Akakiiko akakola ku by’okulonda katandise okukola ku by’okulonda kwa loodimeeya
Kiddiridde akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okubawandiikira ng’abetegeeza ng’ekifo kino bwekiri ekikalu
Omwogezi w’akakiiko akalondesa, Jotham Taremwa agamba nti etteeka libawa emyezi mukaaga okubeera nga bategese okulonda.
Bbo ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagaala ba ofiisa ba poliisi abaatulugunya abantu ku bbalaza nga loodimeeya agobwa babonerezebebwe.
Ababaka Safia…
Kkampuni ezitunda eddagala zigamba nti zifiiriddwa ensimbi mpitirivu oluvanyuma lwa gavumenti okuyimiriza okutunda eddagala mu bikebe.
Akulira abatunzi b’eddagala mu kkampuni ya Kampala pharmaceuticals Uganda Limited Nazeem Mohamad agamba nti okussa eddagala mu buveera kwebakubisanya amanya g’eddagala lino kwa buseere nnyo.
Mohammed agamba nti n’amawanga agaliraanye Uganda agaagula nga wano eddagala tegakyakikola kubanga eddagala lyalinnya ebbeeyi.
Ono agamba…
Ebibiina by’obwannakyeewa ng’amakanda gabissa mu by’obulamu biwanjagidde eggwanga lya China okwongera ensimbi mu lutalo ku bulwadde bwa mukenenya.
Bano bagamba nti China essizza ensimbi nyingi nnyo mu nguudo nga kati bagala ate etunuulire ebyobulamu.
Omukungu mu kibiina kya AIDS Healthcare foundation Alice Kayongo agamba nti China ggwanga ddene nnyo era nga lisobola okubaako nekyerikola ku lutalo lwa…
Kamala byonna wa Buganda oweekitiibwa Charles Peter Mayiga avuddemu omwaasi ku nsonga za kampala.
Katikkiro Mayiga agamba nti kikyaamu okuyisa olugaayu mu nsonga z’amateeka
Katikkiro agamba nti bino byonna biyinza okuvaako obunkenke mu kibuga awatali nsonga eri awo.
Bino Katikkiro abyogedde bw’abadde mu lusiisira lw’okusonderako ensimbi z’amasiro
Bbo abagoba ba Bodaboda olunaku lwaleero bakyalidde loodimeeya nebamubuuzaako kko n'okumusondera ensimbi…
Abantu abalina obulwadde bwa mukenenya ate nga banywa sigala bakendeeza obulamu bwaabwe era nga tebasobola kuwangaala nga banaabwe abatamunywa.
Akulira ekibiina ekirwanyisa omuze gw’okunywa sigala, Gilbert Muyimbi agamba nti sigala ono anyway omuntu n’abeera ng’awewuka ekinafuya omubiri gwe olwo n’endwadde endala nezimulumba.
Ono era asabye abanywi ba sigala okufuba okukomya omuze guno bwebaba nga bakuwangaala
Poliisi e Luweero ekutte abakulira amasomero 2 lwakubbira bayizi bigezo bya kibiina ky'omusanvu. Abakwatidwa kuliko Hadijah Namatovu Owa Ntumwa primary school, Ne Siraje Ssegujja owa Nsaasi UMEA primary school. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi atugambye nti bakizudde nti omukyala Namatovu yafuna abayizi okuva ku somero lya Katikamu SDA nebakolera abayizi ba pulayimale ebibuuzo…
Tiimu ya Uganda cranes olwaeero lwetandika okulwana okwedizza ekikopo kyayo ekya Cecafa nga egulawo ne Amavubi stars aba Rwanda.
Uganda eri mu kibinja C with Rwanda, Sudan and Eritrea.
Tiimu 12 zeezivuganya okuwangula emitwalo gya dola 10 egigenda okugabanibwa tiimu esatu ezinanywa mu zinaazo akendo.
Emipiira gino gyakuzanyibwa mu Kenya, Mombasa, Kisumu ne Machakos.
Munna NRM Stephen Kangwagye ye mubaka wa palamenti omuggya owe bukanga.
Ono awangudde gwebabadde basinga okuba mu lwokaano, Nathan Byanyima n'obululu 18,204 ate ye Byanyima n'afuna obululu.
Eyakulembeddemu okulonda kuno, Richard Twikirize agamba nti obululu obwafudde bwabadde busoba mu 1200.
Omu ku balondodde okulonda kuno okuva mu kibiina kya Citizen’s Coalition for Electoral Democracy Chrispy Kaheru eky'obululu obungi obufu…
Ebibiina ebivuganya gavumenti byegasse mu kulwanira entebe y'obwa loodimeeya
Mu kiwandiiko kyebifulumizza, abakulira ebibiina bino bategeezezza nga bakukozesa amakubo gonna okulaba nti Erias Lukwago adda mu ntebe
Abakulembeze bano okubadde, John Ken Lukyamuzi wa CP, Asuman Basalirwa owa Jeema, Olara Otunnu owa UPC ne Gen Mugisha Muntu owa FDC basabye bannakampala obutaggwaamu maanyi.
Asomye ekiwandiiko kino Gen Mugisha…
Omuvubuka abadde yabula okuva ewaka okumala ebbanga kimuweddeko bw’asanze bakadde be nga bali ku malaalo bamusabira
Bakadde be baali bamanyi nti yafa oluvanyuma lw’okuweebwa omulambo gw’omuvubuka gwebasanga ku kkubo ng’atandise okuvunda ate nga mu biseera ebyo owaabwe yali yamubula era baziikamu oyo
Okuva olwo babadde baleetaganga ebimuli nebabissa ku malaalo ge era nga nakati kyebabadde bakola
Omuvubuka ono…