Abantu bangi beewana okubeera abanene nga bagamba nti bali fiiti era nti tebasobola kulwalwa
Abeewana basaanye okuwulira ku bino
Kati nno abasawo bagamba nti teri bunene bulimu kalungi mu byobulamu
Abasawo bano bagamba nti yadde omunti tabeera na sukaali, pressure kko n’amasavu amatono, era obulamu bwe bubeera mu katyabaga
Abasawo okukakasa kino bakoze okunonyereza ku bantu emitwalo 6.
Abantu bano…
Obwa Kabaka bwa Buganda busaasidde abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi abafiridwa emaali yabwe mu muliro ogukutte akatale mu kiro ekikeseza olwalero.
Katikiro Charles Peter Mayiga wano wasinzidde nasaba polisi okufulumya alipoota ku muliro ogw’emirundi 2, ogwasoka okukwatta akatale kano.
Mayiga era asabye okunonyereza okwamangu okukolebwa, okusobola okukakanya emitima gy’abasubuzi.
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akyagaaniddwa okufuluma amaka ge.
N'olwaleero poliisi ekyagumbye mu maka ge yadde ng'ate poliisi yeemu yaseetuuse okuva ewa Lukwago.
Dr Kiiza Besigye agamba nti abantu bano bamumazeeko emirembe ate ng'alina n'okukola emirimu gye okuyimirizaawo ab'omu maka ge.
Ababaka ba FDC nga bakulembeddwaamu akulira abavuganya Nathan Mafaabi bakyaliddeko Besigye mu maka ge…
Gavumenti ewaddeyo akawumbi kamu okuddukirira abasuubuzi ba paakayaadi abafiiriddwa emmaali yaabwe
Obubaka buno bwetikkiddwa minisita akola ku by'owkerinda, Dr Crispus Kiyonga bw'abadde akyaddeko mu katale.
Kiyonga agambye nti ensimbi zino zakuweebwa abasuubuzi nga ziyita mu bakulembeze baabwe okuziyiza okulwana kwonna.
Kiyonga agamba nti gavumenti yakutuula n'abantu bano okutegeragana ku ngeri y'okugabamu ensimbi zino.
Yye minisita akola ku byobukuumi, Muruuli…
Buli Muntu kati yekalakaasa nga n'ababaka ba palamenti nabo tebalutumidde mwana olw'obutaba nawebasimba mmotoka zaabwe.
Bano basazeewo kwekalakaasa nga bawakanya eky'obutaba nawebasimba mmotoka.
Ababaka okuli Steven Ochola , Roland Mugume n'abalala bakooye okweva obusente bwaabwe nga basasula ew'okusimba emmotoka zaabwe sso nga presidenti Museveni yaggulawo ekifo gaggadde webasobola okusimba emmotoka zaabwe.
Ekibiina ekiddukirize ekya Redcross kigamba nti kikoze ku bantu 81
Omwogezi w’ekibiina kino Catherine Ntabadde agamba nti 28 babongeddeyo mu ddwaliro e Mulago ate 53 bbo babadde bazirise lwa tiyagaasi nga bateredde
Ntabadde agambye nti abantu bano babadde n’ebiwundu by’amasasi, ebiwundu by’amayinja, okuzirika n’ababadde bazimbye omubiri
E Mulago abantu mukaaga beebali ku bitanda oluvanyuma lw’okukubwa amasasi g’ebipiira ne…
Omuliro guzzeemu okukwata akatale ka paakayaadi .
Omuliro guno gutandise nga ku ssaawa kkumi ku makya .
Poliisi enziinya mooto etuuse mu kitundu kyokka nga tewabaddeewo kyakutaasa.
Abasuubuzi abalabiddwaako nga bakuba emiranga beewunise ate abalala balwana kulaba nga bataasa akatono akasigalidde
Yyo poliisi ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula mu abasuubuzi basuubuzi abagezaako okutaasa emmaali yaabwe era babiri beebakoseddwa
Sipiika omukyala Rebecca Kadaga alagidde abasirikale ba poliisi okwamuka amaka ga Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago
Kadaga agambye nti kikyaamu okugumba mu maka g'omuntu kubanga kirinyirira eddembe ly'omuntu.
Ekiragiro kya Kadaga kiddiridde okwemulugunya okuva eri ababaka ba palamenti abatali bamu nga bakulembeddwaamu akulira abavuganya Nandala Mafaabi
YYe ssabaminista w'eggwanga Amama Mbabazi asuubizza okunonyereza ku nsonga eno.
Kati ssabiiti…
Ababaka mu kibiina kya NRM bawagidde gavumenti ku nsonag za KCCA
Bino babisaliddewo mu kabondo k'ababaka ba NRM akatudde olunaku lwaleero.
Gavumenti yasalawo obutakkiririza mu kiragiro kya Kooti ekikkiriza nti Lukwago ye Loodimeeya nga bagamba nti ekiragiro kino kyayisibwa mu bukyaamu.
Wabula bboa bavuganya nga bakuelmbeddwaamu omubaka Betty Nambooze Bakireke bagamba nti kuno kukootakoota mu ga lumonde kubanga…
Ssenkagale wa poliisi Gen Kale Kaihura bumukalidde ku mimwa bwakakiddwa okukuba ekilayiro maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku Dembe ly’obuntu oluvanyuma lwokwegana ebya poliisi okutulugunya munamateka wa Loodi Meeya Abdullah Kiwanuka.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano nga bakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko kano Jovah Kamateeka basazeewo Kayihura alayire nga bagamba nti abadde atandise okubalimba.
Ababaka tebasoose kuwera nga kibadde…