Disitulikiti okuli Gulu, Wakiso, Mpigi, Amuru ne Jinja z’ezimu ku zisinga okutambuza obulungi emirimu gyazo ku mutendera gwa gavumenti ez’ezebitundu.
Bino bifulumidde mu alipoota mu kunonyereza okwakoleddwa ab’ekibiina ekinonyereza ku by’enkulakulana n’obutonde bw’ensi ekya ACODE era nekizuula nga district ya Agago bwekwebedde mu mpereza y’emirimu.
Ate ku mutendera gw’enkiiko z’ebibuga , Wakiso ne Gulu ze zisinga.
Ate bwekituuse…
Ebyenjigiriza mu ggwanga bikyaali wansi nyo naddala ku mitendera gya egyawansi.
Okusinziira ku alipoota y’omwaka 2012 efulumiziddwa ekibiina kya UWEZO nga kino kikola ku kunonyereza, abaana 90% mu bibiina bya pulayimale ebya wansi okusoma n’okuwandiika bikyabakalubiriza ddala nga kw'otadde n’okubala.
Okunonyereza era kulaze nga abayizi mu masomero g’obwananyini bwebakola obulungi okusinga ku banabwe abasomera mu ga gavumenti.
Mu…
Ebika bya Buganda bisabiddwa okwettanira enkola ya tekinologiya mu kukola emirimu gyabyo.
Okusaba kuno kukoledwa Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga mu kutongoza omukutu gwa yintaneeti ey’ekikka kya Kayozi.
Katikiro agambye nti kino kyakuyamba okumanyisa abantu bikwata ku buwangwa n’enono mu bwangu.
Zo ensimbi ezisoba mu bukadde 30 n’ensawo za cement 200 zeezisondedwa olunaku olwaleero.
Bino webigyidde nga Katikkiro…
Abayeekea ba LRA 19 basazeewo okwewaayo mu mikono gya magye ga UPDF.
Bano babadde wansi w'omu ku baduumuzi b'abayekeera ba LRA amanyiddwa nga Lt Col Obur Nyeko.
Agavaayo gooleka nga bano bwebeewereddeyo mu kitundu ekye Obbo ekisangibwa mu gwanga lya Central African Republic.
Ebewaddeyo bonna bannansi ba Uganda nga kuno kuliko abacholi n’abateeso, nga ku bano kubaddeko n'abaana…
Ekitongole kya Kampala capital city authority kikoze ebikwekweto ku batembeeyi abeyiye ku nguudo okweyolera ku mudidi nga batunda ebyamaguzi mu naku zino enkulu ezikubye koodi .
Bano kati obubudamu babadde babufunye ku mbalaza z’oluguudo lw’enakivubo nga okusinga bano baali bakolera mu katale ka park yard akaggya gyebuvuddeko.
Nga bwebagamba nti akufumbira eyebigere omufumbira yamutwe nemwenkanya evvumbe, abatembeeyi…
Nga tusemberera ennaku enkulu ebisale by’entambula byatandise dda okwekanama.
Abasinze okukosebwa bebakwata olwobugwanjuba bw’eggwanga nga eno mweyongeddemu 5000.
E Fort portal ebisale birinye okuva ku 15000, okutuuka ku 20,000 , e kasese kati 30,000 okuva ku 25,000 nga embeera yemu nabo abagenda e Bundibugyo.
Ebisale bino bikola ku bakozesa baasi za kampuni ya Kalita ne Horizon.
Palamenti ya Uganda olwaleero etudde okusiima emirimu egikoleddwa omugenzi Nelson Mandela
Kino kibaddewo nga tewali na minista yenna
Sipiika Rebecca Kadaga ategeezezza nga bweyafunye okutegeezebwa ekikereezi nti ba minista babadde bali mu kafubo kyokka nga yamaze okuyita ababaka okuteesa
Ekiteeso ekisiima Mandela kireeteddwa akulira abavuganya Nandala Mafaabi nekiwagirwa owe Bunyole Emmanuel Dombo.
Nandala asabye ababaka ne bannabyabufuzi obutakoma kutendereza…
Enkumi n’enkumi z’abantu beebegasse ku bannansi ba South Africa okusbaira omwoyo gw’omugenzi Nelson Mandela
Bano babadde mu kisaawe kya FNB mu kibuga Johannesburg.
Okusaba kuno kwekumu ku mikolo egyakasinga okukungaanya abakulembeze mu myaka gino.
Nelson Mandela yafa ku lunaku lw’okusatu olwa ssabiiti ewedde ng’aweza emyaka 95
Eggwanga lya South Africa lyataddewo ebikujjuko ebitali bimu okukuza okufa kw’eyali omukulembeze ‘weggwanga …
Abantu 5000 abalina obuzibu ku mannyo beebagenda okujjanjabibwa ku bwereere mu nkambi ekubiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago
Enkambi eno etegekeddwa aba Rotary clb Kampala north n’aba NSSF
Akulira essomero ly’abalwadde b’amannyo, Dr Liuos Muwazi agamba nti obuzibu obuzibu bw’amannyo bwa maanyi kyokka nga tebufiiriddwaako
Agamba nti abantu ebitundu 61 ku kikumi balina ebizibu ku manyo gaabwe nga…
Amaggye g’eggwanga gali ku muyiggo gwa musajja waago akubye omuntu wa bulijjo amasasi n’oluvanyuma n’amalamu omusubi
Private Fred Keny asse omugoba wa piki atannategerekeka mannya ku kyaalo Ilihili e Katakwo
Ayogerera ekibinja kya UPDF eky’okusatu, Jimmy Denis Olamala agamba nti obubbi bweyongedde mu nnaku zino ate nga oluusi bwetabwaamu abajaasi mu maggye g’eggwanga
Ono wabula agamba nti baayisizza…