Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bavumiridde engeri poliisi gyeyakuttemu abantu ababadde bawakanya olukiiko olwagobye loodi meeya Erias Lukwago.
Okusinzira ku mulabirizi eyawumula era mulwanirizi w’eddembe ly’obuntu kayingo Zac Niringiye obukambwe obwakozeseddwa bwabadde tebwetagisa.
Abantu ab'enjawulo nga muno mwemwabadde ababaka ba palamenti ne banamateeka baasikiddwa amataayi nga bagezako okuyingira ku kitebe kya KCCA okulemesa olukiiko luno.
Niringiye agamba mu kifo kyokukozesa…
Loodimeeya w’ekibuga Erias Lukwago akyalina omukisa okujulira ebisaliddwaawo ba kansala okumugoba mu ntebe
Ayogerera akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti Everlyne Anite agamba nti ekisaliddwaawo ba kansala kiri mu mateeka kyokka ng’amateeka geegamu gawa Lukwago akakisa akwewozaako.
Anite agambye nti minista wa kampala ne bakansala babadde bagoberera mateeka era nga tebalina kikyaamu kyebakoze
Ono agamba nti buli omu…
Eyaliakulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa.
Ono akwatiddwa bw'abadde ali ku poliisi ye Kasangati gy'agenze okukola sitatimenti ku by'obumutulugunya ssabiiti ewedde.
Akulira poliisi e Kasangati, y'alagidde abadde ajja ku Besigye statimenti okukikomya kubanga talina buyinza bukikola
Ono olumaze poliisi emukasuse mu kamotoka kaayo akavuze nga koolekera Naggalama gy'aggaliddwa
Abasuubuzi mu katale ka Kisekka bazzeemu okwekaalakasa nga bawakanya eby'okugoba loodimeeya.
Bano bagamba nti tebagenda kukkiriza muntu yenna mulala kubafuga kubanga balonda Erias Lukwago.
Poliisi evuddeyo mangu n'ekuba omukka ogubalagala era mu kadde kano akatale kagaddwa
Bbo abantu basatu balumiziddwa mu kulwanagana wakati wa poliisi n'abawagizi ba loodimeeya era nga baddusiddwa mu ddwaliro nga batonnya musaayi.
Mu balumiziddwa kuliko…
Erias Lukwago agobeddwa ku bwa loodi meeya.
Mu lukiiko lwa bakansala olutudde ku kitebe kya KCCA , ba kansala 29 basazeewo Lukwago agobwe ku bwaloodi meeya.
Mu lukiiko olukubiriziddwa minister wa kampala Frank Tumwebaze n'akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi, bakansala bano bategezezza nga ddala Lukwago emirimu bwegyamulemye nga ne ofiisi ye yagikozesa bubi kale nga asaana akwatemu…
Omukulembeze w’egwanga Yoweri Museveni asabye abaana b'amasomero okwewala ebikolwa eby’obukaba nga bakyali bato.
Museveni agamba nti ebikolwa bino biviirideko abaana okufuna embuto nga bakyali bato wamu n’okukwatibwa siriimu ekibavirako okuva mu masomero.
Museveni agambye nti abaana balina okweyisa obulungi, olwo basobole okutangaza ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Okunonyereza okwakolebwa ekitongole kya National HIV Prevention Strategy kulaga nti ebikolwa eby’obukaba naddala…
Loodimeeya w'ekibuga Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nga bw'atagenda kukkiriza kwetaba mu lukiiko olwayitiddwa ku lunaku lwa bbalaza
Ng'ayogerera ku kitanda mu ddwaliro lya Nsambya gen Clinic, Lukwgao agambye nti olukiiko lwayitiddwa kupapiriza kulemesa binaava mu kooti ekintu ekikyaamu.
Lukwago abadde alina okulabikako mu lukiiko luno okwewozaako ku byafulumira mu alipoota eyakolebwa omulamuzi Catherine Bamugemereirwe ng'emuvunaanina okulemererwa emirimu…
Omukubiriza w'olukiiko lw'egwanga Rebecca Kadaga asuubizza nga gavumenti bw'ekola kyonna ekisoboka okufunira tiimu y'eggwanga ey'okubaka ensimbi ezigenda okubatwala e Singapore.
Bano balina okwetaba mu mpaka z'amawanga omukaaga omwezi gujja.
Spiika bino abyogeredde Namboole oluvanyuma lw'okuzanya omupiira ogw'omukwano ne tiimu eno.
Tiimu y'eggwanga ewutudde eya babaka abakyala bakiise 71- nga bbo balina 16.
Abamu ku babaka abazanye kuliko, Winnie Kiiza,Brenda…
Olukiiko olugenda okukubaganya ebirowoozo ku alipoota ayakolebwa ng’esingisa loodimeeya emisango gy’okulemererwa okukola emirimu gye lwa mande
Minista wa kampala, Frank Tumwebaze y’ayise olukiiko luno .
Tumwebaze atutegeezezza nti mu lukiiko luno, agenda kwanja abiri mu alipoota kansala babeere nga babikubaganyaako ebirowoozo.
Tumwebaze agamba nti mu lukiiko luno, loodimeeya agenda kuweebwa omukisa
Wabula yye loodimeeya agamba nti luno lukwe olutuukiriza…
Abakola ebyamagero tebaggwa mu nsi
Omusajja enzaalwa ye China okutambula kumusingira okudduka
Ono kati awezezza emyaaka etaano ng’atambula
Ono nno yali mukungu mu gavumenti kyokka n’alekulir aera okuva olwo yatandika okutambula ng’ava kyaalo ku kyaalo ku bigere era kati myaka 10 ng’akola.
Ono atambula n’ensawo entono gy’assa ku mugongo, camera ne bendera y’eggwanga lye
Buli gy’ayita abantu bamwegattako nabo nebatambula…