Eyaliko spiika w'olukiiko lwa Buganda afudde
Dr. Festo Higiro Semajege afudde nkya ya leero.
Omwogezi wa buganda Denis Walusimbi agamba nti owekitiibwa semajege awerezza obuganda okuva ku mulembe gwa ssekabaka muteesa okutuusa ku mulembe omutebi era ng'atumbudde nnyo Obuganda
Tiimu ya Celtic eragiddwa okusasula euro emitwalo 5 ng'ekibonero olw'okutimba ebipande ebyavvodde tiimu ya AC Milan
Ebipande bino byabadde birumba muyizi tasubwa Bobby Sands ne William Walace ng'omupiira gwaabwe ne Ac Milan tegunnatandika
Empaka babadde mu za babinyweera ba bulaaya.
Ekiwandiiko ekyavudde mu UEFA kyategeezezza ng'empisa ensiwuufu bwezabadde zoolese
Abamala gasimba emmotoka wemusanze gano gammwe
Okisika omuguwa wkati w’abazimbi n’omugoba w’emmotoka kuwedde mu bulumi
Byonna bitandise omugoba w’emmotoka bw’asimbye ku kifugi ekibadde kikolebwaako abazimbi bano mu kibuga Belo Horizonte, Brazil.
Ekifugi kino kitera kusimbibwaamu mmotoka ezitundibwa era ng’omusajja akalambidde nga bw’atagenda kugijjawo.
Abazimbi bano tebakayaanye, bwawebatuuse awali emmotoka nebagikuba sseminti era atuuse nakwata ng’emmotoka eno tekyasobola kuvaawo.
Wandikoze ki…
Omulambo gw’eyali omukulembeze w’eggwanga lya South Africa Nelson Mandela gumaze okutuuka ku kisaawe awagenda okubeera emikolo egisiibula omugenzi.
Abategese omukolo gwa leero beebekibiina kya ANC Mandela kyeyatandikawo era nga kino mwemuva n'omukulembeze ali mu ntebe Jacob Zuma.
Abantu abasoba mu mitwaalo ekkumi beebagenze okwerabira ku muziro ono okumala ennaku essatu ezassibwaawo abantu ba bulijjo okumukubako eriiso evvanyuma.
Bangi…
Ab’ekibiina ekikola ku ddagala ekya The National Drug Authority kitandise okukola ebikwekweto okuggala amalwaliro agatatuukagana na mutindo
Obulwaliro obusoba mu kikumi bwebwagaddwa mu bugwanjuba ne mu buva njuba bw’eggwanga
Akulira ekibiina kino, Gordon Ssematiko agamba nti bafubye okulabula bannanyini bulwaliro buno naye nga bafuuyira ndiga mulere
On agamba nti obulwaliro bungi bukyaafu nga bwongera ku bulwadde
Ba dereeva ba Taxi abakolera nmu paaka empya ebintu tebibatambulira bulungi.
Ensonga ssi ndala wabula mmere.
Bano nno abakolera mu paaka empya bukyanga eggulwaawo, abateembeeya eby’okulya bagobwa ate nga tewaliiwo birabo bya mmere
Ayagala okulya aba alina okufuluma mu paaka kyebagamba nti kyabulumi
SSentebe w’ekibiina ekigatta ba dereeva Mustafa Mayambala
Loodimeeya wa kampala agamba nti kikyaamu okuyingiza eby’amaggye mu basirikale ba KCCA
Kino kiddiridde amawulire okufuluma nga galaga nti abasirikale bano batwaliddwa e Bihanga ne Kaweweeta okutendeka mu by’amaggye
Lukwago agamba nti abasirikale ba KCCA bano bagenda kumaliriza nga batulugunya abantu ekintu ekikyaamu.
Amalaboozi agakungubagira abadde sentebe wa FDC mu ggwanga gakyajja
Sam Njuba yafudde olunaku lwajjo mu ddwaliro lye Nsambya gyeyaddusibwa ng’alumwa olubuto.
Njuba abadde munnamateeka omugundiivu kyokka ng’era munnabyabufuzi kayingo.
Omu ku gwebalwana naye mu lutalo l’wamenunula e Luweero, Alhajji Abdul Nadduli agamba nti Njuba yakola nnyo kuleeta emirembe mu ggwanga
Nadduli agambye nti Njuba yakola nyo okuleeta eby’okulwanyisa okuva…
Omuzanyi wa tiimu ya Manchester united Robin Van Persie wakumala omwezi mulumba nga takoona ku ndiba, oluvanyuma lwokufuna obuvune mu kisambi.
Van Persie yafunye obuvudde tiimu ya Manchester united bweyabadde ezanya Shakhtar Donetsk mu kikopo kya champions league.
Abakugu mu by'obulamu bakizudde nti obuteebaka kimala kiviirako abantu okulumwa omutwe.
Omukungu okuva mu minisitule y'ebyobulamu Dr. Isa Makumbi agambye nti omuntu obuteebaka kimala kimuviirako okulumwa omutwe entakera.
Makumbi agambye nti omuntu omulamu erina okwebaka essawa 8 olunaku.
Wabula ono agambye nti okunywa enyo amazzi kiyamba okuweeweeza ku mutwe.