Ssentebe wekibiina kya FDC Sam Kalega Njuba afudde.
Amawulire gano gakasidwa omukulebeze w’okudda oluvuganya gavumenti Nathan Nandala Mafaabi.
Njuba affiridde mu dwaliro e Nsambya gy'abadde ajjanjabibwa .
Eyali president wa FDC Dr. Kiiza Besigye ayogedde ku Njuba ng'abadde omusajja omulwanirizi we Dembe.
Besigye agambye njuba abadde tatiririra mazima era awaddeyo obulamu bwe okulwanirira demokulasiya.
Ssentebe wa FDC mu Buganda Yusuf…
Ssentebe wekibiina kya FDC Sam Kalega Njuba afudde.
Amawulire gano gakasidwa omukulebeze w’okudda oluvuganya gavumenti Nathan Nandala Mafaabi. Njuba affiridde mu dwaliro e Nsambya gy'abadde ajjanjabibwa .
Eyali president wa FDC Dr. Kiiza Besigye ayogedde ku Njuba ng'abadde omusajja omulwanirizi we Dembe.
Besigye agambye njuba abadde tatiririra mazima
Essomero lya Kibuli girls high school liggaddwa
Kiddiridde abakulira essomero lino okwewola obukadde lunaana( 800m) nezibalema okusasula.
Ensimbi zino baziggya mu banka ya Gold Trust
Poliisi ng'ekulembeddwaamu akulira poliisi ya CPS, James Ruhwez asoose kwogerako eri abayizi n'ebasaba okufuluma essomero olwo n'eriggala.
Omwogezi wa banka eno, Aisha Alibhai agamba nti basooka kutuula na bannanyini ssomero lino kyokka nebalema okutuusa…
Essiga eddamuzi litegezezza ng'ekiwandiiko kya kooti ekyaali kiyimiriza olukiiko lwa bakansala olwagoba loodi Meeya bwekyali mu mateeka.
Essiga likakasizza kino mu bbaluwa gyebawandikidde ssabalungamya wa gavumenti mu nsonga z'amateeka nga 12 December 2013.
Omuwandiisi wa kooti ategezezza nti ekiwandiiko kino bwekyafulumizibwa wakati w’essaawa bbiri n'edakiika 45 n’ebbiri nedakiika 58 essaawa ezikkirizibwa mu mateeka okuweerayo ekiwandiiko nga kino.
Agamba…
Poliisi ekedde kuzingako maka ga Dr Aggrey Kiyingi e Buziga lwa bbanja.
Nga ekolera wamu ne bawanyondo ba kooti , bano bakasuse wabweru buli kintu kyonna wakati w’okuwakanyizibwa okuva eri ababadde bagisulamu.
Kino kiddiridde kooti enkulu wano mu kampala okuwa ekiragiro okuwamba enyumba eno olw’ebbanja ly’omukyala Jackeline Diana Asiimwe lya bukadde obusoba mu 70.
Asiimwe agamba yaguza kampuni…
Omusumba William Muwanguzi abangi gwebamanyi nga kiwedde gumusse mu vvi.
Ono asibiddwa emyaka 2 ku misnago gy'okweyita ky'atali
Kigambibwa okuba nti ono ng'asinziira e Kalisiizo Rakai yakuba enkungaana mweyayita okusolooza ensimbi.
Ono wabula emisango gy'okugezaako okutoloka mu kkomera ggyo tegisaliddwa ng'omulamuzi agyongezezzaayo okutuuka omwaka ogujja.
Muwanguzi yayatiikirira nnyo olw'ekigambo kiwedde ng'agamba nti abagenda ewuwe okusaba baba bakwerabira ennaku
Kati abantu abasinga bwebagenda okwetawuluza tebafaayo kusooka kwetegereza wa webagenda kumalira kyetaago kyaabwe.
Mu ggwanga lya Ghana, omusajja Kwabena Nkrumah, aweza egy’obukulu 34, akiguddeko bw'agenze mu kabuyonjo y’olukale okwetawuluza omusota negumubojja obusajja.
Ono akubye omulanga ogutiisizza n'abalala ababade beyambira mu busenge obubadde bumuliranye era kizibu okumanya nti waliwo eyerongosezza
Anti ekyekango tekimanyi muzira.
Ekiteeso ekyokusiima tiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes,kisembezeddwayo okutuuka ku lw'okubiri nga ababaka bonna weebali.
Omukubiriza w'olukiiko olukulu,Rebecca Kadaga ategezezza nga enkyuuka kyuuka eno bw'ekoleddwa okusobozesa ababaka bonna okuli nabo abazanya emizanyo gy'ababaka mu East Africa okubaawo ku lw'okubiri lwa wiiki ejja.
Tiimu Ya She Cranes yawangudde empaka z'amawanga omukaaga okuva munsi yonna ezabadde e Singapore wiiki…
Poliisi mu disitulikiti ye Buhweju ekutte abasajja 2 abagambibwa okukuba omusirikale waayo amasasi nebamutta.
Omuduumizi wa poliisi mu bitundu ebyo Hillary Kulaigye agamba Bosco Byamukama ne Julius Rwesimba nga bonna batuuze be Kibaare cell n’abalala abatannakwatibwa, banyakula emmundu ya John Mwesigye gyebakozesa okumukuba amasasi.
Oluvanyuma lw’okukunyizibwa poliisi bano bakkirizza okuzza omusango guno era bakuggulwako gwa butemu,kko n'okubeera…
Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga apondose.
Akkiriza ssabaminista okusoma ekiwandiiko kya gavumenti eky'okusiima emirimu egyakolebwa Nelson Mandela.
Kadaga yatuuza dda olukiiko luno kyokka nga terwetabwaamu ba minista abaali mu lusirika era okuva olwo gavumenti ebadde eremeddeko ng'eyagala ensonga eno edde mu ddiiro.
Nampala wa gavumenti,Justine Lumumba ategeezezza nga bwebatuuse ku kukkaanya ne Kadaga enkya ya leero era nga…