Abasuubuzi b'omukatale ka USAFI wali ku kalitunsi bavudde mu mbeera lwa poliisi kuyingira mu lukungaana lwaabwe .
Abasuubuzi babadde bakuteesa ku ky'okutulugunyizibwa abatwala akatale kano beebabalumiriza okubabinika ssente z’empooza enyingi nga ate ng'akatale tekafuna bulungi baguzi.
Abasuubuzi bagamba ekya poliisi okwebulungula akatale webagenda okuteeseza kabonero kakubakanga era nga gyebigweredde nga tebatudde
Kati ebiseera ebisinga abagalana balayira nti mu bulungi ne mu bubi era nebalayira buli omu okugumikiriza munne.
Omukyala mu ggwanga lya Kuwait asazeewo ayawukane ne bba gweyakafumbirwa kati wiiki emu lwabutamanya kuliisa fooko.
Ono mu kifo ky'okuliisa kawo fooko yasazeewo amuliise mugaati omukyala nava mumbeera.
Guno ssi gwegusoose nga waliwo omukyala omulala eyayawukana ne bba oluvanyuma lw'okunyiga ekicupa…
Ebisesa tebiggwa mu nsi yadde abamu ate biba bibakaabya
Mu kibuga Ohio ekya America, ababadde balinze enyonyi okusitula kibabuseeko buli kimu bwekiyimiridde olw’omuntu agenze emanju n’asuula ki pamper mu tooyi enzungu
Tooyi eno ezibikidde nga kizibu omulala okugikozesa.
Kino kiwalirizza abaddukanya ennyonyi okujjako buli abadde ku nyonyi basooke okulongoosa ekikosezza bangi kyokka nga buli omu obwedda yegaana nti…
Bannayuganda abakyatubidde mu ggwanga lya South Sudan bandituusibwaako obulabe.
Abakulembeze okuva mu bitundu ebiriraanye eggwanga lino bagamba nti ekya Uganda okweyingiza mu nsonga ze Sudan n’ebigambo ebyogerwa pulezidenti byolese okussa bannayuganda mu matigga
Wetwogererera nga bannayuganda abasoba mu mitwalo 2 beebakyaali mu South sudan nga bano bali mu bibuga nga Jonglei ne Bor
Omubaka akiikirira Municipaali ye Arua,…
Banka enkulu mu ggwanga erabudde nti okulwanagana mu ggwanga lya South Sudan kwandikosa ebyenfuna bya Uganda.
Akulira banka eno, Emmanuel Mutebile agamba nti emmere Uganda gy’ensindika mu South Sudan ekendedde ate ng’abadde evaamu omusolo oguwera.
Yye akulira eby’okunonyereza ku banka eno, Adam Mugume agamba nti n’ebyobuzimbi byakukosebwa nnyo kubanga bingi ebikozebwa mu ggwanga eryo biva…
Poliisi esabye abakulembeze abasookerwako ku byalo okugiyambako mu kuwandiika abantu abaagala okugyegattako.
Poliisi ku lunaku lwabbalaza yalangirira nga bw’eri mu kuwandiisa abagaala kugyegattako nga bagaala abantu abasoba mu 3000 era nga kino kyakuggwa ng’ennaku z’omwezi 13 omwezi guno.
Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agambye nti abakulembeze b’okubyalo balina okubayambako mu kulondobamu abatuufu abanakuuma emirembe mu ggwanga
Nabakooba akikkatirizza…
Minisitule y’ebyobulamu erangiridde nga distilukiti eziriraanye Napak awabaluse obulwadde bwa Hepatitis E bweziri mu katyabaga k’abazibeeramu okufuna obulwadde bwebumu.
Obulwadde buno bwakatta abantu 13 ate ng’abalala abawera bali ku bitanda
Obulwadde bwa Hepatitis E bukwata kibumba ng’era buva ku bujama
Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti obulwadde buno tebulina ddagala libuwonya mu kadde kano ng’abantu balina…
Omuwendo gw’abantu abanene ennyo mu nsi yonna gweyongedde nga gwekubisizzaamu emirundi kumpi ena.
Abantu kati abanene munsi yonna basoba mu kawumbi akalamba
Okunonyereza kuno kukoleddwa abasawo okuva mu Bungereza nga bazze babala abantu abanene ennyo okuva mu mwaka ogwa 1980.
Kigambibwa okuba nti ku buli bantu basatu b’osanga kubaako omunene ennyo era nga gavumenti ezitali zimu zisabiddwa okussaawo…
Ab’ebyokwerinda okuva mu zi paaka za taxi ez'enjawulo mu Kampala bavudde mu mbeera oluvanyuma lw'okulemesebwa okuyingira ekitebe kya KCCA ku city Hall okusisisnkana omubaka wa presidnti mu kampala Mpimbaza Hashaka.
Bano bagamba baayitibwa RDC Mpimbaza Hashaka okuteesa oluvanyuma lw'okwemulugunya ku b'akakiiko ka KCCA ak'ekiseera abateekebwa mu paaka zino nti beyingiza mu mirimu gyabwe egy’ebyokwerinda.
Bano bagamba babadde…
Ekibuga Kampala mu kiro ekikeseza olunaku lwalero kibutikidwa okubwatuka kw’ebiriroriro, nga bana Uganda baniriza omwaka omujja ogwa 2014.
Amasizizo, wamu n’ebifo ebisanyukirwa,bikubyeko bugule,ng’abantu basanyukira omwaka omujja.
Ebifo omuli ekisaawe ekye Nakivubo, Namboole, Sheraton hotel, Bat valley primary school n’ebirala byebisinze okubeeramu abantu abangi
Abantu abamu balabiddwa ku myaka ga leero nga badda ewaka , kyokka ng'abamu batamidde byansunso.
Ng'ali…