Okuyisa ebbago erikugira obusegu mu ggwanga kujjeemu abantu ab'enjawulo omwasi.
Ebbaga lino lyayisiddwa palamenti olunaku olw’eggulo nga lirimu okuwera busikaati obwa mini saako n’okutangaaza ku musango omuntu gwaba azizza bwaba yenyigidde mu kintu ekisasanya buseegu era amateeka gaba galamula gatya ku nsonga eno.
Wabula ye eyali minister w’empisa nobuntubulamu Miria Matembe yemulugunya nti eteeka lino ssi lyabwenkanya…
Okuwulira ogwawaabwa Loodimeeya ng'awakanya ekyokumugoba mu ofiisi kwongezeddwayo okutuusa nga 15th omwezi ogujja
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Martin Mwangusha lutegezezza kooti nti minisita wa kampala Frank Tumwebaze nga ye mujulizi omukulu abadde tali mu ggwanga kale nga tasobodde kutuula naye kwogeraganyaamu ku misango gino.
Lukwago awakanya ebyasalibwawo akakiiko akaali kakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereirwe okumugoba ku bwa loodi meeya nti…
Ekizimbe kiyiise nekibikka abantu abasoba mu 10.
Ekizimbe kino kiri ku Shade Gardens a Mukono
Omubaka akiikirira abantu b'omu kibuga kye Mukono Betty Nambooze agamba ekizimbe kino eky’emyaliiro 2 kiguddemu nekizikiramu abamu.
Ategezezza nga poliisi bw'egezaako okusikayo abakyawagamidde mu bifunfugu nga era abataasiddwa badddusiddwaa mu malwaliro agatali gamu.
Mu ngeri yeemu, ekitongole kya poliisi enzinya mooto kyasindise dda ekibinja…
Abantu abatannaba kutegerekeka muwendo beebabikiddwa ekizimbe mu kibuga kye Mukono
Ekizimbe ekyogerwaako kwekuli ekifo ekirirwaamu ekimanyiddwa nga Shades restuarant and Bar mu kibuga Mukono.
Abaziinya mooto batuuse mu kifo kino okuddukirira
Enteseganya ezibadde zigenda mu maaso wakati wa gavumenti ne Loodi Mayor Erias Lukwago zigudde butaka.
Bino byasanguziddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Parlaiment Nathan Nandala Mafaabi.
Mafaabi agambye nti gavumenti egaanyi okwetema ku nsonga ezitali zimu nga buli kimu esika ezza waayo.
Ono abadde mu palamenti akawungeezi ka leero
Wabula ate yye ssabaminista Amama Mbabazi agambye nti enteseganya zitambula bukwakku…
Parliament olunaku olwaleero eyisizza eteeka eriwera obuseeggu mu ggwanga.
Kati gufuuse musango okutambuza ,okutunda wamu n’okulaba mu lujudde ebifananyi eby’obuseegu.
Etteka lino era liwera okuyingiza wamu n’okufulumya eggwanga ebifaananyi eby’obuseeggu.
Minister w’empisa n’obuntu bulamu Fr Simon Lokodo agambye nti etteeka lino lyakuyamba okutaasa abaana wamu n’abakyala ku mize emisiwuufu omuli okukwata abakazi, okusobya ku baana n’ebirala.
Gavumenti etaddewo ebifo omussibwa bannayuganda abakoseddwa mu kulwanagana okuli e Juba
Abantu abawerako bbo bamaze okudda ewaka ng'abasoba mu mutwaal omulamba bayingidde olunaku lwajjo
Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z'ebweru w'eggwanga, Fred Opolot agamba nti tebannakakasa muwendo gw'abakoseddwa kyokka nga bangi bajjanjabibwa mu malwaliro agatali gamu
Opolot era agamba abakulembeze mu mawanga ga Africa nga bakulembeddwaamu pulezidenti…
Poliisi erabudde ba dereeva abagenda okwekamirira enkangali mu nnaku enkulu ate bamale bavuge , nti baakukwatibwa.
Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr. Steven Kasima , agamba abanakwatibwa bakumala ebbanga erisukka mu wiiki mu buduukulu , kubanga kooti zijja kuba ziwumudde nga ate baba balina okuvunanibwa emisango gy’okumenya amateeka g’okungudo.
Ono akubirizza abantu bonna obutavuga nga batamidde
Ababaka ba palament abakyala nate bazzeemu okusaba okufulumizibwa kwa alipoota ekwata ku muwala eyakakibwa omukwano ng'abakikola bannansi ba Pakistan
Kino kiddiridde ababaka bano okukyalirako omuwala ono agambibwa okuba nga yasuulibwaawo bannabibiina by'obw annakyeewa abaali bakola ku nsonga ze
Omubaka akiikirira ekibuga kye Mbarara Emma Boona atugambye nti tewali kubuusabuusa poliisi esaana etegeeze bana Uganda weetuse mu kunoonyereza…
Okulonda kw’omukulembeze w’ekibiina ky’abanamawulire mu gwanga ekya Uganda journalist association kwongezeddwaayo.
Kiddiridde omu ku babadde beesimbyeewo okwemulugunya ku lukalala lw'abalonzi ng'agamba nti abasinga ssi bannamawulire
Mu ngeri yeemu wabaddewo n'okwemulugunya nti bannamawulire ab'olulango tebabadde ku lukalala lw'abalonzi
Oluvanyuma abeesimbyeewo bonna bakkiriziganyizza nti okulonda kuyimirire okutuusa ng'ensonga zino zikoleddwaako.
Mu kusooka wabaddewo okulwanagana ng'abamu bawakanya eky'obutalonda era okukkakkana nga poliisi…