Abamu ku babaka ba parliament basanyukidde ekiteeso ky’omukulembeze w’eggwanga okuteesa ne bannabyabufuzi abavuganya gavumenti mu kibuga Kampala.
President Museveni, bweyabadde ayogerako n’abatuuze mu district ye Lwengo, yagambye nti mwegetefu okuteesa ne Lukwago ne banne okuleetawo emirembe mu kibuga.
Ababaka okuli Julius Junjura,Patrick Nsanja ne David Bahati bagambye enteseganya zino zetaagisa mangu ddala olw’embeera eri mu kibuga.
Minister wa Kampala Frank Tumwebaze alagidde ekitongole kya Kcca okuddamu okukakkalabya emirimu gyaakyo.
Kino kiddiridde akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okuyimiriza emirimu gy’ekitongole, ng’agamba nti abakozi ba KCCA babadde batulugunyizibwa abawagizi ba Lukwago.
Frank Tumwebaze agambye nti bamaze okufuna obukuumi obumala eri abakozi ba KCCA.
Ye Ssabawolereza wa Government Peter Nyombi asisinzidde mu lukungaana lwerumu, nategeeza nti ekyasaliddwaawo…
Kampala capital city authority egaddewo.
Abakozi bonna ssibakuddamu kukola mirimu okuva olunaku lw’enkya
Kino akyogedde y’akulira abakozi mu Kampala Jennifer Musisi.
Ono agamba nti abakozi baabwe batiisibwatiisibwa nga bakola at enga tebasobola kubawa bukuumi.
Ng’ayogerako eri bannamawulire akawungeezi ka leero, Musisi agambye nti bakusigala nga tebakola okutuusa ng’omuyaga gw’eby’obufuzi bikkakkanye
Abapoliisi abaatulugunya eyali omukozi wa Mukwano gubasse mu vvi
Akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa nga kakulemberwa Joseph Ongom kategeezezza nti ebikolwa bya ba poliisi bano bimenya mateeka era bibavumaganya.
Aboogerwaako kuliko ASP Asbos Okumu, Corporal Odongo, Patrick Muwonge ne Lwanga Arafati.
Bano batulugunya Kasimu Suuna bweyali agenze okubanja ensimbi ze.
Akakiiko kasazeewo nti abasirikale bagobwe mu poliisi.
Mu bagobeddwa kuliko…
Gavumenti etegeezezza nga bw'egenda okujulira ebivudde mu kooti nga bikakasa Erias Lukwago nga loodimeeya.
Kooti enkulu olunaku lwaleero ekirizza okuyimiriza eby’okussa mu nkola ebiri mu alipoota eyagoba Lukwago okutuusa ng’okwemulugunya kwe mu bulambalamba.
WAbula ekiwandiiko ekivudde ku kitebe kya gavumenti ekya mauwlire ekya Media center kitegeeza nga gavumenti bw’ekyebuuza ku ssabawolereza okulaba engeri y’okukwatamu ensonga.
Bino bizze nga…
Loodimeeya wa kampala Erias Lukwago aweze nti olutalo olw'okulwanirira entebe ye ey’obwa loodi Meeya lutandika butandisi.
Kino kiddiridde kooti enkulu okuyisa ekiragiro ekiyimiriza okussa mu nkola ebyasalibwaawo akakiiko akaali kanonyereza ku loodimeeya.
Omulamuzi Yasin Nyanzi era alagidde gavumenti esasule Lukwago ssente ze zonna z’asasanyizza mu kuwaaba omusango guno .
Omulamuzi era ategeezezza nti okuva bwekiri nti Lukwago Mukozi…
Embuyaga ekedde okukunta etikudde akasolya k’eddwaliro lya lya Health Centre iv nereka akasenge omuli abakyala b’embuto abasoba mu 40 nga bali mu kyangaala.
Eddwaliro erikoseddwa lisangibwa Ntoroko mu bugwanjuba bw'eggwanga.
Abakyala bano beegamye ku mbalaza nga ab’ekitongole ky’omusalaba omumyuufu okuva e Bundibugyo bayitiddwa dda okutaasa abakyala bano.
Ekibinja kyatandise dda okuzimba weema abakyala bano basulemu.
Abakulembeze ba District wowulirira…
Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akabadde ku kisaawe e Brazil.
Ekisaawe kino kimanyiddwa nga Sao Paulo nga kino kyekigenda okubaamu omupiira ogunaggulawo empaka z’ekikopo ky’ensi yonna
Omu ku baddukirize abayitiddwa okutaasa abantu agambye nti ekisaawe kino ekiri mu kuzimbibwa okutuukagana n’omutindo wa FIFA kiyiseemu nekibikka ababadde wansi
Eggwanga lya Brazil likkirizza okuba nga likubirira okulaba ntu ebisaawe byonna…
Omusajja anywedde n'agangayira akubidde poliisi essimu lwa mukazi kumufulutiira mu matu
Ono yagenze mu bbaala okunywaamu, gyeyasanze ekijujuulu era n'alonda ekkubo ng'enjogera y'ennaku zino bweri.
Bagenze bombi ewaka kyokka ekiro yabuliddwa ekiro olw'omuwala okufuluuta ng'omuwendule era asazeewo okukubira poliisi essimu.
Ono asoose kwegaana kumanya muwala ono kyokka nga waliwo abamulumirizza nti omuwala yabadde amujje mu bbaala
Poliisi emaze n'egenda…
Omukyala aguze ebijanjalo ebibisi kimuweddeko bw’asazeemu omutwe gw’omusota ogufudde
Omukyala ono bweyaguze ebijanjaalo yabituusiriza mu firiigi kyokka nga atuuse akaseera k’okufumba kwekubiyiwa mu kibakuli
Ono asoose kulowooza nti kijanjaalo kyekyakula kyokka ng’okukyetegereza agenze okukakasa nti mutwe gwa musota kubanga gubaddeko enswiiriri n’amaaso kko n’omumwa.
Omukyala ono avuze butereevu okuzzaayo ebijanjalo bino kyokka nga bakabitunda betonze nebasuubiz aokunonyereza