Obadde okimanyi nti waliyo abakyala abafuna embuto nga tebegasse na Muntu yenna
Mu ggwangalyaAmerica bannasayansi bagamba nti omu ku bakyala 200 ku bagenda mu malwaliro agamba nti ali lubuto naye nga tamanyi musajja
Abanonyereza bano bakoze okunonyereza ku bavubuka abasoba mu kasanvu era ng’abamu babadde beeyagala okubeera nga bafuna embuto nga mbeerera
Poliisi mu kampala ekutte abantu 2 abagambibwa okuba nga babade babba ebyuuma by’eggaali y’omukka
Amyuka omwogezi wa poliisi Patrick Onyango agamba nti abakwatiddwa ye Julius Biribawo ne Herbert Tumuhimbise.
Agambye nti bano basangiddwa mu kiro nga bakukusa engano mu kyana ky’eggaali y’omukka
Ono agamba nti kati bali ku muyiggo gw’abakuumi ababaddewo kubanga bakizudde nti bekobaanye n’ababbi
Mu kawefube ow’okugogola ekibuga okutemagana, KCCA efunye ebimotoka ebitambuza kasasiro
Minista wa kampala Frank Tumwebaze agambye nti bino byaguliddwa ku nsimbi z’eggwanga eziwerera ddala obwumbi 2
Ono agambye nti ebimotoka bino kuliko ebinyiga kasasiro ate ng’ebirala bbyo bimutambuza
Gavumenti etandise okuddusa bannayuganda abali mu ggwanga lya South Sudan
Omwogezi wa minisistule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti amawulire gebafuna galaga nti bannayuganda 7 beebakakoseddwa era nga babasindikidde enyonyi okubakomyaawo ewaka okufuna obujjanjabi
Ono agamba nti enyonyi zino era zigenda kusomba bannayuganda abalala abali mu bifu ebirimu ennyo okulwanagana
Opolt agasseeko nti ekibinja ky’abakulembeze…
Omwana ow’emyaka 3 agyiridde mu nju.
Jonathan Mukwasi yeeyafiiridde mu muliro ogwakutte enju era nga teyasobodde kulutonda
Ayogerera poliisi mu bitundu bye bulambuli awabadde ekikangabwa kino , Diana Nandawula agamba nti akabenje kano wekagwiriddewo nga maama w’omwana agenze ku kaduuka
Omuliro guno gwavudde ku musubbaawa
Ebbago ly'etteeka erigufuula omusango okulya ebisiyaga liyise
Ebbago lino liddiziddwa mu palamenti olwaleero nerikubaganyizibwaako ebirowoozo era n'oluvanyuma neriyisibwa
Ekiteeso ekiyisa etteeka lino kireeteddwa omubaka Benson Obua nekiwagirwa ababaka abalala abatali bamu
Obua agambye nti ebbago lino lijja kuyamba nnyo okutaasa naddala omujiji omuto oguli mu matigga singa omuze gw'ebisiyaga gukirizibwa
Agasseeko nti ebbago lino liwagirwa bannayuganda abawera era ng'akimanyi…
Bannasayansi okuva mu ggwanga lya America bagezesezza eddgala eriyinza okuyamba abantu okudda obuto.
Eddagala lino lisoose kugezesebwa ku nsolo era nerivaamu ebibala.
Eddagala lino lizza buggya emisuwa ng’owemyaka 60 akyuuka emisuwa negyenkana omuvubuka ow’emyaka 20.
Emisuwa gino wabula yadde gidda buto naye tegyegolola
Bannasayansi bano bagamba nti byebazudde byakubayamba okuzuula eddagala erizza abantu obuggya
Ng’ebula nnaku mbale ssekkukkulu etuuke, abantu abatwalibwa e Mulago nga bakubiddwa obutayimbwa nabo beeyongedde
Mu mwezi gumu gwokka , abalwadde 100 n’omusobyo beebaweebwa ebitanda
Akulira abalongoosa emitwe mu ddwaliro e Mulago, Dr Michael Muhummuza aamba nti abasinga okutwalibwa babeera bagoba ba bodaboda
Mu kawefube ow’okwongera okuwanika omutindo gw’obuyonjo mu ddwaliro, ab’eddwaliro lye Mulago bongezezza ku mirundi gyebalongoosa waadi zaabwe
Eddwaliro lino libadde lirongoosebwa emirundi esatu olunaku kyokka nga kati bakulongoosa buli webalaba akacaafu
Omwogezi w’eddwaliro lino, Enock Kusaasira agama nti abalwadde bagaala beeyagalire mu ddwaliro lino nga libawa emirembe.
Kusaasira agamba nti kino ate tekigenda kukoma ku Christmas nga n’ennaku…
Abakampuni ya baasi eya Pioneer easy baasi kyaddaaki bafunye ku buweerero.
Ekitongole ekiwoza ekya Uganda Revenue authority kibakkirizza okuddamu okusaabaza abantu mu kibuga Kampala oluvanyuma lw’enzikiriziganya ey’okusasula ebbanja ly’omusolo ery’obuwumbi 8 mu bitundutundu mu bbanga lya myaka 2.
Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino , Abdi Salam Waiswa agamba nti aba pioneer bakusasula obukadde obuli wakati we…