Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abe Bukanga balonze omubaka

Okubala obululu kutandise e Bukanga awabadde okulonda olunaku lwaleero Abantu beettanidde nnyo okulonda naddala mu biseera by’olweggulo Okulonda kuno kwatataganyeemu ku makya olw’enkuba empitirivu eyatonnye kyokka nga bw’ekedde abantu nebeyunira okulonda Abantu bataano beebasimbyeewo nga kuno kuliko Nathan Byanyima eyesimbyeewo ku bubwe Owa DP Shafique Dembe,owa NRM Stephen Kangwagye, Ham Tumusiime-naye ali ku lulwe ne Tito Turiyo owa FDC Okulonda…

Read More

Bannamawulire 3 bakwatiddwa, omu ayimbuddwa

  Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire, Mulindwa Mukasa akwatiddwa Ono abadde ku poliisi ye wandegeya gy’abadde agenze okukola amawulire ku bannamawulire abalala ababiri abakwatiddwa nebaggalirwa ku poliisi ye wandegeya Kuno kwekubadde Halima Athumani owa Uganda Radio network  ne omugagga Kamagu owa Top Radio Omugagga Kamagu yeeyasoose okukwatibwa n’aggalirwa ku poliisi ye wandegeya ate nga yye Halima akwatiddwa bw’abadde akola…

Read More

Ababaka ba palamenti batabuse

  Ababaka ba palamenti abava ku ludda oluvuganya gavumenti, abataliiko luuyi n’abagobwa mu NRM basabye bannayuganda obutassa kitiibwa mu by’okugoba loodimeeya. Nga boogerako eri bannamawulire, ababaka bano bagambye nti ku lw’okutaano lwa ssabiiti eno, bagenda kuwerekera loodimeeya okudda mu ofiisi ye kubanga agirimu mu mateeka. Nampala w’abavuganya omubaka Winifred Kiiza agamba nti olukiiko olwagobye Lukwago lumenya mateeka era…

Read More

Abe Kasokoso ssibakusengulwa

  Gavumenti eyongedde okukubagana empawa ku nsonga ze Kasokoso Yadde gavumenti yeemu ebadde yakavaayo okutegeeza ng’ababeera e kasokoso bwebaliyo mu bukyaami ate kati minista w’ettaka Daudi Migereko agamba nti abantu bano tebagenda kusengulwa Minista Migereko agamba nti kyebagenda okukola kwekuzimba amayumba ag’ensimbi ensaamusaamu abantu basasula okugayingira. Migereko agamba nti kino kikolebwa okusitula ekifo kino

Read More

Abantu bajja bakendeeza ku mirundi gyebegatta

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ebirowoozo bya ssente bivuddeko abantu bangi obutayoya kwegatta na baganzi baabwe Kigambibwa okuba ng’abantu bangi abali wakati w’emyaka 16 ne 44 tebegatta na kuweza mirundi 5 mu mwezi. Bangi ku bano olw’okubeera n’ebirowoozo bya ssente emitima gifiira ddala neberabira baganzi baabwe Wabula ate era abanonyereza bagamba nti n’emikutu gy’empuliziganya gikoze kyamaanyi okukendeeza emirundi abantu…

Read More

Omwana aliira mu kapiira

Endwadde teziggwa mu nsi era nga lwakukutte emirembe gikuggwaako Kati ono mwana wa myaka 5 naye bukyanga azaalwa aliira mu kapiira Omwana ono yalina ebizibu ebiwerako ku bitundu bye eby’ekyama Maama w’akaana kano, agamba nti embeera ya muwala we yeeyongedde okutabuka ate nga ne ssente zimuweddeko Omukyala ono asaba buyambi.

Read More

Minista yeddiza emirimu gya loodimeeya

  Minisita wa Kampala, Frank Tumwebaze yeddiza emirimu gya loodimeeya. Omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti Lukwago takyaali loodimeeya era ng'alagiddwa okuzza ebintu byonna by'abadde akozesa okukola emirimu. Agamba nti bamutegeeza dda ku nsonga eno kyokka nga tannabaddamu. Ba kansala 29 olunaku lwajjo beebasazeewo okugoba loodimeeya mu lukiiko olwakubiriziddwa minista yoomu Frank Tumwebaze yadde nga kooti yabadde eruyimirizza

Read More

Embeera mu Kibuga ya bunkenke

Embeera mu kibuga ya kimpowoooze yadde nga yyo poliisi eri buli wamu. Mu katale ke wa Kisekka, abasuubuzi gyebeekalakasizza olunaku lwajjo ,abasuubuzi bali ku mirimu gyaabwe era nga buli kimu kirungi Omusasi waffe Herbert Zziwa ayiseeko mu katale kano agamba nti abasuubuzi bangi wabula bagamba nti ssibasnayufu nti omuntu wgebelondera yamamuddwa ku ntebe Okuddako ku kitebe kya KCCA…

Read More

DP yakugoba ba kansala abagobye Lukwago

         Ba kansala ba DP abawagidde eky'okugoba loodimeeya nabo bakugobwa mu kibiina. Ssabawandiisi w'ekibiina kino, Matia Nsubuga agamba nti ekibiina kyalonda Erias Lukwago okukulembera ekibuga era nga oyo yenna eyakiwakanyizza wakuvunaanibwa. Nsubuga agamba nti amateeka g'ekibiina matangaavu ku bantu abavvoola ekibiina nebalwanisa owaabwe era nga bano baali babalabula dda ku nneyisa y'okulwanyisa Loodimeeya. Yye omubaka we kalungu mu bugwanjuba,…

Read More

Abatooro beekalakaasizza

Ekibinja ky'abantu okuva mu bukama bwe Tooro olwaleero kizinze kooti etaputa ssemateeka nga kyekalakaasa lw'amawulire agafuluma ku mubejja waabwe gebagamba nti gamulengezza Ekibinja kino kibadde kikutte ebipande ebisaba nti empappula z'amawulire zikome okuwandiisa ebikyaamu ku mumbejja waabwe , bamuwe ekitiibwa kye Bano bagaala gavumenti ekangavvule emikutu gy'amawulire gyonna egiwandiika ebyanjwanjwa ku Komuntale. Okwekalakaasa kuno kuzze mu kiseera ng'okuwulira…

Read More