Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abe Kalerwe basobeddwa

Abasuubuzi bomu katale ke Kalerwe basobeddwa eka ne mu kibira. Nga bakyanyiga biwundu olw’akatale kaabwe okukwata omuliro ,kati ate enkayaana z'ettaka zibaluseewo. Kino kiddiridde amawulire agafulumye ng'erimu ku ttaka okutuula akatale kano bweryatundibwa nga era ab'okusinga okukosebwa beebakolera mu zooni emanyiddwa nga Mutebi. Abamu ku basuubuzi bagamba nti kikafuuwe okwamuka akatale kano nga kati bawanjagira gavumenti eyingire mu…

Read More

Bannekolera gyange bagaanye ebye South Sudan

Ekibiina kya banekolera gyange kisimbidde ekkuuli ekiteeso ky'okuteekawo amakubo amalala omunatambuzibwa ebyamaguzi okutuuka munda mu ggwanga lya South Sudan. Abamu ku bekikwatako babadde bateesa bakole kino olw’olutalo olugenda maaso munda mu ggwanga lwa South Sudan okusobozesa eby'obusubuzi okugenda maaso abasubuzi nga beewala amakubo gali ewali okulwanagana. Wabula akulira ekibiina kino  Gideon Badagawa agamba kuno kuteeka bulamu bwa…

Read More

Babiri basiibuddwa

Babiri ku bantu abaagudde ku kabenje ddekabusa e Wakaliga basiibuddwa. Bano beebamu ku omunaana abaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala taka mu kabenje akaatuze omusanvu   n'abalala nebabuuka n’ebisago ebyamanyi. Omwogezi w’eddwaliro  ekkulu ery’emulago  Enock Kusasira agamba abakoseddwa bagenda bakuba ku matu. Akabenje kano kabaddemu emmotoka 2 ku luguudo oluva e Mengo okudda e Nateete wali e Wakaliga. Okusinziira ku…

Read More

Ababundabunda 3,000 bayingidde uganda.

.   Ekibiina  ekidduukirize ekya Red Cross kitegeezezza nga ababundabunda abasoba mu 3,000 bwebasaze ensalo okuva mu South Sudan nebayingira mu Uganda. Bano okuyingira bayisse mu district ye Adjuman . Ayogerera ekibiina kino Catherine Ntabadde , atubuulide nti bano bonna mu kaseera kano bali mu nkambi ye Zapi mu disitulikiti ye Adjumani,wabula nga abaliyo kati  bawezze 30,000 . Yoomu agamba…

Read More

Abantu musanvu bafiiridde mu kabenje e wakaliga.

Abantu musanvu bafiiridde mu kabanje akagudde e Wakaliga ku ssekabaka road. Okusinziira ku aduumira poliisi y’ebidduka ku poliisi ye Lungujja Dominic okello, ekimotoka kya loole ekibadde kyetisse emmwanyi , kiremeredde omugoba waakyo ,nekiyingirira Taxi ebadde eyolekera Kampala . Abantu 5 bbo bafiriddewo, songa 2 bafiiridde mu dwaliro emulago. Ayogerera eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira atutegeezeza nti abakyali mu…

Read More

Bitama aziikibwa ku Mmande

Enteekateeka ez'okuziika abadde munnakatemba omugundiivu Paddy Bitama ziwedde okusinziira ku nteekateeka zino, Bitama wakuziikibwa olunaku lwa bbalaza ku bijja bya bajjajja be e Mitala maria. Omulambo gwe olwaleero gugenda kusula Nansana mu maka ge ate ku makya gutwalibwe mu kkanisa ya pastor Bugembe gy'agenda okusabirwa n'oluvanyuma gutwalibwe ku National theater mu kampala. Eno gwakutuukayo ku ssaawa 11 ez'olweggulo Bitama…

Read More

Oluguudo lwakuggwa kikeerezi

OKuzimba oluguudo lwa Kampala Entebbe express highway ssi kwakuggwa mu budde. Aba kkampuni eyapatana okukola oluguudo luno eya China communications construction company abakola oluguudo luno beebategeezezza bwebati bwebabadde balambuza ssabaminista omulimu gwebakola Bano bagamba nti kwefube w'okusasula abantu abaakosebwa atambula kasoobo kale nga tebalina nnyo kyakukola Wabula yye ssabaminista Amama Mbabazi ategeezezza ng'eno bw'etali nsonga  eri awo n'abasaba…

Read More

Paddy Bitama afudde

Kazannyirizi Paddy Bitama afudde Ono afiiridde mu ddwaliro e Mulago . Bitama abadde memba wa Amarula Family Ono nno yewunyisa bangi bweyarangirira nga bweyali yegasse ku bannabyabufuzi okusindikiriza gavumenti ya NRM mu mwaka 2011 era nga yali mu kisinde kya Ssuubi. Wabula gyebuvuddeko yategeeza nga bweyali azzemu katemba.

Read More

Besigye akwatiddwa

Eyali ekulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa Ono bamukwatidde ku paaka enkadde gy'atuuse yadde nga poliisi yakedde kugumba ku maka ge okumulemesa okufuluma. Wakati mu bawagizi be, Besigye afulumye mu mmotoka era emizira negitandika. Oluvanyuma lwa poliisi okwezooba ng'ekuba omukka ogubalagala , esobodde okukulula emmotoka ye okugyijja mu bantu okutuuka ku CPS mu kampala. Eno akuluddwa okuva…

Read More