Eby'okwerinda binywezeddwa mu lufula y'eggwanga oluvanyuma lw'ababbi okulumba ssentebe wa Lufula eno ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe nebakulita n'obukadde obusoba mu 10.
Omwogezi wa lufula eno Wilberforce Muteesasira agamba bakakwatako abantu 10 abateberezebwa okuba mu lukwe luno era nga bakuumirwa ku poliisi ya Jinja road.
Agamba bakunze dda abasuubuzi bonna abakolera mu lufula eno okunyweza ebyokwerinda.
Abantu bana bafiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde e kakinzi mu disitulikiti ye Luweero.
Ki loole ekika kya TATA No.UAL 318 B kitomeraganye ne motoka Toyota Premio UAT 561 Q.
Abafudde kuliko Alithum Bruce omusomesa wa yunivasite ye Nkumba , Tonny Kiisa owa banka ya Centenary , Deus Constance omukozi mu kitongole ekiwooza ne John Ssebbaale, abadde…
Poliisi negyebuli kati ekyagumbye mu kisenyi awabadde omuzikiti gwa spidika ogukedde okumenyebwa.
Abayisiraamu mu bitundu by’omu Kisenyi bakeredde mu kiyongobero oluvanyuma lw’abampi n’abawanvu okuyiibwa ku muzikiti guno oguludde nga gukayaanirwa
Abakulira omuzikiti guno n’abagusaaliramu bakaayana n’omugagga John Bosco Muwonge eyafuna ekiragiro kya kkooti ekikkiriza nti omuzikiti guno gumenyebwe
Muwonge agamba nti abaali baddukanya omuzikiti guno beebagumuguza kyokka nebefuula…
Poliisi e Mbarara etandise okubuuliriza ku mukyala ow'emyaka 32 agambibwa okubba omwana.
Grace Kiconco omwana ono kigambibwa nti yamubbye ku mukyala eyabadde yakazaaala nga bamulongoosezza bulongoosa
Amyuka akulira poliisi enonyereza ku buzzi bw'emisnago, Justus Mbaramye agambye nti omukyala ono bamukwatidde Lukaya ngatwala omwana ono era nga abantu abamutudde okumpi bebamwekengedde
Akulira waadi omukyala Kibesigire Scondina yebazizza poliisi nabantu…
Olutaalo mu ggwanga lya South Sudan lukyagenda mu maaso n’okukwajja era nga terutarizza bantu ba bulijjo.
Okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte , abantu abasoba mu lukumi beebakafiira mu kulwana okuli wakati w’amaggye ga gavumentui n’ago agawagira eyai amyuka omukulembeze w’eggwanga lino Riek Machar
Kati akola ku byokwerinda mu gavumenti y’ekisikiriza, Fungaroo Kaps Hassan agaba nti abantu ba…
Mu ggwanga lya China, enkola yaabwe ey’okuzaala omwana omu buli maka etandise okubatabukira.
China yatandika enkola eno mu mwaka gwa 1979 nga teri muntu akkirizibwa ku zaala baana basukka mu omu.
Ekintu kino kyaleetebwa okukendeeza mu muwendo gw’aba china ogwaali gususse obungi kyokka nga kati bikyuuse.
Ng’emyaka gizze gyekulungulula ,abaana abazaalwa batandise okweyombekera olw’obutaba na banyina bwe oba…
Abalwadde mu ddwaliro ekkulu e Mulago bakulya nga balimi ku ssekkukkulu.
Bano bagenda kulya mmere ya njawulo ku lunaku luno okwawukanako n’ebinjanjaalo n’akawunga byebalya bulijjo
Kusaasira agamba nti bagenda kusala ente n’okufuna emmere ey’enjawulo okuliisa abalwadde baabwe
Kusasira agamba nti tebagaala antu baabwe kujula babeere n’ebyokulya ebirungi yadde tebabeere mu maka gaabwe
Banaddiiini basabye gavumenti okwongera amaanyi mu kulwanyisa sirimu omwaka ogujja.
Akulira ekitongole ekigatta banaddiini ekya Inter religious Council Bishop Jonah Lwanga agambye nti obulwadde bwa mukenenya bukyaali bungi era nga bwetaaga maanyi.
Bishop Lwanga agambye nti essira lisaanye kussibwa ku kusomesa bantu ku kuziyizaamu mukenenya, n'abamulina okwerabiriramu okusobola okuwangaala yadde baba n'obulwadde
Mu Uganda abantu obukadde bubiri n'ekitundu…
Ssabasajja kabaka wa Buganda asabye abaganda okwekuuma nga bali bumu.
Mu bubaka bwe obwa sekkukkulu eri Obuganda, ssabasajja agambye nti mu kusoomozebwa okutali kumu, obumu kikulu nnyo.
Obubaka buno ssabassajja kabaka obusundise eri abantu ng'ali ku mukolo gw'okutongoza enyimba za sekukkulu mu bulange emengo
Agambye nti omwaka tegubadde mwangu kyokka nga buli muntu asaanye okusiima omutonzi kuba mulamu.
Abantu babiri kikakasiddwa mu beebafudde ekizimbe bwekiyiise e Mukono.
webuwungeredde nga poliisi yegattiddwaako ekibiina ekiddukirize ekya Redcross okubeera nga bataasa abantu bano abakoseddwa
Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti abantu 7 beebafunye ebiwundu ebya maanyi kyokka nga baddusiddwa mu ddwaliro gyebijjanjabibwa
Ekizimbe ekyayiise kisangibwa ku Shade Gardens e Mukono nga kino kigambibwa okuba nga kibadde kigattibwaako mwaliro…