Poliisi e Mbarara eri ku muyiggo gw’abazigu abalumbye omusuubuzi nebamukuba amasasi agaamusse .
Bano era balumizza n’omukyala omulala gweyabadde atambula naye. Bino byabadde mu kabuga ke Buteraniro ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Kabale.
Omwogezi wa poliisi ye Rwizi, Polly namaye agambye nti omugenzi ategerekese nga Matia Turyagenda omusuubuzi w’ebyenyanja era ng’abadde n’ebbaala mu kibuga kino…
Bannamateeka abawolereza eyali muganzi w’omubaka Cerina Nabenda basabye kkooti emwejjereze kubanga talina musango.
Bano abakulembeddwaamu Nsubuga Mubiru ne Macdusman Kabega bagambye nti Nebanda teyali mwana muto kukozesa biragalalagala ebyogerwaako nga tategeera
Bino babyogedde bafundikira omusango guno nga buli luuyi luwaddeyo ebyaalwo.
Bbo bannamateeka abalumiriza Adam Suleiman Kalungi okutta muganzi we olwaleero balemereddwa okulaga nti Nebanda yalina obuzibu ku…
Ababaka ba palamenti babaze ku mulimu gw’okunoonye emikono egisaba nti ababaka bave mu luwummula lwebalimu bateese ku nsonag ze South Sudan
Omubaka wa Jinja y’omu buvanjua, Paul Mwiru ne munne Hassana Kaps beebakulembeddemu omulimu guno nga bagamba nti ensongaza eziri mu South Sudan Nkulu kale nga tebayinza kusirika nga bingi bigenda mu maaso
Mwiru agamba nti bagala…
Yadde ng'emundu ziseka e South Sudan, bannayuganda batandise okuddayo.
Bannayuganda bangi bakooye embeera eri kuno nga basazeewo okuddayo banoonye ensimbi
Baasi ezaali zitakyalina ba kasitoma kati bayitirivu ea nga basuubira nti bajja kweyongera.
Omu ku bakozi mu kkampumi ya Bakulu coaches asabaaza abantu, Fathil Wagala agamba nti abantu abatambula balai bakenedeera mu biseera bya sekukkulu kyokka nga bweyaggwa…
Gavumenti esabiddwa okussa ekitiibwa mu kusalawo kwa kooti ku kya Erias Lukwago okusigala nga Loodi Meeya.
Kino kiddiridde poliisi okulinya eggere mu lukungaana Lukwago lweyabadde alina okukuba olunaku lwajjo ng'etegeeza nga ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi bweyabawabudde nga Lukwago bwatakyali mukulembeze wa kampala.
Omubaka wa Rubaga North, Moses Kasibante agamba nti poliisi teyinza kwesigama ku ntaputa ya…
Abatuuze be Kibuli bavudde mu mbeera nebekalakaasa olw’enfuufu esukkiridde .
Kanaluzaala lw’eluguudo lwa kakungulu olwawalakatibwa kati emyezi 6 nga terunaggwa nga abaliranyewo okusingira ddala abalukolera okumpi enfuufu balye ndye.
Bano era banenya ekitongole kya KCCA okukola omulimu guno mu kasoobo.
Aba kampuni ya Omega nga beebali ku mulimu gw’okuddabiriza oluguudo luno balabye bikaaye kwekutandika okumansa amazzi mu luguudo…
Ebintu ebibalirwaamu obukadde n’obukadde byebitokomokedde mu nabbambula w’omuliro akutte amayumba e Namasuba ku stella.
Tekinnategerekeka oba omuliro guno guvudde ku ki kyokka nga gutandikidde mu bbaala okweyongerayo mu maduuka amalala.
Akulira poliisi enziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti bayitiddwa lubaluba era nga basobodde okutuuka okuzikiza omuliro guno.
Ono agamba nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.
Wali olabyeeko omuntu agudde ku kabenje ng’alogotaana.
Kati nno ono omukyal avudde ku ndogoyi n’agwa wansi kyokka ng’oluzze engulu ng’ayogera lulimi lulala nnyo.
Omukyala ono ow’emyaka 50 mugenyi mu ggwanga lya Scotland era ng’olulimi lwaayo abadde talumanyi kyokka kibaweddeko bw’azze engulu ng’alusaza budinda
Abasawo bamaze nebamwekebejja era okwogerako n’ab’oluganda lwe nga mulimu aba scooti mu family kyokka nga…
Abakyakaze bangi obasanga ekiro nga beepena poliisi olw’ensonga nti baba bayiyeemu ku twenge
Abantu okuvuga nga batamidde tekiri Uganda wokka nga mu ggwanga lya America, waliwo gwebakutte nga gw’anywedde gwo muzibu.
Omuvubuka ono Carter alemeredde n’okufuuwa mu kawunyemu nga tasobola kusika mukka
Abapoliisi basazeewo okupima omwenge oguli mu musaayi gwe kyokka ng’akuuma kagaanye okukola kubanga gubadde mungi nnyo
Ono…
Ababaka ba palamenti okuva mu Buganda balabudde eyeeyita Ssabanyala Baker Kimeze okwewala okwogerera Obuganda amafukuule
Kiddiridde ebyasooka okufuluma nga biraga nga Baker Kimeze bweyali asaba Mengo ewandiika mu butongole ng’esaba nti Ssabassajja akyaleko mu ssaza lye Bugerere.
Amyuka akulira akabondo k’ababaka ba Buganda mu palamenti, Betty Nambooze Bakireke agamba nti Kimeze tayinza kwogera ku nsonga nkulu nga…