Omulambo gwamunakatemba Paddy Bitama guddiziddwaayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago okutuusa nga enkayana ku wa gyalina okuzikibwa ziwedde.
Kino kiddiridde Peter Njegula okulemerako ng'akayakayanira omulambo gwa paddy gwagamba nti mutabani we.
Ono ayagala basooke bakebere omusaayi bakakase kino nga era okuziika kwakugira nga kulinda.
Njegula anyonyola nti Paddy yamutuuma kasozi yadde nga abadde alina lya SSali nga era…
Omukyala enzaalwa ye Bungereza akubye bannamateeka be mu kooti ng’abalanga butamubuulira nti okussa emikono ku kiwandiiko ky’okwawukana ne bba kyaali kyakukosa obufumbo bwe.
Jane agamba nti bannamateeka be tebamubuulira kabi kali mu kussa mukono ku kiwandiiko ekibawukanya ne bba
Omukyala ono agamba nti mu katuliki kale nga yali tasuubira nti bayinza okwawukana ne bba
Ono agamba nti yye…
Muyizi tasubwa wa Real Cristiano Ronaldo ayolekedde okusitukira mu kikopo ky’omuzannyi w’omwaka 2013.
Ronaldo nga ye Captain wa Portugal yoomu ku bazanyi abasatu abasongeddwaamu olunwe nga abalala kwekuli owa Barcelona Lionel Messi ne Franck Ribe of Bayern Munich.
Abasatu bano bagyiddwa mu bazannyi 23 ababadde mu lwokaano.
Omuwanguzi alangirirwa nkya
Kawempe, Makindye e Rubaga ze divizoni ezisingamu amasomero agatatukagana na mutindo.
Aba KCCA beebategeezezza bino nebawera okuggala ago gonna amafu
Akulira ebyenjigiriza mu KCCa, Anne Galiwango, agamba nti amasomero agasoba mu 2000 geegagwa mu kkowe lino nga n’agamu tegalina licence
Galiwango agamba nti essomero lyonna okutuuka ku mutindo lirina okubeera n'ebizimbe ebituufu, abasomesa abatendeke kko n'okulabirira abaana obulungi…
Abagoba ba bodaboda basitukiddemu okulwanyisa ababakuba obutayimbwa
Bategese olukiiko olugenda okwetabwaamu ne pulezidenti museveni okulaba nti bafuna eky’okuddamu eri abazigu bano
Wansi w’ekibiina ekibagatta ekya Bodaboda 2010, bagamba nti abantu ababakuba obutayimbwa bategeke bulungi era nga kakukuulu akeetaga okukwatira awamu okukasanayaawo.
Akulira ekibiina kino Deus Kananura agamba nti mukakafu nti bajja kubaako nekyebatuukako mu lukiiko luno.
Abagoba ba taxi mu kibuga bazzeemu okusaba poliisi okukoma ku biloole okuyingira ekibuga
Kiddiridde kiloole okutta abantu 7 e Wakaliga ate nga munaana bali mu ndiri bataawa
Akulira aba taxi bano Mustafa Mayambala agamba nti beimotoka bino bya bulabe nnyo naddala mu biseera by’okumakya n’akawungeezi
Wabula yye kamisona akola ku ntambula y’ebidduka Steven Kasiima agamba nti mulimu gwa…
Obadde okimanyi nti okumeketa emwanyi naddala enkalu kiyamba omuntu okujjukira enyo.
Okunonyereza okukoleddwa mu gwanga lya America ,kulaze ng’okumeketa emmwanyi bwekuyamba mu kuwagala obwongo bw’omuntu.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bantu 160, nekukizuula nti abantu bano bajjukira nyo bwogerageranya abo abamira empeke.
Wabula abakungu basabye abantu obuteyibala kubanga okulya enyo emwanyi ate kiretera omuntu okubulwa emirembe wamu n’otulo.
Wadde nga waliwo eddagala ,abantu 400 beebakwatibwa ekirwadde ky’ebigenge buli mwaka mu Uganda
Ku bano, ebitundu 10% baana bato abali wakati w’emyka 8 – 15.
Omukungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Frank Mugabe agambye nti abaana bato obulwadde buno babujja ku bantu abakulu, abalagajalira okunywa eddagala.
Dr Mugabe agambye nti ekirwadde kino kisinga kwegirisiza mu district omuli Kampala,…
Omusawo agambibwa okufumita abaana ba banne empiso n'ekigendererwa ky'okubasiiga mukenenya agguddwaako emisango.
RoseMary Namubiru kigambibwa okuba nga yakozesa empiso neyejjamu omusaayi olwo n'agukuba mu baana abato.
Omukyala ono mutuuze e Seguku-Nsalo zooni ku luguudo lw'entebe.
Oludda oluwaabi lugamba nti ng'ennaku z'omwezi 7 omwezi guno, Namubiru ng'asinziira ku kalwaliro ka Victoria Center ku Lumumba yagezaako okutta omwana Mathew Mushabe…
Omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante akwatiddwa.
Kasibante bamukutte ava ku poliisi ya kampala mukadde gy'abadde agenze okweyanjula .
Ono assiddwa mu mmotoka kabangali ebaddemu abasajja abali mu leeya nga bavuze boolekera oluguudo lwe Hoima.
Omubaka akiikirira municipaali ye Mukono, Betty Nambooze Bakireke agamba nti bamaze nebakizuula nti ono bamuggalidde ku poliisi ye Kakiri.
Kyokka ono…