Bannayuganda abasoba mu 750 beebanunuddwa okuva mu ggwanga lya South Sudan
Abanunuddwa bajjiddwa mu kibuga Bor gyebabadde baagumba ku nkambi y’ekibiina ky’amawanga amagatte
Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti baasi zeeziyambyeeko okusomba abantu bano era nga zakusigala nga zikola kyekimu.
Ono agamba nti bannayugaanda abali mu bifo omuli okulwana bamaze okuweebwa amagezi…
Mu gwanga lya congo agavaayo gooleka nga bwewabaluseewo okulwanagana okw’amaanyi mu kibuga kikulu Kinshasa.
Abayekeera wetwogerera nga bamaze okuwamba TV ne Radio y’eggwanga ,kko n’ekisaawe.
Abavubuka ababakanye n’ebissi omuli n’emmundu bawambye bannamawulire bonna
Bwebatuuse ku kisaawe bakubye amasasi ag’okumukumu era nga bamaze okukyezza
Wabula omwogezi wa poliisi ya Congo agamba nti bano batandise omulimu gw’okubagoba nga tebesiikidde na kanyebwa
Omuwendo gw’abakyala abafuna obuzibu ku nabaana gweyongedde mu disitulikiti ye Kasese
Okusinziira ku Dr John Masinda, omukugu mu nsonga z’abakyala , omuwendo gw’abakyala gwebafuna ennaku zino nga balina obuzibu ku nabaana gulinnye ate ng’abasinga babeera mu mbeera mbi.
Ono agamba nti olunaku lwajjo lwokka, bafunye abakyala 20 bwebassizzaawo enkambi yabakyala mwebekeberezza ku bwereere
Abakyala bangi bafuna obuzibu bwa…
Poliisi ekyaali ku muyiggo gw'abantu abaalumba abakolera mu lufula ya portbell wano mu kampala
Mu lukiiko olutegekeddwa abasuubuzi ,aduumira poliisi ya Jinja road Wesley Nganizi agambye nti bakyafuna obujulizi okuva eri abantu abaaliwo nga tebannasalawo kisembayo .
Ssabiiti ewedde abantu abatannaba kutegerekeka baalumba ssentebe wa lufula eno Abbey Mugumba nebamukuba akatayimbwa n'oluvanyuma nebamubbako ensimbi ezisoba mu bukadde…
Loodimeeya Erias Lukwago agobye abakuumi be.
Obuzibu buvudde ku nsimbi nga takyalina zibayimirizaawo.
Ng'ayogerako eri bannamawulire, Lukwago agambye nti emmotoka abaasirikale bano mwebaali batambulira yafa kyokka olw'agitwaala okugikola n'ewambibwa.
Okuva olwo y'abadde abalabirira ng'akozesa emmotoka ye okubasomba buli ku makya n'akawungeezi kyokka ng'atendewaliddwa olw'obutafuna musaala
Mu ngeri yeemu era abakola mu ofiisi ya loodimeeya okuli n'omuwandiisi we nabo tebasasulwa…
Abagoba ba taxi abakedde okwekalakaasa kyaddaaki bakkakkanye nebadda ku mirimu gyaabwe.
Bano babadde bawakanya y'omuggagga agambibwa okuzimba mu kkubo erifulumya motoka ekikosezza eirimu gyaabwe
Poliisi ne KCCA bamaze nebabiyingiramu era nebasalawo nti obuyumba bumenyebwe
KCCA eragidde nti obuyumba obwogerwaako bwonna bumenyebwe aba taxi bano basobole okukola emirimu
KKampuni ezisoba mu 300 zeezikkiriziddwa okutulisa ebiriroriro okwaniriza omwaka omuggya
Poliisi era ayisizza amateeka amakakali nga teri kuyisa mu ddakiika ttaano ng'ebiriro bino bivuga
Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti bagenda kussaawo abaasirikale baabwe abanabaawo okulaba nti tewabaawo kumenya mateeka
Pulezidenti museveni asabiddwa okussa emikono ku bbago ly'etteeka erivumirira obuli bw'ebisiyaga.
Akulira abasumba b'abalokole, Omutume Dr. Joseph Serwadda agamba nti pulezidenti asaanye okukyusaamu wa w'ayimiridde ku nsonga z'ebbago lino.
Kino kiddiridde pulezidenti museveni okutegeeza ng'okuyisa etteeka lino bwekwayanguyirizibwa mu palamenti Omutume Serwadda agamba nti ebbago lino limaze mu alamenti emyaka 5 era ng'eky'obutetegereza tteeka lino tekisobola kufuuka…
Kyadaaki gavumenti ya china ekirizza abafumbo okuzaala abaana abasukka mwomu.
Etteeka eribaddewo nga buli bafumbo akkirizibwa okuzaala omwana omu yekka nga era okukukwata nga ozaala nga akamyu omalira mabega wa mitayimbwa n'okusasula ngassi.
Olukiiko olufuga ekibiina ekiri mu buyinza ekya National People's Congress lwelukoze enongosereza mu tteeka lino nga kati abafumbo bakkirizibwa okuzaala abaana 2 bokka .
Etteeka…
Ebikumi n’ebikumi by’abantu okuva mu bitundu bye Rwenzori beebeyie mu barracks ze Muhoti mu kuwandiisa abajaasi b'eggye ezizibi mu district ye Kabarole.
Omwogezi w’ekibinja ky'amaggye ekya 305 Lt. Ninsiima Rwemizuma ategezezza nga eggye lya UPDF bweriluubirira okuwandiisa abo abanyuka amaggye, n'ab'okubukiiko obukuuma ebyaalo 130.
Agamba abantu abasoba mu 500 okuva mu distitulikiti okuli Kasese, Kamwenge, Kyegegwa, Kyenjojo,…