Okuddamu okuwandiisa emmtoka zonna kwongezeddwaayo okumala emyezi esatu
Ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue authority kitegeezezza nti abalina emmotoka babongedde emyezi esatu okubeera nga bazzeemu okufuna empappula ku mmotoka zaabwe.
Okwongezaayo kuno kuddiridde okwemulugunya okuva mu babaka ba palamenti nti abantu bang tebamanyi nti balina okuddamu okuwandiisa emmotoka zaabwe.
Abakungu ba URA nga bakulembeddwaamu Allen Kagina era bagambye nti…
Ebbula ly’abasawo mu dwaliro lye Butabika lizingamiza emirimu.
Akola ng’akulira edwaliro lino Dr.Juliet Nakku agambye nti omuwendo gw’abalwadde ogweyongera buli lukya, ate ng’abasawo batono gutadde edwaliro mu katyabaga.
Dr. Nakku agamba nti wadde nga government yabasubiza okubawa abasawo abalala, wabula kino tekinakolebwa.
Omulamuzi mu kkooti y’eby’obusuubuzi, Henry Odongo agaanye okukkiriza okutegeragana okutuukiddwaako mwana muwala Bad Black n’eyali Muganzi we David Green Halgh.
Ababiri bakkiriziganyizza okujja emisango mu kkooti kyokka ng’omulamuzi agaanye ng’agamba nti omusango guno gwalimu ne Meddie Ssentongo kyokka nga babadde bamutadde ku mabbali
GreenHalg ng’ayita mu bannamateeka be aba Patrick Furah y’ayagala kununula obukadde bwa doola busatu…
Obwakabaka bwa Buganda bulaze ensasaya ey’ensimbi ez’amasiro.
Mu kiseera kino ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 190 bwebyakasondebwa.
Ku buno obukadde 300 bumaze okusasanyizibwa mu kugula ebintu ebyeyambisibwa mu kuzimba buggwe.
Wabula ngawa ensasanya eno Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti waliwo cheque z’abukadde 5 ezabuuka ate ngawaliwo endala obukadde 5 ezadizibwa banyini bazo.
Katikiro era azamu okulabula abakozi…
Abasuubuzi abagenda okukolera mu katale akagya ak’eWandegeya olunaku olwaleero tebalabiseeko mulukiiko olubade lutegekedwa ekitongole kya kcca.
Okusinziira ku Amyuka omwogezi wa kcca Robert Karumba , luno olukiiko lubade lwakukiriziganya kungeri gy’ebagenda okutambuzaamu emirimo gyabwe , kko ne’nsimbi ez’okusasula.
Wabula bano bakanze kulinda basuubuzi nga mpaawo alabikako , bwebatyo nebasalawo okusazaamu olukiiko luno.
Kinajukirwa nti Abasuubuzi bazze beemulugunya kunsimbi…
Katikiro wa Buganda Charlse Peter mayiga yegasse kunsi yonna okulaga okunyorwa olw'okufa kwomuduvau eyasooka okufuga ku gwanga lya South Aafrica Nelson Mandera.
Ono nga ayogerera mulukiiko lwa Buganda olukomekereza omwaka , owek mayiga agambye nti ono abakulembeze bonna mu Africa basaana bamuyigireko okulekalagana .
Katikiro agambye nti abakulembeze mu Africa kkone uganda basaana bayige nti okulekeragana kabonero…
Abatujju bazzeemu buto okwewerera Uganda.
Bano ku luno batunuulidde basundiro ga mafuta n'ebifo ebirimu abantu abangi nga bulijjo
Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti bafunye amawulire agakakasa nti abatujju bano tebatudde.
Nabakooba agamba nti basazeewo okwongera okunyweeza eby'okwerinda mu bifo eby'enjawulo naddala mu biseera by'ennaku enkulu mu bivvuli ebitali bimu
Kino poliisi erabika etandise okukituukiriza nga basajja baayo…
Ab’omu katale ka Paaka ebyaabwe ssi byakuggwa kati.
Ng’amaloboozi ku butuufu bw’akatale kano gajja gavaayo, aba KCCA nabo benyini bakatankana
Omukungu mu KCCA Ndyamuba Ndahendekire agamba nti bakyasisinkana bonna bakikwatakako n’oluvanyuma baveeyo bategeeze webayimiridde
Akatale kano kazze kakwata omuliro era ng’aasuubuzi balumiriza nti waliwo abagaala okubajja ku ttaka lino nga babakikola
Mu ngeri yeemu era n’abaddukanya ekisaawe bategeeza nga…
Empaka z’emizannyo wakati w’ababaka ba palamenti mu mawanga ga East Africa zitandika olunaku lw’enkya
Akulira akakiiko akakola ku nsonga za palamenti Dr. Chris Baryomunsi agamba nti empaka zino ezigenda okumala ssabiiti nnamba zigendereddwaamu kunyikiza nkolagana wakati w’ababaka mu mawanga gano.
Banansi ba South Africa bakungaanidde mu kibuga Johannesburg ne Soweto okukungubagira eyaliko omukulembeze waabwe Nelson Mandela
Mandela yafudde ng’aweza emyaka 95 oluvanyuma lw’okumala ebbanga ng’atawanyizibwa obulwadde bw’amawuggwe
Abantu abatali bamu obwedda bayimba kko n’okuzinira mu maaso g’agaali amaka ga Mandela mu kibuga Soweto
Ono agenda kuzuukibwa mu kikungu nga gavumenti buli kimu y’egend aokukikolako nga omukulembeze w’eggwanga lino…