Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abe Kayunga bacacanca

Abantu ba Ssabasajja Kabaka e Bugerere bali mu kucacanca oluvanyuma lw'okufuna amawulire g'okukyala kw'omutanda Olunaku lwaleero, obwakabaka bwa Bugandada bukakasizza nti Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi wakuba mutaka e Kayunga nga 27 omwezi guno. Ssabasajja essaza lye lino wakulimalamu ennaku ssatu nga yetaba ku mikolo egitali gimue gitegekeddwa. Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi Ssengendo akkakanyizza…

Read More

Poliisi egaanye olukiiko lwa Lukwago olulala

Poliisi etegeezezza nga bw’etagenda kukkiriza Lukiiko olutegekeddwa loodimeeya n'omubaka Moses Kasibante olunaku lwajjo. Bano babadde bawandikidde poliisi nga bagitegeeza nga bwebategese olukiiko ku St Matia Mulumba olunaku lw’enkya. Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti olukiiko luno terwandibadde lukyaamu naye loodimeeya okuluyingiramu kimenya amateeka Nabakooba agamba nti bukyanga lukwago agyibwa mu ofiisi takkirizibwakutegeka nkiiko kubanga ayinza okutataganya ekibuga. Wabula…

Read More

Atamanyi kuwuga atuuyanye zikala

Kati bbyo ebyewunyisa tebiggwa mu nsi. Omusajja abadde tasobola kuwuga atuuyanye nga bwezikala ejjego bwerikubye eryaato kw’abadde mu ggwanga lya Taiwan. Ono ekimuyambye nti amaaso agakubye ku kibaawo ekigambibwa okuba ekya ssaduuko y’abafu era kuno kweyerippye okumala ennaku 2. Ono nno ssi muvubi kyokka nga yayagadde okukwatayo ku byenyanja okufunamu ensimbi ez’okulabirira mukyala we ali olubuto. Omusajja ono asangiddwa…

Read More

Yekoze obusolo mu kkooti

Abantu ababadde mu kkooti e Mbarara bawunikiridde omusajja abadde asimbiddwa mu kaguli bw'atandise okwekola obusolosolo. Ono akoze buli kimu abali mu mukwano kyebakola ng'alinga ali n'omukyala mu mukwano okutuuka lw'atuuse ku ntikko. Bangi batandise okubisoma nga bw'abadde yalogebwa. Omusajja ono omuvuzi wa bodaboda ategerekese nga Twinomujuni Wasswa. Omulamuzi Philip Odoki alabye tabisole omusango n’agwongezaayo okutuusa nga 15 omwezi guno Omusajja…

Read More

Ka goonya kabasattizza

Kubamu akafananyi ng’obadde owuga n’alaba goonya ng’eri mu kidiba ky’olimu. Mu ggwanga lya Australia, gibadde misinde ate abalala batuuse n’okunywa amazzi okukirako ebyenyanja bwebalabye ka goonya nga kawuga nabo mu mazzi. Omusajja abadde awuga y’asoose okulaba ka goonya kano era n’asooba mpola kyokka nga bw’akoonye ku abadde amulilaanye ekubye enduulu olwo ensitaano n’etandika mu mazzi. Abalabirira ekidiba kino…

Read More

Omukyala asse bba

Poliisi e Kabale ekutte omukyala agambibwa okukuba bba enkumbi ku mutwe n’amutta Bino bibadde ku kyaalo Rutakyengwa mu ggombolola ye Hamurwa Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate agambye nti omugenzi ategerekese nga  Keresensio Bigambo,ow’emyaka  48. Yye omukyala agambibwa okumutta ye Asumputa Musimenta. Kigambibwa okuba nti obuzibu bwonna buvudde ku nsimbi zebabadde batunda okuva mu taaba ng’omusajja…

Read More

Omutanda agenda Kayunga nga 27 omwezi guno

Kimaze okukakasibwa nti Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi wakuba mutaka e Kayunga nga 27 omwezi guno. Ssabasajja essaza lye lino wakulimalamu ennaku ssatu nga yetaba ku mikolo egitali gimue gitegekeddwa. Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi Ssengendo akkakanyizza emitima gy’abantu ku by’okwerinda by’omutanda ng’agamba nti biri guluggulu Azzeemu okukikkatiriza nga Buganda bw’ataanyi ssabanyala era nga bakukolagana…

Read More

Ampangisizza abanoonya omusajja amukwaanye

Omukyala abadde anoonya omusajja gw’asisinkanye kyokka n’atamujjaako namba ya ssimu apangisizza kyaalo kiramba okunoonya omusajja ono Omukyala ono omusajja gw’anoonya amusisinkanye ku mukutu gwa yintaneti mu baala bw’abadde atunda Omukyala ono akuzisizza n’ebipande ng’alanga omusajja amubuzeeko n’asaba amumanyi amubuulire oba ye kenyini omusajja bw’aba abirabye omukubire. Omukyala ono agamba nti musanyufu kubanga afunye abantua bamukubira abawera era ng’akikakasa…

Read More

Owa Kinyeenya mutwe afudde

Omu ku bantu ababadde batawanyizibwa ekirwadde kya kinyeeya mutwe kiyite nodding disease afudde Abbey Betty nga wa myaka 18 afiridde mu disitulikiti ye Kitgum. Abantu abalina obulwadde buno basoba mu 7000 nga bali mu disitulikiti omuli eye Kitgum,Pader Gulu n’endala eziri mu bukiikakkono. Omubaka omukyala owa disitulikiti eno, Beatrice Aywar agamba nti ono afudde lw'obutafuna bujjanjabi mu malwaliro…

Read More