Omukyala eyagabira lukumpe ataliiko w’asula essimu kimuweddeko, lunkumpe ono bw’agikomezzaawo.
Omukyala ono nno okugaba essimu teyakigenderera nga yakikola mu butanwa yagyerabira mu mugugu gweyagaba.
Lunkumpe ono agambye nti mu kifo ky’okubba essimu eno, kimulumirizza okulaba nti essimu eno egizzayo eri nyini yo era ng’akikoze.
Wano wewebuuliza nti bameka b'oyitako ku kkubo abayinza okukola kino
Omuwuwuttanyi wa Uganda Sula Matovu yegasse ku tiimu Hakeni mu Sweden.
Matovu abadde agucangira mu Ebil FC eya Iraq atadde omukono ku ndagaano ya mwaka gumu kyokka ng’asuubiziddwa nti yakwongezebwaayo okutuuka ku myaka esatu.
Kino kizze ng’omuzanyi omulala Tonny Mawejje asemberedde okwegatta ku tiimu ya Hogesandi mu Norway.
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kabuyonjo abantu bangi okwetoolola ensi n’okutuusa kati tebamanyi mugaso gwa kabuyonjo.
Ekibiina ky'amawanga amagatte kitegezezza ng'abantu abasoba mu bukadde 2 mu nsi yonna bwebatalina kabuyonjo nga kino kiviriddeko bangi okufa endwadde eziva ku bukyaafu sso nga zisobola okwewalika.
Sabawandiisi w’ekibiina ky'amawanga amagatte Ban Ki Moon agamba wakyaliwo obulombolombo…
Omusumba William Muwanguzi abangi gwebamanyi nga Kiwedde azzeemu okukwatibwa
Ono abadde agezaako kutoloka okuva mu kkomera lye Kalisiizo gyeyaggalirwa
Muwanguzi yakwatibwa ssabiiti ewedde bweyasangibwa nga yeeyita omufaaza era ng’atuuzizza abantu mu kitambiro ky’emmisa era n’aggulwaako emisango gy’okweyita ky’atali
Muwanguzi addiziddwaawo mu kkomera.
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa.
Besigye akimazeeko buli omu bw'akubye poliisi ekimmooni n'alabikako wakati mu kibuga nga teri amusuubira
Ono atuukidde mu kikuubo gy'avudde n'agenda ku mini-price mu kampala era wano poliisi poliisi webagibagulizzaako omukka ogubalagala negukaawa
Besigye akwatiddwa n'atwalibwa ku poliisi ya CPS gy'aggaliddwa.
Mu ngeri yeemu, ne loodimeeya Erias Lukwago akwatiddwa bw'abadde yakafuluma…
Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu ebirala beegasse ku banaabwe okuva mu kampala okuwakanya ebiri mu alipoota eyakolebwa ng’evunaana loodimeeya Erias Lukwago ogw’obutakola bulungi mirimu gye.
Ababaka okubadde Mariam Nalubega, Wilfred Nuwagaba, Thoedre Ssekikubo, Abdu Katuntu ne Joseph Ssewungu bagamba nti tebagenda kutuula nga balaba ssemateeka ayisibwaamu olugaayu
Bano bagamba nti bannakampala beerondera omuntu waabwe era teri…
Gavumenti ewereddwa amagezi okwewala okweyingiza mu mirimu gya banamawulire nga bategeeza eggwanga ekigenda maaso.
Kino kiddiridde RDC wa Kampala Mpimbaza Hashaka okuwandikira emikutu gya Radio 2 nga agirabula obutaddamu kukyaaza baludda luvuganya gavumenti bokka nga ayagala na b'oludda lwa gavumenti baweebwe omukisa
Wabula ekibiina ekirwanirira eddembe lya banamawulire ekya Human Rights Network for Journalists kigamba nti kino…
Poliisi webuzibidde ng’ekutte abantu 11
Bano beebamu ku babadde beekalakaasa nga bawakanya alipoota eyakolebwa ng’esingisa Loodimeeya Erias Lukwago omusango gw’obutakola bulungi mirimu gye
Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti munaana ku bano baggaliddwa mu kampala ate abalala abasatu bali Naggalama.
Abavuganya basiibye beezooba ne poliisi nga bagala kukuba lukungaana ku Nakivubo settlement pulayimale…
Okulonda abakiise b’ebitongole by’abakugu nakwo kukubye koodi nga buli kimu kiwedde
Bano abawerera ddala bana bagenda kulondebwa olunaku lw'enkya okutuuka ku lukiiko lwa KCCA olwo lube nga lujjuvu bulungi era nga ssinga lutuula luba lusobola okugoba loodimeeya
Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Paul Bukenya agamba nti okulonda kuno kugenda kuyita mu kkolegi ng’abantu 12 beebakajjayo foomu okwewandiisa.
Mu bibiina…
Uganda yakuggulawo empaka za CECAFA ne Rwanda ng’ennaku z’omwezi 23 omwezi guno.
Omupiira gwakubeera mu kibuga Machakos
Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri mu kaseera akatono eno.
Tiimu zino zasisinkanyeeko ku lw’omukaaga era nebagwa maliri nga teri alengedde katimba ka munne