi ne Simon…
Poliisi nakati ekyagenda mu maaso n’okuwenja emirambo gy’abantu 2 abaagude mu nyanja Wamala akawungeezi ka jjo.
Omwogezi wa poliisi mu masekkati ga Buganda Philip Mukasa agambye nti abagudde mu Nyanja bategerekese nga Richard Lutaaya ne Isaac Katongole
Ono agamba nti polisi ekyagenda mu maaso okunoonyereza ku kyavuddeko akabenje kano.
Agambye nti ababbidde babadde tebambadde bujaketi n’alabula abavubi ku…
Omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante olwaleero asuze Luzira
Ono asindikidwa ku alimanda e Luzira okutuuka ku lw’okutaana olwa wiiki eno.
Omulamuzi w’eddala erisooka mu kooti ya Mwanga II Susan Abinyo y’asindise Kasibante ku musango ogw’okuzimuula ebiragiro bwa Kkooti.
Omulamuzi agambye nti ddembe lya Kasibante okweyimirirwa wabula omu ku bantu abemweyimirira mu kusooka, Mukiibi Sserunjogi yava mu bulamu…
Abatuuze ababeera ku luguudo lwe kiwologoma nga luno lw'eluva e Kira okudda e Kasangati bavudde mu mbeera ne beekalakaasa nga ssi kirala wabula nfuufu
Oluguudo olwogerwaako lukolebwaako kyokka nga teruyibwaako mazzi.
Akulira poliisi mu divizoni ye Kira, Robert Nkulega agamba nti batuuse mangu mu kitundu kino ng’embeera tennasajjuka
Ono agamba nti kkampui eyapatana omulimu guno eragiddwa okuyiwa amazzi…
Okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ettaka lye Kasokoso mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’ettaka n’okuzimba kugudde butaka.
Kino kiddiridde okubalukawo obutakkaanya mu kakiiko kano, oluvanyuma lw’abamu ku bakiise okuyita abatuuze mu Acholi Quarters nabo okulabikako mu kakiiko kano.
Wabula oluvanyuma basazeewo nti buli zooni mu kitundu kye Kasokoso esindike abantu 5 mu kakiiko kano ku lwokubiri lwa…