Palamenti eyisizza ekiteeso ekisaba nti gavumenti ebeeko ky’ekolera omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa Hepatitis B mu ggwanga ogweyongedde.
Obulwadde buno bukwata kibumba era nga busenkenya mpola omuntu okutuusa lw’afa.
Ekiteeso ekikola okusaba kuno kireeteddwa omubaka omukyala owe Kyenjojo, Linda Timbigamba agambye nti obulwadde buno businga n’obwa mukenenya okubeera obw’obulabe kyokka nga tebufiiriddwaako
Ono agamba nti gavumenti esaanye okutandika…
Abasawo abalongoosa abantu mu ddwaliro ekkulu e Mulago balaze okutya olw’abantu abakubwa obutayimbwa buli lukya okweyongera
Akulira abasawo bano, Dr. Michael Muhumuza agamba nti bafuna abantu abali wakati w’abataano n'ekkumi buli lunaku nga bakubiddwa obutayimbwa
Dr.Muhumuza agamba nti abasinga baba bakoseddwa nnyo ku mitwe ekikosa obwongo bwaawe
Richard Arinaitwe nga ono abadde ku gwa kufa awonye akalabba oluvanyuma lwa kkooti okumukendereza ku kibonerezo nga kati wakusibwa mayisa.
Ono nga yali muyizi wa yunivasite ye Makererere yakkakkana ku bantu 3 n'abatta ate bweyatwalibwa mu kooti n'agwa omulamuzi mu malaka.
Omulamuzi wa kooti enkulu Joseph Mulangira ategezezza nti yadde nga Alinaitwe talaze kwetowaza kwonna bukyanga akwatibwa,…
Emirimu gisanyaladde ku luguudo lwa Duster Street kumpi ne bank ya Cairo international bank oluvanyuma lwa poliisi okusalako eyali senkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye
Besigye ategezezza nga bwabadde ayolekera Nsambya ku mirimu gye.
Ono poliisi emaze n'emuwerekera okutuuka e Nsambya ku ssundiro lye ery'amafuta gy'ali mu kukola emirimu gye.
Poliisi esazeewo kugumba bweru kyokka ng'abantu bongera kweyiwa…
Oluvanyuma lwabayimbi okwongera okwekubira enduulu olwobutafuna mu music wabwe olwabasala enyimba zabwe, ekitongole ekikola ku kuwandiisa bizinensi wano mu ggwanga kitegezezza nga bwekigenda okuteekawo ekitongole kya poliisi ekyokukwata abo bonna abooza mu nyimba z’abayimbi bano.
Akuliramu okuwandiisa mu kitongole kino BemanyaTwebaze agamba poliisi yakulondoola abasala mu nyimba zino.
Amaaso egenda kugasimba ku basala CD abazisasanya eri abaguzi…
Omuwendo gw’abantu abalina mukenenya naye nga balina n’akafuba gulese abakulembeze nga banyeenya mitwe
Kigambibwa okuba nti ebitundu 50 ku kikumi ku bantu bano balina akafuba
Ab’ekibiina ekigatta abakyala abalina obulwadde bwa mukenenya bagamba nti ku bano ebitundu 45 ku kikumi bokka beebafuna obujjanjabi nga guno omuwendo mutono nnyo.
Omukulu mu kibiina kino Dorothy Namutamba kino akitadde ku bbula…
Poliisi ezzeemu okukwata eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye ne loodimeeya Erias Lukwago
Bano babadde bayimbuddwa kooti oluvanyuma lw’okuggulwaako emisnago gy’okukuma mu bantu omuliro
Bano babakutte batuuka ku kkanisa ya KPC era poliisi n'ebazingako oluvanyuma lw'okukuba omukka ogubalagala
Wabula bano nga bakava mu kkomera baweze nga bwekitandika obutandise nga bakusigala nga balwanirira eddembe lyaabwe
Bbo bannamateeka baabwe…
Ministry y’eby'ettaka erabudde abatuuze ku ttaka lino okugondera etteeka okusinga okukozesa eryanyi olwenkaayana ezigenda maaso ku ttaka lino.
Ettaka lino eririko obwagagavu bwa yiika 292.7 lizze likayaanirwa abatuuze n'ekitongole kya National Housing corporation.
Minister omubeezi ow’ebyettaka Sam Engola agamba ettaka lino abatuuze lyebakayanira lya kitongole kino ekya National Housing, wabula olw'okulwaawo okulikulakulanya , abantu bagenda balyesenzaako mpola…
Abavubuka b’ekiwayi kya Uganda young democrats bavumiridde engeri Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago gyebakwatiddwamu,nebatuuka n'okubeera mu makomera nga tebamanyi misango gibavunaanwa.
Bw'abadde ayogerako eri bannamawulire ,ssabawandiisi wekibiina kino , Charles Wasswa agambye nti kino kyabadde tekyetagisa kubanga abakulembeze bano tebaakoze ffujjo lyonna nga bakwatibwa.
Ono agamba nti nate bagenda kutandika ku kwefube ow'okunoonya emikono egigoba ba…
Akulira abakozi mu kibuga Kamapala Jennifer Musisi agamba okulonda kwa bakansala okuva mu bitongole ebikugu kubadde kukandaliridde nyo nga ate bamugaso nyo mu kuddukunya emirimu mu kibuga.
Bw'abadde mu kulayiza abana abalondeddwa , Musisi agambye nti bano bakuyamba mu kuddabulula ekibuga kampala ekibadde kikyaddiridde bw'ogeregeranya n’ebibuga ebirala.
Wabula bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti bategeezezza nga ba kansala bano…